User:Kiriggwajjo Anatole Jesero

Bisangiddwa ku Wikipedia

user:Kiriggwajjo/MULOWOOZA

MULOWOOZA

Nga omusana ne enkuba buli kimu bwe kyelabiza kinnaakyo, essanyu ne ennaku bwe bili.

                       [Kgj.05.09.14]


Mu byobuyigilize, ekyo ekitufuula aba ensa, bwe bukugu bwa okuzuula okumanya, okufuga okumanya ne okweeyambisa obulungi okumanya. [Kgj. 27.03.14]


Ekizibu kyaffe bwe bubulwa bwa ekkome essonjole obulungi, ne ebyo bye tuteekwa okufiililila nga ekibinja ekiteekwa okuba ne obuwonelo obwa awamu. [Kgj. 27.03.14]


Obulowooza kagunja oba katetenkanya kye kitakkuluza ku busibe mu njegele. [Kgj. 22.08.13]


Ekitta obuteesa katuukiliza lweepanko, jjoogo na lunyoomelelo. [Kgj. 22.08.13]


Ensa ya Ssebulange nkulu nnyo ddala okusinga okubaawo kwa ssebulange. [Kgj. 22.08.13]


Buli lwe otokola kintu kikuwanguza mu kaseela ako, manyanga mu kaseela akaddako ojja kuba nga tokikoze nga ne essanyu lyaakyo elya obuwanguzi tolillina. [Kgj. 08.07.13]


Omuntu yenna ategeela Ekyama kya Obuwanguzi, obulijja atandika okubulabila ddala nga bumuli awo ku lusegele wamu ne okubusanyukila nga obubwe ddala. [Kgj. 08.07.13]


Buli lwe obeela awo nga toyingiza nsimbi kuva mu myazanfuna egigyo ku bubwo, manya nti weeli kilyanfuna. [Kgj. 05.07.13]


Ensiimwabantu kitegeeza obweyagalile bwa abantu ne ebyagalo byabwe. Ensonga ezo buli Kiyinza kyonna lwe kitazifaako na buvunaanyizibwa obwa enkizo, nga abasekeetelezi bafunye oluwenda. [Kgj. 05.07.13]


Ebyobufuzi ebili e Misri olwaleelo bitulaga obuyinza mu byagi bisatu: abajaasi abatakansi, ne abakulembeze. Ssebulange eli nga etekyalina makulu. [Kgj. 04.07.13]


Sibonekelwa Amerika kubaawo bbanga ggwanvu nga telina mmundu kusinga China. Buli omu mu Amerika atendeleza nnyo obutaasibwa bwa emmundu. [Kgj.19.10.07]


Ekikolwa bbulambonekelwa gulootolooto ogwa entiisa. [Jap. Saying]


Buli kisoomoozo kiteekwa kulabibwa na liiso lyawufu. [Kgj.29.09.07]


Yadde nga ekinyusi kya olulimi buzaalukanya, abantu basinga kulweyambisa lwa bumatizibwa kinnabukozesa. [Kgj.10.10.07]


Omulowooza, ekigambo ne ekikolwa ebyange, biteekwa okubaako kye bigamba. [Kgj.22.09.07]


Buli omu yandikikoze obukwakkulizo bwe buba bumuganya. Obukwakkulizo obwo ggwe oba obutonzeewo ela nga obutonzi bwabwo buli mu mulowooza ne ebikolwa byo. [Kgj.21.08.07]


Ffe tuteekwa okwelangila amakome, enkulaakulana, obwetaasa ne obukuumi ebyaffe ku lwaffe, emmanduso, ebiwangulo ne ebiluubililo byaffe. [Kgj.28.07.07]


Abantu ba Uganda bwe baba baagala okuba obumu mu Uganda, omwoyo gwa obumu guteekwa okussibwa ku lwaniko olutukula okusibukila obuteefu bwagwo obutagooka. [Kgj.28.08.07]


Omusingi eggwanga lyange kwe liteekwa okuzimbilwa ela kwe liteekwa okukulembelelwa gwe gwa obunnayuganda okubanga ensonga ya obuwenjuluzi, omutima ne ekikolwa. [Kgj.25.07.07]


Ekkelenda lya obubuyabuya elili mu bassaabakulembeze ne bakabaka bwe butategeela nti enjolesebwa, enkulaakulana ne obugaggawazi bili mu kyamagelo kya obumu mu bwawusi. [Kgj.26.06.07]


