Okukunganya Amazzi G'enkuba
OKUKUNGANYA AMAZZI G'ENKUBA
[kyusa | edit source]Template:Pp-pc1 https://commons.wikimedia.org/wiki/File:Tanka_yamazzi_ag%27enkuba.JPG
okukungula amazzi g'enkuba kwekutega n'okukunganya amazzi g'enkuba okugakozesa mu bintu ebyenjawuli era n'okugafunamu so sikugaleka kugenderea bwerere. Era nga gano tugakosesa mu malimiro, okukola awaka, amazzi g'okufukirira, okuwa e bisolo okunywa era n'okujanjabibwa obulungi era n'okukozesa munda mu mayumba okugeza nga mu binabiiri ne toilets z;omunda ne birara. Mubitundi ebisinga amazzi gakunganyizibwa ne gagenda mu binya bye bategese obulungi mwe gasobolera okwesengejja. Amazzi agakunganyizidwa gasobora okukola nga amazzi g'okunywa era n'okutereka era n'emirimu emira nga okufukirira ebirime.
wano ewaffe e Mbazzi twatandika enkola eyomulembe era nga abantu b'ekitundu kino benyumiriza nnyo munkola eno kubanga ekyeya tekibatawanyiza kubanga amazzi bagalina mu bungi era nga basobola okutambuza polojekiti zabwe.
Amazzi malungi nnyo era tugetaaga nnyo mu bulamu bwaffe obwabulijjo kubanga tukakozesa ffe nga abantu, ebirime, ebinyonyi awamu n’ebisolo.
Mubutufu omuntu yenna nandiyetaze okutega amazzi anasobola okugakuuma okusobola okusomoka obuzibu bweyandisanze nga talina mazzi waka we.
Wesanga nga omuntu azimbye enyumba era na gisereka naye nakoma kukuyingira ate amazzi nagulanga magula so nga ate ku mabaati ge genyi asobola okusaako engogo bwatyo nasobola okutega amazzi.
Engeri y’okutegamu amazzi
[kyusa | edit source]- Waliwo okusima oluzzi **
- Okukola tanka eyebaati**
- Okukola tanka nga ogase epipa**
Okusima ekinya n’okisamu ekivera oba ettundubaali era n’oziimbako era n’okisereka Kale olwalero kanjogere kumkola eno eyokusima ekinya n’osaamu etundubaali Bwenabadde ntambula tambula ku kyalo Mbazzi nasanze abantu abamu nga ebirime byabwe binyirira nga bwobiraba biraga nga enkuba etonnya bwe nayogeddeko n’abamu ku bantu banno bantegezeza nti bo bakungula amazzi mwatu nenewunya naye nafunye omukisa era ne banjiggiriza bwebakikola.
Ebyetagisa nga onazimba tanka
[kyusa | edit source]- Ekiffo**
- Amatofali**
- Seminti**
- Omusenyu**
- Etundubaali oba ekivera ekiggumu**
- Emitti**
- Emisomali**
- Engogo**
- Paipu**
entekateka
[kyusa | edit source]Otegeka ekiffo awagenda okusimibwa ekinnya era ekinya kino kisimibwa ku bipimo bino ekitandikibwako obugazi osima futi kumi ( 10ft ) ku futi munana (08ft) awo nosima okuka wansi obuwanvu bwa futi mukaga (6ft) bwekityo wansi muntobo ne kibera futi sattu nekitundu (3.5ft).
Bwomala okusima ekinya ekyo nga otegeka omusingi okwetolola ekinya kino era nekizimbibwako bulungi nga zimba enyumba eya kiyu kimu era n’okisereka bulungi n’amabaati ebisera ebisinga kiserekebwa amabaati nga musanvu.
Yelirira etundubaali mukinya wetolozeeko emiti nga ogikiiseko olwo ekitundu ekyawaggulu kwoba wetoloza etundubali eryo nga bwokubamu emisumaali
Emigaso oba ebirungi
[kyusa | edit source]Amazzi g'enkuba ganno malungi nnyo nti wano oba ogekozeseza nga tolina akusoloza era munsi ziri ezakula edda gatwalibwa nga enyongereza kwago gebafuna mu gavumenti. Mukyeya oba n'amazzi, era kiyambako n'okukendeza amazzi ag'omujuzo mu biffo ebye kiko nga Bwayise, era kikendeza n'omujuzo ku nzizi zaffe ekisobozesa amazzi okuba muluzi nga malungi. Kiyambako nti amazzi gaberawo obudde bwona wo galira. Enkola eno eyokukozesa amazzi g'enkuba agategedwa mu nkola y'ebibuga kiyambako ku gavument engeri gye werezamu amazzi era kino kiyamba mwembi ekitongole kyamazzi nawe agakozesa. era n'okwonona amazzi kukendera kubanga amazzi gaba mayonjo nga gayita bulungi mu paipu nga tegetaga kusamu manyi mangi okugatambuza nga sewer system.[1]
References
[kyusa | edit source]- ↑ Behzadian, k; Kapelan, Z (2015). "Advantages of integrated and sustainability based assessment for metabolism based strategic planning of urban water systems". Science of The Total Environment. Elsevier. 527–528: 220–231. doi:10.1016/j.scitotenv.2015.04.097.