Jump to content

Ebyenfuna ebitoonoona butonde bwansi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ebyenfuna ebitoonoona butonde bwa nsi buluubirira kukendeeza ku bulabe obwandituusiddwa ku bwebungulule bwaffe. Enkola eno eruubirira okukola emirimu egiwanirira obutonde era egitabwonoona.[1]

Okutwaliza awamu, ensonga eno ey’ebyenfuna ebitoonoona butonde, ezingiramu kaweefube w’ebikolebwa byonna okulaba nti obutonde tebutaataaganyizibwa. Waliwo n’abakugu mu byenfuna abeemaliza mu kwekaliriza engeri ez’enjawulo emirimu gy’abantu nga mwotwalidde n’amakolero bwe biyinza okukolebwa mu ngeri ewanirira obutonde. Ekigendererwa ekikulu kwe kulaba nti obutonde ng’emiti, emigga, ebibira, entobazi, ettaka, enjuba n’ebirala tebyonoonebwa oba nga tebikozesebwa mu ngeri ya kudiibuuda.

Mu mwaka gwa 2012, ekitongole kya ICC kyafulumya ekiwandiiko ekirambika engeri y’okukozesa obutonde mu ngeri etabwonoona. Ekiwandiiko ekyo kirimu amagezi n’okuwabula kw’abakugu okwakuŋŋaanyizibwa mu myaka ebiri. Ekiwandiiko ekyo kitangaaza ku ebyo ebirina okufiibwak mu mirimu okulaba nti okusoomoozebwa okuliwo mu nsi ku butonde kukolebwako.

Okutwaliza awamu, kigasa nnyo okulaba nti ebikolebwa byonna mu nsi bifaayo ku butonde okulaba nti tetubwonoona. Tulina okukola emirimu egiwanirira obutonde mu ngeri y’emu nga n’obutonde bwe butuwaniridde.

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Green_economy