Ekiba mu milowooza kinnabyekubagizo, kwe kulaba nga bwe kili ekyangu nnyo ate ela ekya essanyu ennyo okujja mu buyinza, sso ate nga kizibu nnyo ate ela kya nnaku etegambika okuva mu buyinza. [Kgj.26.06.07]


Teli kisinga kutiisa mu mukwano ogwa nnamaddala nga okusaba obwannamunigina. [Kgj.26.06.07]


Waliwo ekintu kimu kyokka ekitasoboka: okuzuula KATONDA we atali. [Kgj.22.06.07]


Eggwanga bulijjo liba tto ate nga kkulu ku buli omu alilimu. [Kgj.08.06.07]


Buli kaseela banga nga otegeela bulungi, ne bwe okolanga ensobi esingila ddala bulijjo eliyo amazima amalala. Banga nga otegeela buli kaseela. [Kgj.23.05.07]


Obukulembeze obulungi buli ku kwabya mize egyesigamizibbwa ku bilowoozo bya obwayita ne bukkiliza mu bukenzi bwennyini ebikeeyelezo kinnabantu ebya embeelabantu empya. [Kgj.07.05.07]


BUGANDA EYA OMU MMEEME NE OBWONGO eteekwa kwaŋŋanga kinnabusobozi ebisoomoozo bya Buganda bino: [okugaggawala kwa abantu, obuyigilize bwa abantu, obutebenkevu bwa abantu, obwakiyungansi, obukulembeze ne obufuzi bwa abantu, obuluŋŋamya bwa ekiyaayaano kya enfugilo ku Buganda, obukulaakulanyi bwa abantu ba Buganda] [Kgj. 26.02.07]


Enfugilo kinnansiimwabantu ye nfugilo ya abantu, ku lwa abantu, ekolebwa abantu ela eli awamu na abantu. [Kgj.26.02.07]


Bwe kiba nti Kabaka akkiliza okutunda entabizo ya obwakabaka bwe, olulyebuzo lwa obwakabaka Nnamunswa kennyini ya aba alwegiilidde. [Kgj.17.02.07]


Abaganda tebasaanidde kwekolela ne bagoba Kabaka ku nnamulondo, wabula okumugolola ne ateesa ne abantu be. Ekyo bwe kitakolwa nga beebangidde bokka olukonko lwa okusaanyizibwawo kwa obwakabaka bwabwe. [Kgj.17.02.07]


Kye kiseela Abaganda okutegeela obulungi ne okulambika obulungi obunnankizo bwabwe mu bwakabaka bwabwe. Ekitali ekyo bajja kulekelanga bulijjo obwakabaka bwabwe mu bulamuzi bwa Kabaka yekka, so nga naye muntu asobya. [Kgj.17.02.07]


Kabaka bwe kamutanda ne akkiliza okusalwa ku lulila lwa nnyina (Buganda) olwo nga agemuddeyo yekka obwakabaka bwe. [Kgj.15.02.07]


Teli kisinga bufeebu nga kuddukila ewa omulabe wo akutaase. [Kgj.16.02.07]


Okwetegeela ne okwekkililizaamu gwe musingi omuntu kwe asalilawo mu ngeli eya omuwendo.

         	[Kgj.02.02.07]


Omukulembeze omulungi ye oyo ayagala ennyo obuteewaŋŋamya ku bantu, wabula okuba mu bunnyini bwabwe, obulowooza bwabwe ne emmeeme zaabwe. [Kgj.01.02 07]


Nsobi ssemasobi okwesigila obutebenkevu bwa obukuumi bwo mu bwesige bwa omugundi omulala, kuba ekivaamu kabaate kennyini. [Kgj.31.01.07]


Obwelufu bwa omuyungilo tebusonjola bwesimbu bwa bunnamuntu kyokka naye ne obutuukiliza bwagwo so ne obwa emilimu gyagwo. [Kgj.31.01.07]


Abanyigilizibwa banoonyi ba bikubagizo bulijjo, awo nno yogelanga ekyo ekibawuliza okufiibwaako kyokka nga kya ssebulowooza. [Kgj.31.01.07]


Kweka ekibi, tumbula ekilungi; kweka ekya omu kizikiza, tumbula ekya omu kitangaala. [Kgj.28.01.07]

Aba obugulumize obwa wansi bajaguza busanyusi, bo aba obugulumize obwa waggulu bajaguza buwanguzi. [Kgj.01.01.07]

