OMWENGE NA KABI KAGWO

Bisangiddwa ku Wikipedia

==OMWENGE NA KABI KAGWO== ‘’’ALCOHOL CAN BE DANGEROUS’’’ ‘’Omwenge kye ki?’’ Omwenge by’ebirungo ebiba bikamuddwa mu kintu o'kugeza amabidde naye olusi guterekebwa gusobole okufuna obuka. Omwenge ddagala ate nga likyayinza okukozesebwa oba okweyambisibwa obubi ekiyinza okuviramu nawokera oba omutawana n’olwekyo omuntu asobola okufuukira ddala lujuuju. Omwenge gunywebwa bunywebwa gwawuddwamu okusinzira Ku maanyi ga buli kika okugeza emandule, legyula, oggwebirimba, n’omwenge bigere. ‘’Ensibuuko y’omwenge’’ Olw’okuba nti omwenge gukirizibwa mumbeera eyabulijjo gusangibwa buli wantu wonna, era kyeguva gutundibwa kyere mu maduuka nawalala. Gukolebwa era negusangibwa mu bitundu byekyalo mu njegoyego ze kibuga n’ebitundu ebirala. Mubyobuwangwa bwe Buganda omwenge gutwalibwa nga ekintu e ikulu ennyo, okugeza nga kumbaga, enyimbe, kubatiza, ku bintu nga bino tegusobola kubulawo. Omwenge omuganda oba omwenge bigere, gwe gusinga okweyambisibwa mu byalo naye ate gwo omwenge omuzungu gusinga kweyambisibwa mu bibuga oba ebitundu ebikulakulanye mu gwanga. ‘’Ekigero k’omwenge abantu gwe banywa mu YUganda’’ Abantu abamu bafukidde ddala balujuuju olw’omwenge era b’esanga nga tebakyayinza kubeerawo nga tebanywedde, kubanga obulamu bwabwe kwe bwesigamye. Wadde nga abantu abasinga obungi bagunywa mubiseera byabwe ebyo bwerende. ‘’Biki ebiyinza okuva mu mwenge?’’ Omuntu bwanywa omwenge omubiri guba gutabikiddwamu obutwa era ne bivanu tebiba bitono. Omuntu bwanywa omwenge aba agenderera kwesanyusa naye oluvanyuma essanyu n’erigenda nga liddirira oba n’okukendeza ne ndowooza ye. Omwenge gusalako obusimu bwokubwongo oli nasigala okweyisa mungeri etali ya bantu. Gubuza amanyi mu mubiri natandika kukankana emikono, okwogera ekirimi, obutalaba bulungi n’obutawuliira bulungi okwosaako n’okutambula ng’ataagala. Omwenge bweguyitirira obungi mu mubiri guleeta obunafu mu bwongo ne buba nga tebukyasobola kufuga mubiri, ne kiviramu omuntu okuba ngatakyasobola kulowooza sinakindi n’okufa. Mukamwa musesebuka n’okwatika nekibaviramu okwatibwa amabwa agenjole , kansa , mu kamwa neku mumiro. Omwenge gu kwasa amabwa, alusazi mu lubuto, gutuusa ebisago ku kibumba olwo’kubabukirirwa okwabuli kakedde. Emirundi egisinga ne kiviramu omuntu okulwala kansa. Omwenge gusesebula akalulwe ne kiviramu omuntu okulwala sukali. Amawugwe nago gatukibwako ebisago nekivamu omuntu okuba ngatasobola kussa bulungi. Obusimu bwomubiri nabwo bufa ne kivirako omuntu okuyubuka mungalo ne bigere. Obwongo nabwo bunafuwa olwebsago n’ekivamu agunywa okwerabiralabira. Enyama y’omutima nayo etukibwako, omuntu nafuna entunuusi n’omutima okwewuba. Ebitundu ebyekyama bikosebwa n’amazzi g’omusajja agazaala gakendera naba nga takyasobola kuzaala. Abakyala abasangibwa ne mbuto zitera okuvamu. Abaana abamu bazalibwa nga banafu ate ng’atebazitowa nobwongo bwa baana bwenyini buba bunafu. Omunywi w’omwenge ayinza okugwa eddalu oba okutabukatabukamu okwekiseera. Okufirwa emirimu olwokuba lujuuju omwenge gulina kyegukendeza ku nkola y’omuntu mu by’enyngiza n’enfulumyaye. Okuleeta obubenje kubavuzi bebidduka n’okufa, obwedimo oba obujagalalo mu bantu. Okutyobola eddembe ly’abaana, kusasika kwa maka,okulwanagana, obubbi, okwata abakazi, n’abaana abato, obutakanya wakati w’musajja n’omukazi mu bufumbo. Abanywi b’omwenge beetanira nnyo ebiddagaladagala. ‘’Empenda oba amakubo getuyinza okusalamu ku kukendeza okunywa omwenge’’ Okumanyisibwa obubi mu mwenge nga tweyambisa amaanyi g’empewo okugeza ladiyo[radio], televizoni [television] empapula zamawulire, n’abazanyi bemzanyo gya katemba. Okwongera emisolo ku mwenge okusobola okukendeza kubanywi b’omwenge oba okulemesa abakozi b’omwenge. Okutandikawo ebibiina ebiyigiriza abanywi b’omwenge ate era ne mu masomero. Okukifuula ekyeteeka eri okulabula abakozi bomwenge n’abakolamu nnga bamanyisibwa akabi akalikk mu mwenge. Okuwagira ab’ebibiina eby’obwananyini, banakyewa, ebikulakulanya ku mbeera y’obulamu n’okusingira ddala ebyo ebitema empenda ez’okugema abantu abanywa omwenge. Ousaawo ebiseera ebituufu ebyo kuggalawo kwe bifo ebitunda oba ebinywerwamu omwenge. N’okutterebula abatunzi b’omwenge buli kadde. Okugaanira ddala abaana abato okuyiga omwenge. <Ref: www.uganda development link.org> <Ref: WWF/LVCEP> Joyce Nanjobe Kawooya