Ekitooke

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Ebitooke)

Ekitooke kimera kikulu nnyo mu Buganda. Bwe bisimbibwa nga bingi, bikola ekiyitibwa olusuku. Mu Buganda tulina ebika by'ebitooke eby'enjawulo nga Nakitembe, Nakyetengu, kayinja, Mpologoma, kisansa, musakala, kivuuvu, gonja, ndiizi n'ebirala.

Ensimba y'ekitooke[kyusa | edit source]

Omulimi yenna bw'abeera asimba ekitooke ateekwa okufuna ekifo nga kigimu bulungi. Ekitooke kiteekwa okuweebwa ebbanga lya fuuti nga kkumi okuva ku kitooke ekimu okudda ku kirala.

Ekinnya omusimbibwa ekitooke kirina okubeera fuuti nnya ku nnya mu bugazi ate mu kukka fuuti bbiri. kino kiyamba omulimi okufuna ekifo okumpi w'ateeka ebigimusa kubanga ekiriisa kino tekirina kuteekebwa ku kitooke kwennyini wabula ku mabbali g'ekinnya ng’olwo enkuba bw'etonnya amazzi go ne galyoka gakulukusa ekiriisa kino okukissa ku kitooke mu kigero ekyetaagisa. Bw'obeera osima ekinnya, ofuba okulaba nga ettaka eriddugavu n'erimyufu liteekebwa mu bifo eby'enjawulo kuba si buli ttaka nti libeera ddungi okuteeka ku kitooke era wano tusaako ettaka eriddugavu lyokka.

Bw'omala okusima ekinnya, wansi osookayo evvu olwo n'ozzaako obusa naye nga bulina kuba nga buwolu kuba bwe buba obulungi okussa ku kitooke.

Olwo bw'omala okuteekamu obusa bikkako ettaka eriddugavu nga wano omu ayinza okusooko n'akirekamu sabbiiti emu oba omulala ayinza okuteekamu endu ku ssaawa eyo naye kino kibeera eri ye ng'omulimu.

Bwoba ogenda okusimba ebitooke goberela bino: 1 Ekinnya kirina kuba nga kigazi ate nga kiwanvu. 2 Ng'omaze okusima ekinnya teekamu obusa okumala wiki ng'obutabudde n'ettaka mu kinnya. 3 Nga wiki ssatu ziyiseewo takula mu kinnya muli mwe watabulira obusa akatuli nga kawanvu otekemu endu.

Endabirira y'ekitooke[kyusa | edit source]

Omulimi alina okusalira olusuku lwe waakiri emirundi ebiri mu mwezi. Wano omulimi alina okuggya essanja, ebireka n'ebyayi ku kitooke. Omulimi alina okwegendereza ebintu by'akozesa mu kusalira ng’obwambe, ebiwabyo, ejjambiya n'ebirala kuba bigambibwa okusaasaanya obulwadde mu bitooke. Kirungi obutagabana bintu ebyo na muntu mulala alina olusuku.

Olusuku singa luweza emyezi mwenda ng’ebitooke bitandise okuleeta engo oba okussa, omulimi talina kuddamu kulimisaamu nkumbi kuba emirandira giba giranze nga singa gitemebwa kikosa enkula y'ekitooke.

Omulimi alina okuggya empumumpu ku kitooke nga singa ebiwagu byonna bibeera biweddeyo nga kino akikola akozesa omuti gw'amakabyo so si kambe okutangira okusaasaanya obulwadde.

Ekitooke nga kiwezezza endagala taano tandikirawo kubika ntenbu. Ekitooke tekirina kubeerako ssanja era tokikkiriza kubeerako mpumumpu. Ekitooke kirekeeko ensukusa ssatu kikisobozese okussaako ettooke eddene. Ekitooke bwe kiba nga kirumbiddwa obulwadde, kisigulemu mangu nga tekinayongera kubusaasaanya. Weewale okufuuyira mu lusuku n'eddagala okugeza nga 2FOD kuba lya bulabe nnyo era lisobolera ddala okulusaanyaawo amangu ddala, okusinziira ku SSEMBALIRWA NICHOLAS omulimi omukugu ku kyalo MBAZZI nga bw'annyonnyola.

Okubikka olusuku[kyusa | edit source]

Omulimi alina okubikka olusuku ng’akozesa ebintu nga ebisoolisooli, ebisagazi ebikaze n'ebintu ebirala ebitamera singa babeera bikozeseddwa.

Omulimi asobola Okukozesa nnakavundira, obusa obuwolu ng’ebiriisa eri ebitooke. Wano ebiriisa bino biteekebwa mu mabanga so si ku bitooke ku bikolo kwennyini nga wano singa enkuba etonnya amazzi gakulukusa obugimu buno mu muwendo ogw'ekigero eri ekitooke. Enkuba singa etonnya osobola okukuluggusa ettaka ko n'ebigimusa wabula wano omulimi asobola okutema ensalosalo mu lusuku okutangira embeera eno.

Emigaso gy'ekitooke[kyusa | edit source]

  1. Ekitooke kuvaako emmere eribwa abantu ate n'ebiwata ebiva ku matooke mmera ya bisolo.
  2. Ebitooko kuvaako ebyayi ebikozesebwa okuluka ebirago, okusiba emmere, enku n'ebirala.
  3. Ebitooke kuvaako endagala ezikozesebwa mu kusaaniika n'emirimu emirala.
  4. Ebitooke bikozesebwa mu kutimba nga ku mikolo, ku makubo okulaga ewantu, okugeza ewali emikolo.
  5. Ebitooke ebintu ebivaako bitundibwa, okugeza endagala ne muvaamu ssente.
  6. Ebitooke bikozesebwa mu buwangwa Okugeza singa entaana esimibwa n'etaziikwamu muntu esimbwamu ekitooke.
  7. Ebitooke bivaako enjogera okugeza ekisoko "yasimbyeyo ekitooke".
  8. Ekitooke kuvaako essanja erikozesebwa mu kuzimba ensiisira, okunyookeza kaabuyonjo n'ebirala.
  9. Ebitooke bivaako emizing’oonyo egyeyambisibwa mu kufumba.
  10. Bivaako emizannyo egyazanyibwanga abaganda, Okugeza okulwana entooketooke.
  11. Ebitooke bivaako empumumpu nga byakuzannyisa by'abaana wamu n'okubisaanikiza ku bidomola.
  12. Ebitooke by akayinja bivaako amabidde agakozesebwa mu kufumba omwenge oba walagi.
  13. Kuvaako ebireka ebikozesebwa mu kusogola omubisi naddala mu byalo.
  14. N'ekisembayo ebitooke ebikozesebwa nga ekintu ekyokusomako mu masomero.
  15. Tufunako endagala
  16. Tufuna ne mere

References[kyusa | edit source]

Ssozi Kirwana Ebyobuwangwa y’Emmunyeenye y’Eggwanga