Obulamu bwo mu nsi tobumala nga onyiigila bantu wabula bumale nga obasanyukila. [Kgj.31.12.06]

Ekyennaku, emmeeme ya Buganda teli mu basukkulumu wabula abawejjele ate nga ne abamu ku bo batelebufu. [Kgj.22.12.06]

Ku mazimassooka agabweze omulowooza gwo, kwe osalila emiyitilo ne enviisi. [Kgj.11.12.06]

Kya nnaku nnyo nti Bannayuganda baabuwe bakulembelwa bassaabakulembeze abali waggulu wa eggunjo. [Kgj.09.12.06]

Ebyobufuzi bya Uganda bicamudde abantu ne bibazza ku kutunuulila obuweebwa bwabwe nga ekikolwa kya enfugilo ekya ekisa sso si nga ekikolwa kya enfugilo ekya oluwalo. [Kgj.08.12.06]

Nkooye okusomesanga abayizi mu ngeli ebakaka okugezaako okutegeela ebintu nga bwe bikolebwa: njagala kuyigiliza bayizi kukola bintu. [Kgj.08.12.06]

Omuntu, okufaananako nga enju bwe eteekwa okuba, aliko omulyango. [Kgj.21.11.06]

AWAGGYA: manyanga abantu abatutumufu, abakulembeze, abatafiibwako, ekikilabangi abatabanguzi ne ebyanyi. [Kgj.19.11.06]

Oba teli nfugilo yeesiga bantu baayo, olwo abantu bateekeddwa okwesiga enfugilo yaabwe?

          [Kgj. 02.11.06]

Ensi yo gilungiyenga bulungiya: tonenya muntu yenna, teweemulugunyizanga Katonda. [Kgj. 14.10.06]

Tukyonoone ne oluvannyuma tukilongoose oba tukikole mu kitaliiwo? [Kgj. 12.10.06]

Ensimbi, ne okufaananako amagezi tezili munda mu ntabizo, wabula mu bibangilizi e bweelu wa entabizo. [Kgj. 13.09.06]

Ekitulya tekiva bwelu waffe, kiva munda mu ffe. [Kgj. 03.09.06]

Ffe tukkilizza okuwaayo engeli ya obulamu bwaffe eli entyoboola kawene eya obugwiila.

          [Kgj. 23.08.06]

Tuli mu mulembe eggwanga lyaffe we lifuulilwafuulilwamu ekyamaguzi ekiwaanyisibwa.

          [Kgj. 23.08.06]

EBIWANGUZO: omulowooza, omutima, amagezi, ekigambo, omuntu, ensimbi, emmundu.

                      [Kgj. 07.08.06]

Ensalawo eza ettendo zisooka kukolelwa mu mutima gwo ne oluvannyuma ne zivugibwa okwagala kwa Katonda okusingila ddala obwegombesa. [Kgj. 22.07.06]

Bwe otya okwebbika mu nnyanja toyinza kumanya bugagga buli ku ntobo yaayo. [Kgj. 22.07.06]

Omusingi ensi eno kwe yazimbilwa ela kwe ebaddenga efugilwa kwe kuba nga Obumerika bulijjo nsonga ya mulowooza na mutima. [Franklin Delano Roosevelt 1933-1945]

Ebilondwako bya omu kye kikkakkanya kya ebyanyi ebinyuunyunsi. [Kgj. 12.07.06]

Enjuba elimala kuzaama; Nnalubaale alimala kukala, ebile bilimala kukuuluula, ettaka lilimala kufuuka ddungu tulyoke tutegeele omugaso gwabyo ne okutandika okufuula ebinywanyi bya omukago? [Kgj.07.07.06]

Ebbugumu elisinza obubugume teliyinza kuba mu mulilo wabula mu muzila. [Kgj. 14.06.06]

Abakulembeze bulijjo bateekeddwanga okuwambaatila keggyassemuntwomu, keggyassebwamuntu ne obuwanilamagunjo okununulila ddala abantu baabwe mu kubonaabona (kwe balimu). [Kgj.10.06.06]

Nga kitalo nnyo okuba ne Kafugansi / Ssemutwe akila Bulange obulungi! [Kgj.24.11.04]

Kya muwendo nnyo okukola ekikyaamu mu butuufu okusinga okukola ekituufu mu bukyamu. [Kgj.24.11.04]

