Abaana :Enkuza yaabwe
Mikwano gyange muli mutya yonna gye muli.? Bwe muba muli bulungi kisanyusa nnyo nnyini ddala. Leero katutunuulire embeera ezitabudde abaana baffe ne bakula nga bakola bikyamu ne tubanenya naye nga ffe abakulu ffe twonoonye abaana. Biruwa abakulu bye bakola ebikyamu ebyonoonye abaana? 1. Abantu abakulu okugeya abalala nga abaana abato bawulira kino bbo balowooza kirungi bwe batyo bakula kye bamanyi nabo batandika okugeya. 2. Abantu abakulu okwambala enkunamyo abaana abato bakula bakimanyi nti kirungi nnyo. 3. Abantu abakulu naddala bassemaka okudda eka nga batagala nga batamidde kino kiswaza nnyo abaana bakula bamanyi nti okutamiira kirungi nnyo. 4. Okutambulira mu ttawulo nga ova okunaaba nooyita mu baana bo kino kiswaza nnyo. 5. Okukeera ku makya nga oli mu ttawulo nookumba mu luggya oba mu ddiiro oba noogenda ewa muliraanwa okunyunya emboozi ho ho ho ho bannange wano oba otusse. 6. Okweyazika yazika buli kimu . kino abaana bakula bakimanyi nti okweyazika kirungi nnyo era bakula nabo beeyaziika yazika . twewale okusaba buli kimu ku baliraanwa. 7. Okwogera ebigambo ebyenkana emizindaalo mu baana ho ho ho ho kino kitiisa ate era kiswaza oyo abeera akyogedde. Twewale okuwemula mu baana. 8. Okuvuma abantu nga abaana abato balaba. Bakula bamanyi nti okuvuma kirungi nnyo. Ho ho ho tukyewale. 9. Okulimba nakyo kibi okuyigiriza abaana kuba bwe bakula nga balimba kiba kibi obeera osize omuze omuzibu okusengula. 10. Okulwana nga abaana balaba . kino kikyamu kuba abaana bakula bamanyi nti okulwana kirungi nnyo. 11. Obunafu. Wano abazadde abamu tebafuddeeyo kuyigiriza baana babwe babakuzizza nga banafu nnyo. Muyigirize abaana okukola. 12. Okusalaganya ebigambo: abantu abakulu bannakamwa ntette batama era bwe bakuza abaana nga basala ebigambo kikyamu. 13. Okukuliza abaana mu bukyayi nga tewali mukwano . nabo bwe bakula baba babamanyi nti teri muntu alina kwagalwa. Omulundi oguddako tujja kulaba ekiri ku mizigo ekyonoonye abaana. Ho ho hio ho ekiri eyo kisa kinegula