Nzikiriza y'Abatume

Bisangiddwa ku Wikipedia

Nzikiriza y'Abatume y'essaala efunza okukkiriza mu ngeri ennyimpi. Okwawukanako n'eNzikiriza ey'eNicea eno yo eyogera ku bikkirizibwamu naye mu bufunze nnyo. Etera kusomebwa mu ssaala eza ssekinnoomu nga ekisinde ne ssappule.

Nzikiriza Katonda[kyusa | edit source]

Nzikiriza Katonda Patiri omuyinza wa buli kantu

Omutonzi w'eggulu n'ensi.

Ne Yezu Kristu omwana we ali omu yekka.

Ye Mukama waffe,

Eyali mu lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu

N'azaalibwa Biikira Maria.

N'abonaabona ku mirembe gya Ponsio Pilato.

N'akomererwa ku musaalaba.

N'afa, n'aziikibwa, n'akka e Magombe.

Ku lunaku olwokusatu n'azuukira mu bafu.

N'alinnya mu ggulu.

Atudde ku gwa ddyo ogwa Katonda Patiri omuyinza wa buli kantu.

Alidda okulamula abantu abalamu n'abafu.

Nzikiriza Mwoyo Mutuukirivu,

N'Eklezia Katolika Omutukuvu,

N'okussa ekimu okw'abatuukirivu

N'ekisonyiwo eky'ebibi,

N'okuzuukira okw'emibiri,

N'obulamu obutaggwawo.

Amiina.