Obuwanguzi bwandiba nga tebuli ddala mu ngeli ya kwogela kituufu wabula mu kutegeeleza ddala engeli entuufu. [Kgj.03.11.04]

Buli anoonya okukuganyulwako tayinza kukubuulila mazima gonna; bwe oba ogaagala ggwe oteekwa okugamwogeza. [Kgj.23.08.04]

Omusana gukolebwa gutya; enkuba ekolebwa etya; ebintu ebyo bya mugaso ki? Omutindo gwabyo gwongelwako gutya? [Kgj.00.07.04]

Kya bukontansonga okubangila amakolelo mu muyungilo oguweela abawulize ennyo okukila abakozi ennyo. [Kgj.18.08.04]


Kikafuuwe okuwaayo obuweebwa ne obuyinza bwange obwa okukulembelwa nga bwe nsiima. [Kgj.07.07.04]

Ekiseela kituuse okwasa entamu omusota guttibwe ate tubumbe buggya entamu eŋŋumu, okusinga okutaatila omusota oguli mu ntamu ne tutalya ate nga bwe tulinze gutubojje. [Kgj.06.07.04]

“Ekibi kiwangulila awo abantu abalungi we balemelwa.”

“Sikkiliziganya na kya ogamba, kyokka nja kulwanilila okutuusa okufa obuweebwa bwo okukyogela.” [Voltaire: French Philosopher]

Wattu Bukristo bwe oba oliwo nga ekyeyambo kya okusendasenda abantu okuva mu kibi sso si nga eggunjo elilina obusobozi bwa okubeezesaawo obunnyini kinnampisa obukkilizibwa nga omusingi gwa obuyitimusi kinnabantu, awo ensingo yo ebulubuutila mu mutuzo gwa kawenkene. [Kgj.23.06.04]

Ekyo ekikulu ekibugaanye omutima gwa omuntu bwe buteesalilawo ne obuwangulwa. [Kgj.00.06.04]

Ekisoomoozo kiteekwa ekwoolekelwa na mulowooza kinnabwegendeleza ne kinnabukoza okutuuka ku bunnyini kinnabubaawo awatali kuboola bunnyini kinnabugelengetanya. [Kgj.00.06.04]

Obukulembeze bukolebwa Musono, Nsa, Nviisi na Butaggwaawo. [Kgj.15.06.04]

Ekyo ekiteekwa okutunyweleza awamu kye kigelelo kya okufunila abantu baffe ekyo ekisingayo obulungi nga tuyitila mu Jjungilo lya Obuteesaganya okutuuka ku Bunnyini Kawangulanya. [Kgj.13.06.04]

Omanyi ekisesa ku bufumbo, bwe butankamu bwabwo: kijjo ekya ekyama ate kinnambeelabantu; kinywanyiganyi si kinywanyiganyi nga tekilina nsonjola ntuukize. Ttwaale kinnambeelabantu elitalina batumbufu; okumanya si bwesimbu ne ababuwanilila tebaguma kugamba nti ekikolwa kyabwo kyokka ekikulu kwegadanga!! [Kgj.05.05.04]


Bannassebulange ba Uganda tekibajjangamu oba wadde okulaba ekiliwo nti obwaguuga bwa ebisoomoozo bya Uganda bisingila wala ‘Amerika’ obunene. [Kgj.22.03.04]


Obuwanguzi bwa ennwaano zaobuwanguzi buli mu kutuuka gye siyinza kutuuka. [Kgj.16.01.04]

Ssebo, Buganda eli mu nteekateeka ya kutandikawo Ssettendekelo ya Buganda. Kyandibadde kilungi okutandika Ekitongole kya Ebyennimi kubanga bwe eteefeeyo ku Luganda ku mutendela ogwo, abazimba Buganda bandizimbila obweleele. {eli Kakensa Fred M. Masagazi} [Kgj.16.01.04]

Okutuuka ku nsalawo eya omuwendo weekebejjeseze ddala enzikiliza yo, obunnyini bwo ne ekibungululo / ekibeelo ku nsalawo. [Kgj.06.11.03]

Ekizibu kyonna ka kinenewale kitya? Tonenyanga mulala, mukolele bukolezi wamu okutuuka ku mmulungula yaakyo entuukilivu. [Kgj.15.08.03]


