Lumonde owa Kipapaali mulime owonnya obwavu

Bisangiddwa ku Wikipedia

=LUMONDE OWA KIPAPAALI MULIME OWONE OBWAVU =[kyusa | edit source]

Kino kino kimera kya tunzi, kirimu ekiriisa [ vitamin A] ‘’’EBYETAAGO BYA LUMONDE WA KIPAPAALI OKUSOBOLA OKUDDA OBULUNGI.’’’ Ettaka eggimu Ennimiro nga ogiteseteese bulungi ‘’’EBISIMBIBWA.’’’ Amalagala gagulibwa okuva eri ebitongole bye’ggwanga ebinonyereza ku by’ennima [NARO] N’abalimi abalima lumonde oyo oba ebibiina bya nakyewa. ‘’’OKUTEGEKA EBIKATA N’EBISEERA EBY’OKUSIMBIRAMU.’’’ Ebikata biteekwaokutemebwa ng’ebula olunaku lumu okusimba amalagala. Obugazi buteekwa okuba nga bwa fuuti sattu,okuva kukikata ekimu okutuuka ku kilara. OKusimba amalagala koteekwa kukolebwa mu biseerabya nkuba. Ssimba amalagala ago gokka agalabika nti malungi. ‘’Lumonde wa kipapaali asobola okusimbibwakunsalosalo z’ensuku, mumabanga ga fuuti taano. ‘’’OKUSIMBA.’’’ Yerula ekikande, oteme ebikata. Funna amalagala amalungi ate nga magimu. Byaala lumonde mu biseera by’enkuba. Koola lumonde mu sabbiti 3-4 ezisooka. Ddamu okukoola emirundi ebiri nga tonaba kusogola.

‘’’OKUZIYIZA OMUDDO.’’’ Omuddo guvuganya n’amalagala nga birwaniraebiriisa ebiri mu ttaka, awamu n’ekitangala. Omuddo gukonzibya enkula y’amalagala, gukendeeza obulungi n’obungi bwa lumonde ate era n’okufiriza omulimi . Ziyiza omuddo nga okoola mubudde, emirundi ebiri mu buli lusimba olw’emyezi ebiri n’ekitundu. ‘’’OBUZIBU OBUTERA OKUSANGIBWA MU KULIMA LUMONDE OWA KIPAPAALI.’’’ ‘’Lumonde ono mwangu okulibwa ebiwuka.’’ Kungaanya era oyokye amalagala agaliridwa obusanyi. Lima nga okyusakysa mubifo mwoba olimidde. Singa wabalukawo ebiwuka oba endwaddw z’amalagala tukirira omulimisa w’omukitundu kyo. ‘’’OKUSOGGOLA’’’ ‘’Lumonde ono avunda mangu bwolwawo okumusoggola.’’ Musoggole mangu mu myezi esatu. Kuuma omusiri nga mukoole era oziike n’enjatika zokubikata. Wewale okutema lumonde ono bwoba nga osoggola. Okusoggola kukozesebwa n’emiti oba enkumbi. ‘’’OKUTUNDA’’’

Oyinza okutundira mu nimiro oba mu  butale.

‘’’ENKUUMA N’ENTERERKA YA LUMONDE OWA KIPAPAALI’’’ ‘’Eno yengei yoyinza okukazamu lumonde omukolemu ensaano oba okumufuula mutere.’’ Yozza ettaka ku lumonde era omuwaate. Bejjula era osalesale lumonde. Teeka lumonde onno ku katimba omwa nike. Bwaba nga amazeokukala, sekulamu ensaano. Teeka ensaano mukintu ekitayitamu mpewo. ‘’’SKIRIISA EKIRI MU LUMONDE OWA KIPAPAALI KU BULI GULAMU KIKUMI [GRAMS] 100g EZIRIBWA’’’ Amazzi ebitundu 63 ½ ku buli 100g [Calories] [cals] 30.5 ku buli 100g Ekirisa ekizimba omubiri [proteins]g. 1.3 ku bli 100g Amasavu [Fats]g 0.3 ku buli 100 g Ekiriisa e kireeta amanyi [carbohydrates]g 32.8 ku buli 100g Ekiriisa ekigumya amagumba [calcium] mg 30.5 ku buli100g Ekiriisa ekizaamu omusaayi [iron] mg 1.2 ku buli 100g [Vitamin A] [Intenational Unit] 120 ku buli b100g [Thiamine][Thiam] mg 0.2 ku buli 100g [Riboflavin][Ribofl]mg 0.05 ku buli 100g [Niacinm] [mg] 0.9 ku buli 100g [Vitamin C] mg 37 ku buli 100g ‘’’LU MONDE WA LANGI YA KIPAPAALI AKUUMA OBULAMU BWO’’’ Ekiriisa ekiri mu lumonde onno kikukuuma nga oli mugimu era nga oli musanyufu. Ekiriisa [vitaminA] kiyambaomubiri okubeera omugimku era nga gw’amanyi. Ekiriisa [Vitamin A] Kiyamba omubiri okulwanyisa endwadde. Ekiriisa[vitamin A] kiyamba amaso okulaba obulungi. Ekiriisa kiyamba omwana okukula obulungi ‘’’EBIRUNGOBY’YINZA OKUKOZESA MUK NSAANO YA LUMONDE ONO’’’ ‘’Obuugi obulimu lumonde n’amata’’ Tabula olubatu lw’ensaano ya kasooli mu ggama y’amazzi emu. Fumba okumala esaawa emu, bugye bulungi. Tabula olubatu lw’ensaano ya lumonde mu mazzi amabisi ogate mu buugi bw’odumbye. Yongera ofumbe okumala eddakika endala taano. Tekamu vamata, obuleke bwesere. Tekamu sukaali anoge. ‘’’ENGERI ENDALA GYYINZA OKULYAMU LUMONDE ONO’’’ Ektobeo kya baana, stta wamu lumonde omufumbe, ebijanjalo n’enva endirwa. Lumonde omwokye Kabalagala n’amandaazi Keeki, n’Emigaati. ‘’LUMONDE ONO AVAAMU MANGU ENSIMBI.’’ <ref> maaif<ref> wwf /lvceep


   Joyce Nanjobe Kawooya