Jump to content

A Pass

Bisangiddwa ku Wikipedia
A Pass
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Yazaalibwa nga21 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 1989 Kyusa
Gy'azaalwaMengo, Uganda Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimusinger, musician Kyusa
Ebbanga ly'akoledde (okutandika)2011 Kyusa
Instrumentvoice Kyusa
Kika ky'ennyimbadancehall Kyusa
Official websitehttp://www.iamapass.com/, https://iamapass.com Kyusa

  Alexander Bagonza, asingakumanyibwa n'erinnya lye erya siteegi A Pass (era eyali APassKiller ), muyimbi era muwandiisi wa nnyimba Munnayuganda. Yazaalibwa e Uganda mu Gwekkumineebiri 21, 1989.[1] A Pass agamba nti erinnya lye erya siteegi liva mu Alexander erinnya lye erisooka ate Pass liva mu linnya lye eppaatiike, Percy.[2][3]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

A Pass yazaalibwa mu Gwekkumineebiri 21, 1989 era mwana waakubiri mu maka ga baana musanvu. Yasomera ku Kampala Kindergarten ku kusoma kwe okwa nasale, Nakasero Primary School ku kusoma kwe okwa pulayimale ne Merryland High Schools, ne St Lawrence Creamland ku ssomero lya siniya.[4]

Emirimu gy’okuyimba

[kyusa | kolera mu edit source]

A Pass yatandika okuyimba ng’omuntu yenna owomukkanisa owa bulijjo maye ekitone kye yasinga kukikuliza ku ssomero. Oluvannyuma yagenda mu situdiyo mu mwaka gwa 2003 omulundi gwe ogwasooka mu situudiyo naye teyakwataayo luyimba, naye kyeyasobola okufuna kyokka gemaloboozi g'ebivuga. Oluvannyuma A Pass yakomawo mu situdiyo oluvannyuma lw’emyaka mitono bwe yasisinkana mukwano gwe ayitibwa Eddy eyamukubiriza okwongera okuyimba mu ngeri ey’ekikugu. A Pass yatondawo enkolagana ey’amaanyi mu by’okuyimba ne Dave Dash mu kiseera ekyo eyali amanyiddwa nga A Dash era ababiri baakola ennyimba ez'enjawulo nga bali bombi.[5]

Mu 2011, yasisinkana dayirekita wa vidiyo Lukyamuzi Bashir eyalaba ekitone kye South Syde mu situdiyo gyebayimbira. Bashir yatandika okumutwala mu situdiyo ez’enjawulo okwetoloola eggwanga n’okumwanjula mu bantu ab’enjawulo ab’amaanyi mu kisaawe ky’okuyimba. Mu mwaka gwa 2012, BADI yazimba situdiyo y’okukwata ennyimba e Makindye eyitibwa Badi Musik Production. BADI yagenda mu maaso n’okwata vidiyo za A Pass mu 2013, ekyayongera amanyi mukutumbula ekitone kye. Mu kiseera kino A Pass eriko omukono era eddukanyizibwa kkampuni ya LLolypop Entertainment.[5]

A Pass akoze na bafulumya omuziki abawerako mu mutindo gwa Reggae ne Dancehall omuli Alex okuva e Jamaica (A.I.P), Black Spyda okuva e Jamaica, Nessim (Badi Musik), Baru (DustVille), Timo (Badi Musik), Just Jose (Swangz Avenue), Benon Mugumbya, (Swangz Avenue), Nash ( Swangz Avenue ), N'omugenzi Mac Elvis (South Syde), . Keyner (K Records), Samurae (Talent 256), Don (DustVille) n’abalala abawerako. A Pass egamba nti afuna okusikirizibwa okuva ku nnimba omuli dancehall, reggae, Rnb, hip hop ne afro pop okuva mu bayimbi nga Michael Jackson, Lucky Dube, UB40 n’abalala bangi.