Silina mbojjanyi yonna ku kya omukulembeze okuweebwa ebisanja byonna bannansi bye baagala olwa obukozi bwe mu kutuukiliza ebigendelelwa kinnamuwendo ebya ensi ne embabulungi yaabwe. Wabula bannansi bwe baba ne obuyinza obwa okuwa omukulembeze ebisanja bye baagala kyokka nga tebayinza, tebalina bukakase wadde okukakasibwa mu ssemateeka ne mu mateeka agafuga ensi: (o)kuggya omukulembeze ku buyinza mu kisanja we aba alemeleddwa okutuukiliza obuvunaanyizibwa bwe ku bigendelelwa kinnamuwendo [ebya ensi ne embabulungi ya bannansi], bannansi tebeetantalanga okussa omukono ku kuwa ebisanja ebisukka ku bibili [naddala ebya emyaka etaano gyokka, awatali kusukkawo, buli kisanja]. Ekyo bwe balikikolanga, baliba nga bagabanguzza obuweebwa bwa obuyinza bwabwe, nga ne akatono ke balina kalibaggyibwako. [Kgj.05.05.03]

Mu bukulembeze nduubililamu emiyungilo kinnamuwendo gino: Obutegeezi, Obwenkanyi, ne Obumu. Okugituukako twetaaga ebipimyo bya ekigelo kya buli kimu ku miyungilo egya engeli ebipimyo ebyo gye bituukibwaako mu bwenkane ate ne emisingi emilobya [kakuzzi] eginaagobelelwanga okulanga obukozi bwa ebipimyo ne emiyungilo kinnamuwendo egyo. [Kgj.05.05.03]

Bwe otoyinzisa bantu kulondako mu ngeli entuufu, tolyose kubanenya bwe balondako mu ngeli etali ntuufu. [Kgj.05.05.03]

Ka oleme kuba na ddulu ne olifuna okusinga okuba nalyo kyokka nga toyinza kulizuula. [Kgj.05.08.03]

Obunnyini bwa ameefuga ga Uganda buli mu ‘kitayogelekeka’. Buteekwa kwesigamizibwa ku bwetwaze kinnabitegeelo ne kinnakubaawo sso si ku bwetwaaze bwa ekigwiila. [Kgj.27.03.03]

Uganda okuwagila Amerika mu lutalo lwa e Iraka! Kili nga azilika okuwagila omusimi wa ennyanga nga asuubila nti omuziisi taagimuziikemu. [Kgj.23.03.03]

Oyo yenna atalumwa nnyonta ya nkulaakulana ya ku ntikko eya ekitundu gye asibuka ye atawagila bantu kuba na buyinza bwa bwebange obwa okukulaakulanila mu nsibuko yaabwe; ye atawoomelwa kuvuganya okwa obukulaakulanyi kinnamuyungo; ye avulubanila omugotteko ne obweetaaye bwa obunafu bwa emmeeme mu byenkulaakulana. [Kgj. 29.01.03]

Bwe tukkiliza nti obuyinza buli mu bannansi, tuteekwa okussa ekitiibwa mu buweebwa bwabwe obwa okuba ne obuyinza obusibukila ddala mu bukkiliza bwabwe, mu kwagala kwaabwe ne mu buwangwa bwabwe olwa ebigendelelwa ebilungi eli obulungi bwabwe. Obuyinza buno tebuteekwa kutigiinyilizibwa. [Kgj.29.01.03]

Etteeka ettuufu elisaanidde okuba mu ssemateeka lye elyo eliwembejja obulange bwa ennuŋŋamizibwa eya wonna ela eya olubeelela. Etteeka elyo liteekwa okubaako embala ya ekinnansi enzijuvu sso si eya ekitundu: obutali bujjuvu buno bwe buvaako obusambattuko. [Kgj. 27.01.03]

Kya muwendo nnyo okuba ne enkulaakulana eyeegombesa; ela enkolagana eya engeli nga eno eba yeesigamizibbwa ku bukalu obuganyuzi ela kawanilila muwendo. Enkolagana enfeebu ela enjabuluzi ye eyo ekakaatikwa obukakaatikwa ku bantu, kuba ebibala byaayo bikaawa ela bya butwa. [Kgj. 27.01.03]

Si nsobi busobi naye kya bulabe eli obunnabantu (obuweebwa) Kafugansi okubeela waggulu wa amateeka. Kino kileeta obutali bwenkanya mu bulamuzi obwa obuvunaanyizibwa ne omuyungo ogwa embeelabantu ne gutaataaganyizibwa. [Kgj.13.12.02]

