Okwekulakulanya

Bisangiddwa ku Wikipedia

OKWEKULAAKULANYA. Leero nkuleetedde engeri gy’oyinza okufuna ssente mu kulunda enkoko enganda. Enkoko zino nnyangu kuba osobola okutandika n’enkoko bbiri ne zizaala n’oweza ekiyumba kya nkoko 100. Ekirungi kye nkoko zino tezirwalalwala ate zirya buli kintu ne zikula bulungi. Ekirala zirina akatale ate zigulibwa ku ssente nnyingi ko bwogeraageranya n’enzungu. Mw. Erias Kasumba nga mulunzi wa nkoko era nga ye nnannyini T.K Chicken Breeders mu zooni ya Nakiyanja e Nabbingo essira yalissa ku kulunda nkoko ng’anda era annyonnyola bwati engeri gyazilabirira n’azifunamu; Abalunzi abamu balowooza nti okulunda enkoko enganda temuli magoba, wabula nze ebbanga lye maze nga nzirunda nkizudde zisinga enzungu okukola ssente. Njaluza amagi n’ennunda okuva mu buluda sikozesa nkola ya nkoko kwalula kuba neetaaga nnyingi. MU BULUDA Obukoko obwolunaku olumu mbussa mu buluda. Kino kiba kisenge nga kirina okubaamu ebbugumu eriwera kuba tebuba na maama ababikka. Wansi njalirirawo ebipapula by’ebookisi kubyo oteekeko empumpu erandiddwa ku mbaawo. Ekyo nga kiwedde, olina okuteekamu essigiri oba ensuwa omuli omuliro ng’eno eyamba okuwa obukoko ebbugumu. Kuno ngattako ettaala kuba ekiro erina okusula ng’eyaka okutuusa nga buwezezza wiiki ssatu. Nteeka mu ebifo ebyenjawulo mwe buliira ne bwe bunyera amazzi. OKUGEMA Mu buluda bumalamu wiiki nnya, naye era jjukira ku lunaku olusooka nga wakabuleeta okubugema Marek. Mu wiiki esooka mbugeme Newcastle, wiiki eyookubiri n’embugema ggombolo, eyokusatu tuddamu okugema Newcastle/IB olwo wiiki esembayo mu buluda ne tugema ggombolo 2. Nga buvudde mu buludda Ku wiiki eyokutaano, ddamu obugeme Marek busobole okukula nga bw’amaanyi. Era kyusizzaawo emmere okuva ku Starter okudda ku Grower’s Mash. Ku wiiki eyomukaaga tubugeme typhoid. Ku myezi ebiri tuzigema kawaali kano kayiso bakakuba mukiwawaatiro olwo oba omaze okugema okutuusa bwonozitunda. Wabula bw’ozuula nti zirimu obulwadde ziwe eddagala okutereera. ENFUNA Y’ENKOKO Ku myezi ena nyongeramu ku birungo okugeza mukene n’ensigo za ppamba biyamba enkoko empanga okuzitowa. Ku myezi etaano ojja kuba otunda. Wabula enkoko ku myezi etaano eba ekumazzeeko ekinene ennyo 10,000/-, singa oba walunda enkoko zo 300 empanga katugeze. Oba ojja kuba nga okozesezza obukadde busatu, buli nkoko ogenda kugitunda 20,000/-, kiba kitegeeza nti ofuna obukadde mukaaga olwo amagoba ne gabanga genkana ne kapito gwe wateekamu olwo oba olyevuma ddi obulunzi?