Kabootongo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Buno bulwadde obutwalibwa mu ndwadde z'obukaba kyokka era nga busobola okusikirwa mu musaayi. Obulwadde butawaanya abantu bangi nga n'abamu baba nabwo ne batakimanya kuba baba tebafuddeyo kwekebeza. Yeeyolekera mu musaayi, mu magumba, n'olususu olwo omulwadde n'afuna embeera eteeyagaza. Abamu bafuukuuka olususu, amagumba gabameketa n'omubiri okutwalira awamu ne gunafuwa olwo ne gujoogebwa kumpi buli ndwadde egulumbagana. Bulino enzijjanjaba entongole mu kizungu kyokka waliwo n'ey'ekinnansi esobola okubaako ky'eyamba ng'okozesa emirandira gy'omusambya, ekifumufumu, emirandira gy'amapeera, ebibajjo by'Ekkajjolyenjovu. Eddagala lino olifumbiramu omunnyo gw'ekisula n'oluvannyuma n'onywangako mu bipimo ebisaanidde.