Ekikolwa kya obufumbo kwe kwesanyusa okutuukilidde okuva mu kilowoozo ne ekisisiwalo ebisanyusa ku buwoomi bwa munno bwe mugabilagana ku kikolwa ekyo. mwembi okumatizibwa muteekwa kukilowoozaako ne okukisisiwala kyenkanyi. [Kgj.22.10.01] Ekizibu kya olunnabutuukilivu kwe kulindiza okukola ebituukilidde ate ne bitakolelwa ddala nga bituukilidde. [Kgj.22.10.01]

Abo abeekaliliza embeela ya obudde ne okugiteebeleza ne oluvannyuma ne bagibuulila ensi baleme kukoma ku kutunuulila ntambula ya mbuyaga, mpewo na buweweevu, nkuba na musana kyokka wabula beetegeleze na bino: - lwaki ebile, embuyaga, empewo, omusana, obuweweevu bili bwe bityo, kabi ki akabilimu - akabi ako kayinza kutangilwa katya? Olwo nno lwe banaazuula kye banoonyanga ela ne bayamba mu kutaasa ensi eno. [Kgj. 22.10.01]

Ensonga za obwannalukalala zisaana zitunuulilwe ku mitendela ebili: 1. Emmanduso ya obwannalukalala 2. Emmandukilo ya obwannalukalala [Kgj. 22.09.01]

Embeela eno ekenenulwe mu kubonaabona nga okwa Kristo. Eŋŋombolola etuukilidde eteekwa kuzuulilwa mu ekyo Katonda kye anaaba asazeewo anti Ye ajjudde obwenakanya, amazima ne ebyegombwa ebilala kateekubiila. Ejja kuba nsobi busobi Amerika ne banywanyi be okukuba ne okuleetela bassaalumanya okubonaabona mu kifo kya okuddila abantu bokka abaatanula ekittbantu ekyo. [Kgj. 22.09.01]

Ddala kya magezi okugenda mu maaso ne okusaanyaawo obulamu bwa abatono okusinga okukomya okufa kwa abantu abatabalika? [Kgj. 22.09.01]

Abo abavunaanyizibwa ku bulumbaganyi zzisabantu obwatilimbula abantu abasoba mu 10,000 bateekwa okusimbibwa mu nnamulilo babitebye ela bwe gubasinga bavumililwe olwa okwewa obuyinza ku bulamu. Wabula tewabaawo ne omu abuukila kubavumilila olwa ekikolwa kya obulunbaganyi bwa ekinnalukalala nga tannawenjulula mbeela yennyini ne akubila oba ne akakasiza ddala awatali kubusabuusa kwonna ku baani abavunaanyizibwa ku bikolwa bya obwannalukalala. [Kgj. 20.09.01]

Ekikolwa kya obujambula eli obulamu bwa abantu: bwe kiba kyatuuka ku Amerika ne mu Uganda kijja kutuuka singa emisingi gya obutabaganyi ne emilembe gyongela okutyooboolwa ne okussibwa mu kabi. [Kgj. 20.09.01]

[Obufumbo] Newaakubadde okwesanyusa kimu ku byetaagibwa ebisingila ddala, naye obufumbo tebusaanye kutunuulilwa nga ekisaawe kya okusanyusibwa ne okumatizibwa kwa omuntu ssekinnoomu wabula nga ekigango kya obwegassi ne okuwanililanagana. [Kgj. 18.09.01]

Amerika ye yeetaaga Uganda okutumbula enteekateeka zaayo oba Uganda ye yeetaaga Amerika okutumbula ezaayo – nkolagana nnabaki eno? [Kgj. 15.09.01]

Singa Uganda elumwa lwa kufiilwa bubaawo sso si ku kufiilwa bulamu bwa bantu, olwo nayo eli nga Amerika ku Bannayuganda. [Kgj. 14.09.01]

Ekyeeyoleko kya obweesengeleza: Bannayuganda bwe baba abeelaliikilivu olwa okutya okukendeeza oba okukomya obuyambi bwa emmele, olwa bakimanye nti luliba olwo Amerika ne ebapacca oluyi mu maaso. [Kgj. 13.09.01]

Lwaki Bannayuganda bandyeelaliikilidde nnyo ku kitalo ekyagudde ku Amerika sso nga Amerika teyandyelaliikilidde ku bitalo ebigwa mu Afrika?! [Kgj. 13.09.01]


MULOWOOZA