User:Godfrey Male Busuulwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

user:Godfrey Male Busuulwa/ Empisa mu kulya Mikwano gyange mbalamusizza yonna gye muli era ndi musanyufu kuba musoma ebintu byempandiika. Nga tukyagenda mu maaso n’empisa z’eby’okulya nazino katuzirabe: - Kiba kikyamu nnyo okuwuuta caayi bannange temugezaako kuwuuta caayi kuba kikyamu nnyo nnyo nnyo nnyo oba oswala nnyo era oba okuze ekikyamu. - Kiswaza okufuuyirira caayi kuba ayookya. Mulinde awole olyoke omukwateko. - Omuntu omukulu kiba kikyamu okuwoleza caayi ku ssowaani . - Towuutira caayi ku ssowaani - Bwoba alidde ekyennyanja naaba mu ngalo oleme kuwunyirira balala - Bwolya ennyana nayo ginaabe bulungi mu ngalo oleme kweswaza - Bwoba atabula caayi mu kikopo weewale nnyo okukoona akajiiko mu kikopo wansi . - Buli lw’owulira nga ekijiiko kikuba ku kikopo oba oswala. - Ejjiiko nayo nga olya emmere weewale obutagikoona ku ssowaani. - Nga owuuta ssupu tokanula maaso kuba oba olaze omululu munnange. - Weewale okweyiira eby’okulya oba okwetonnyeza eby’okulya munnange. - Weewale nnyo okumeketa amagumba mukwano kuba gayinza okukulakira. - Weewale nnyo okuvaabira ng’olya lya mu mpisa ezoobuntu bulamu. - Toswankula, tosolobeza, tovaabira, toliisa mululu topapa nga ogaaya, . - Weewale okumira ebitagonze kuba bisobola okukulakira noofunamu obuzibu. - Togattika by’akulya mu ngeri ya mugagga agabudde kuba olubuto lwandikufuukira ekizibu. - Lira mu budde obugere tomala galya buli kaseera kuba kino kifuula olubuto lwo kasasiro nnyabo oba ssebo. - Weewale okulya eby’okya ennyo nga oyolesa enjala kuba bwe bikwokya oyinza okuwalirizibwa okubiwanda mu kkooti oba mu lugoye nooswala. - Bwe wabaawo abaana abato weewale okuswala nga olya nga ekinyeenya Mikwano gyange muli mutya yonna gye muli ? nange ndi bulungi mukama akyakuumye. Leero katutunuulire ku kigambo kino eky’obuntu bulamu mu mbeera mwe tutambulira. Mu kulya: - Tolaga bantu nti enjala ekuluma nnyo. - Togobaganya baana bato nga musimbye okulya kuba nabo enjala ebeera ebaluma kabe kasinge nookusinga ggwe omukulu. - Bega emmere eyo yokka gyonoomalawo kuba kiswaza okutikka essowaani ate emmere nootogimalaako. - Tomala galya buli kintu ky’osanze ku mmeeza kuba ojja kulya ebitaliibwa. - Bwoba tomanyi kuliisa bijiiko weewale okuswala buuza abantu bwe bakola naawe oyige kuba okuyiga tekukoma. - Abasinga balowooza nti bwe babuuza baba baswala naye okuyiga tekukoma. - Weewale okweyiira omucuuzi( ssupu) nga alaga nti owoomeddwa nnyo. - Teweetonnyeza mmere nga oyolesa omululu. - Towuuta nnyo ssupu bantu balala kukuwulira nga owuuta kuba kiswaza. - Bweba enkola ya mutooleko tomala gatoola byonna kubimalawo kuba jjukira nti waliyo ne banno abatannalya. - Tokomba ssowaani kulaga nga bwowoomeddwa. - Tokomba lukokola nga ssupu akulukutiddeyo kuba waatuukira okukulukutirayo kiba kitegeeza olidde bubi. - Weewale okumeketa amagumba nga owoza mmeketa kabebenu kuba amannyo gayinza okukubongoka. - Bwoba olya weewale okulegesa oba okwogera kuba tewali ayagala kulaba mmere mu kamwa.