A. G. Mehta
A. G. Mehta (yazaalibwa nga 1 ogwokubiri 1927 – 10 ogwokusatu 1969) yali mubaka wa paalamenti mu Yuganda, munnamateeka omubanja era mutabani omukulu owa munnamakolero omututumufu mu Buyindi.[1] Ow'ekitiibwa A. G. Mehta yalondebwa nga meeya wa Asia-Buyindi eyasooka mu kibuga ekikulu ekya Kampala mu 1968 era yali wakulusegerenyo ne ssaabaminisita wa Uganda eyasooka Milton Obote; gwe yalwanirira wamu okulwanirira obwetwaze bw'eggwanga lino mu lukungaana lwa Ssemateeka wa Uganda mu 1961.[2][3][4] Aweebwa ekitiibwa olw'okuwandiika ebintu ku ekyo ekyandifuuse Ssemateeka wa Uganda eyasooka.[5]

Okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]A. G. Mehta yasomesebwa nga munnamateeka omubanja mu Queen Mary University of London, School of Law, mu bugwanjuba wa London, era mu mateeka yakkirizibwa okukola eby’amateeka mu Bungereza, Uganda ne Kenya.[6][7][8]
Olugendo lwe olw’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Omubaka wa Paalamenti
[kyusa | kolera mu edit source]Ng’omubaka wa palaamenti, A. G. Mehta yeetaba mu lukungaana lwa Ssemateeka wa Uganda mu Lancaster House mu 1961 ng’omu ku kibinja kya Uganda Peoples’ Congress (UPC) ng’ali wamu ne Milton Obote.[9] Olukungaana luno era lwetabwaamu Gavana wa Uganda mu kiseera ekyo, Sir Frederick Crawford, n’omuwandiisi w’ensonga z’amawanga agali mu matwale, Iain Macleod.[10] Ebiteeso ebyakolebwa Mehta n'abalala abaali mu lukungaana byavaamu Ssemateeka wa Uganda eyasooka, eyatandika okukola nga 9 omwezi gwe kuumi 1962.[5]
Meeya wa Kampala
[kyusa | kolera mu edit source]A. G. Mehta yalondebwa nga meeya Omuyindi eyasooka mu kibuga ekikulu ekya Uganda, Kampala, mu 1968.[3][11] Ng’ebuula wiiki emu affe mu 1969, Mehta yaggulawo omwoleso ogwasooka ku Nzikiriza ya Baháʼí mu National Theatre of Uganda, okwogera kwe okwaggulawo, kwetabwamu ebikonge by’ebuvanjuba bwa Afrika bingi, n’awagira nnyo obummu mu abantu.[12]
Amaka
[kyusa | kolera mu edit source]A. G. Mehta yazaalibwa nga yemutabani omukulu owa famire ya Mehta, emu ku maka g’Abayindi agasinga okuwangaala mu Kampala era agasinga okumanyika nga yasibuka mu Porbandar, Gujarat, India.[1] Famire ya Mehta yali emu ku baggaga abwasooka mu buvanjuba bwa Afrika nga balina bizinensi nnyingi omuli ez'ebyobulimi nga okukola ppamba ne kaawa.[13]
Oluvannyuma lw’okufa kwe mu 1969, nnamwandu wa Mehta, Savita Mehta (eyazaalibwa Radia) n’abaana bataano abaali basigaddewo —Avi Mehta, Asha Mehta (oluvannyuma Madhvani ), Asita Mehta, Alka Mehta, ne Aditi Mehta (oluvannyuma Rajani) — baagobwa mu Uganda eyali munne, Idi Amin.[14]
Muzzukulu wa Mehta ye Maya Asha McDonald, munnabyafaayo w’ebyemikono era munnamawulire Omuzungu okuvva eCanada amanyiddwa ennyo olw’ekitabo kye ekyafulumizibwa mu 2022 ku Pulezidenti wa Russia Vladimir Putin.[15][16]
Ebitabo n’ebitongole
[kyusa | kolera mu edit source]Omulimu A. G. Mehta gwe yakola mu kuteekawo Ssemateeka wa Uganda eyasooka mu 1962 guwandiikiddwa mu kitabo kya Ali AlʼAmin Mazrui ekyafulumizibwa mu 1978 ekya Political Values and the Educated Class in Africa ekyafulumizibwa University of California Press.[17]
Ebifaananyi by’emirimu gya Mehta egy’ebyobufuzi osobola okubisanga mu tterekero ly’ebitabo erya Bungereza era nga byateekebwa mu digito ekitongole kya Endangered Archives Programme.[18]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Nair, Savita (2018). "Despite dislocations: Uganda's Indians remaking home". Africa (in Lungereza). 88 (3): 492–517. doi:10.1017/S0001972018000190. ISSN 0001-9720. S2CID 149923975.
- ↑ Uganda Constitutional Conference, London, September-October 1961: basic papers on the Uganda courts (in Lungereza). The National Archives: Records of the Foreign and Commonwealth Office and predecessors. 1961.
- 1 2 "Meet Kampala's Mayors since Independence". New Vision (in Lungereza).
- ↑ National Assembly, Uganda (1968). Official Report (in Lungereza). Entebee: Uganda Govt. Printer.
- 1 2 "Uganda Constitutional Conference, 1961". New Vision (in Lungereza). October 2016.
- ↑ Kenya Gazette (in Lungereza). 1968-02-09.
- ↑ Kenya Gazette (in Lungereza). 1967-02-17.
- ↑ Kenya Gazette (in Lungereza). 1969-02-07.
- ↑ Great Britain, ed. (1961). Uganda: report of the Uganda Constitutional Conference, 1961 and text of the agreed draft of a new Buganda agreement initialled in London on 9th October, 1961. Cmnd. London: H.M.S.O.
- ↑ Mukholi, David (1995). A complete guide to Uganda's Fourth Constitution : history, politics, and the law. Kampala, Uganda: Fountain Publishers. ISBN 9970-02-084-6. OCLC 34471548.
- ↑ Government, Kampala (2019). "Statistical Abstract for Kampala City" (PDF). Kampala Capital City Authority: 16.
- ↑ Bahai News (August 1969). "Mayor of Kampala Speaks at First Bahai Exhibit" (PDF). Bahai News Published by the National Spiritual Assembly of the Bahai's of the United States (461): 17 – via Bahai Media Archive.
- ↑ Gregory, Robert G. India and East Africa a history of race relations within the British Empire 1890-1939. Clarendon Press. OCLC 1248076126.
- ↑ Archives, The National. "Expulsion of Ugandan Asians". The National Archives (in British English).
- ↑ McDonald, Maya Asha (2022-03-10). "Three Years Ago, I Had Dinner With Vladimir Putin. What He Told Me Makes Me Fearful for Ukraine's Cultural Heritage". Artnet News (in American English).
- ↑ "My dinner with Putin: What a Canadian learned from her strange encounter with Russia's president". Ottawa Citizen (in Canadian English). 2022-03-17.
- ↑ Mazrui, Ali A. (1 Oct 1978). Political Values and the Educated Class in Africa (in English). University of California Press. p. 347.
{{cite book}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ "Photo 24, EAP656/3/1/2". British Library, Endangered Archives Programme (in Lungereza). 1964. Archived from the original on 2022-01-13.