A Pass akoze n’abayimbi ab’enjawulo omuli, A.Y. (omuyimbi), Goodlyfe okuva mu Uganda ne Cinderella Sanyu n’abalala bangi.[6] A Pass awandiikidde Bebe Cool enyimba[7] era yawandiise wamu ne Michael Ross oluyimba ‘Love I Feel’.[8] Gye buvuddeko yafulumya oluyimba lwa Wuuyo oluyimba olutongole olwa firimu y'ekina Uganda Bala Bala Sese eyakolebwa Usama Mukwaya.[9] A Pass amanyiddwa nnyo nga okukola ne mukwano gwe ne producer Nessim era ne producer wa vidiyo Lukyamuzi Bashir wansi w’ekitongole ekikuba ennyimba ekya Badi Musik.

Ekivvulu ekyasooka

[kyusa | kolera mu edit source]

Ogwolubereberye 31, 2025, A Pass yategeka ekivvulu kye ekyasooka nga ye yekka, (A Pass Live in Concert, 2025) ku wooteeri ya Kampala Serena. Omukolo guno gwaliko ennyimba ze ez’amaanyi era nga gwaliko bayimbi banne. Enteekateeka yatandika ku nkomerero ya 2024, n'okwegezaamu okwalimu bbandi ekuba layivu.

Olukalala lw'ennyimba zaakute ku ntambi

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Nva Kampala (2016) Omuntu w'abantu.
  • Africa Yayo (2018)
  • Bagonza (2024)
  • Apass (2025)

Ennyimba ezitawera alubaamu (Singles)

[kyusa | kolera mu edit source]

Ezimu ku nnyimba za A Pass ezisinga okwettanirwa mulimu zino wammanga:

  • Didadada
  • Love Infection
  • Am loving
  • Am lovin Remix
  • Tulikubigere
  • KLA
  • Mumpulila
  • So loud
  • Burn OP
  • Nyenya Omugongo
  • Run Bou Ya
  • One Of A Kind
  • Bartender
  • Tetubatya
  • Wuuyo
  • Muliwa (we deyah)
  • So High
  • Wyne on Time
  • Yuh Don Know Mi
  • Take Time Off
  • Abantu
  • Sida Mukyalo

Ennyimba zaayimbye ne bayimbi banne abalala

[kyusa | kolera mu edit source]

Ze yayimba n'abayimbi abalala

[kyusa | kolera mu edit source]

Wabaddewo obutakkaanya obutaggwa wakati wa A Pass n'abayimbi abalala mu Uganda .

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "All You Need To Know About Rising Star A Pass". Chano8 Digital Magazine. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 26 March 2015.
  2. satisfashionug. "A Pass talks music fashion women and being cool". SatisFashion Uganda. Retrieved 26 March 2015.
  3. "Llolypop Records - Events Organisers, Promoters and Marketing". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 26 March 2015.
  4. "All You Need To Know About Rising Star A Pass". Chano8 Digital Magazine. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 26 March 2015.
  5. 1 2 "Apass | West Nile xpozed". westnilexpozed.com. Retrieved 2025-07-16.
  6. "A Pass to release new video featuring AY and AirporTaxi soon". Bigeye.ug. Retrieved 26 March 2015.
  7. "Singer A Pass Pockets Shs2M For Bebe Cool's New Hit". Xclusive.co.ug. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 26 March 2015.
  8. "Micheal Ross Opens Up About 'Love I Feel' - Chano8". Chano8 Digital Magazine. Archived from the original on 4 April 2015. Retrieved 26 March 2015.
  9. "A pass' Wuuyo Soundtrack For The Bala Bala Sese Movie - Chano8". Chano8 Digital Magazine. Archived from the original on 21 April 2016. Retrieved 26 March 2015.
  10. Staff Writer (April 11, 2016). "Facts & Review Of Gamululu Remix Video By A Pass And Konshens". RedPepper. p. 1. Retrieved April 11, 2016.
  11. Josh, Ruby (October 10, 2021). "Impressive! Azawi's 'African Music' album already taking huge strides". Mbu. p. 1. Retrieved October 10, 2021.
  12. Habre Muriisa (11 Aug 2017). "A Pass Speaks Out On Alleged Beef With Bebe Cool" (in Lungereza). Chano8 Digital Magazine. Archived from the original on 13 August 2022. Retrieved 29 March 2019.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia.

[kyusa | kolera mu edit source]