Okubuzibwabuzibwa mu langi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okubuzabuzibwa mu langi osobola okuyita, okukendeera kwa amanyi agasobola okulaba langi n’okugyawula era nga kino kiyinza okuleeta obuzibu obw’enjawulo mu byenjigiriza okugeza ng’okugwa ebigezo nga kino kiva ku buzaabuza langi emu n’endala. Mu ngeri y’emu, omuntu asobola okukaluubirirwa okwawula ebibala wamu n’okwetegereza ebitaala by’oku luguudo.[1]

Ebisinga okuleetawo okubuzaabuzibwa mu langi y’enkula y’obusimu obuli mu mmunyeenye y’eriiso. Abasajja be basinga okuba n’okubuzabuzibwa mu langi okusinga abakyala nga bwe kigambibwa nti X chromosome ze ziteera okuvaako obulwadde buno nga era okubuzabuzibwa mu langi oluusi kuyinza ovaamu okwonooneka kw’amaaso oba obwongo n’ebirala.

Teri dagala lya kubuzabuzibwa mu langi. Bwe kiba nti omusomesa y’alabye omuyizi ng’alina ekizibu kino, aweebwa amagezi okukyusa obukodyo bw’okusomesa asobole okukendeeza ku buzibu bw’okutegeera langi eri omuyizi. Gaalubindi ez’enjawulo zisobola okuyamba omuntu abuzibwabuzibwa mu kwawula langi emmyufu ku kiraggala ng’ali mu kasana. Waliwo ne Apps ez’oku masimu (mobile apps) eziyinza okuyamba omuntu okwawula langi.

Okubuzabuzibwa mu langi emmyufu n’eyakiragala kungi nnyo mu bantu. Langi ezo zigobererwa bbulu ne kyenvu. Oluusi abantu abamu bazibira ddala amaaso nga omuntu tasobola kwawula langi. Okwawula langi emmyufu ku yakiragala kutawaanya abasajja abawera ebitundu 8% ate bo abakyala bali ebitundu 0.5% mu bukiikaddyo bwa Bulaaya. Omuntu bw’akula, obusobozi bw’okwawula langi bukendeera mu bukadde. Bwe kityo okubuzaabuzibwa mu langi kufiiriza abantu bangi emirimu mu nsi ez’enjawulo okugeza nga okuvuga ennyonyi, eggaali y’omukka n’okuweereza mu magye. Kiteeberezebwa nti n’abasiizi b’ebifaananyi bangi babuzibwabuzibwa mu langi.

References[kyusa | edit source]

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:WikiProject_Medicine/Translation_task_force/RTT/Simple_Color_blindness