Afirika
| Part of | Ostfeste, Ensi, Afro-Eurasia, Afro-Asia |
|---|---|
| Native label | Africa |
| Located in/on physical feature | Northern Hemisphere, Southern Hemisphere |
| Coordinate location | 0°0′0″N 15°0′0″E |
| Coordinates of geographic center | 7°30′0″N 21°0′0″E |
| Highest point | Mount Kibo |
| Lowest point | Afar Triangle |
| Owner of | International Council of African Museums |
| Shares border with | Eurasia, Asia |
| Has boundary | boundary between Africa and Asia, boundary between Africa and Europe |
| Studied by | African studies, African studies |
| Hashtag | africa |
| Depicted by | Study with Allegories of Europe and Africa |
| Geography of topic | geography of Africa |
| History of topic | history of Africa |
| most populous urban area | Lagos |
| Related category | Category:Explorers of Africa |
| Economy of topic | economy of Africa |
| Demographics of topic | demographics of Africa |
| Category for maps or plans | Category:Maps of Africa |

Ssemazinga Afirika. Afirika lumanyiddwa ng'olukalu lw'omwana w'omuddugavu. Lusangibwamu amawanga agawerera ddala 54. Ssemazinga ono wa njawulo nnyo kubanga afumbekeddemu obugagga obw'omuttaka, embeera y'obudde ennungi, abantu abalina empisa n'obuntubulamu, ebisolo eby'omunsiko n'ebinyonyi ebisinga ebitasangibwa ku ssemazinga mulala. Ku lukalu luno kwe kusangibwa omugga ogusinga obuwanvu mu nsi yonna oguyitibwa Kiyiira, n'ennyanja ekwata eky'okubiri mu nsi yonna mu bwaguuga eya Nnalubaale. Ssemazinga ono alina abantu ab'enjawulo, aboogera ennimi ez'enjawulo era nga balina n'obuwangwa obwenjawulo. Abafirika boogera ennimi enzaaliranwa eziwerera ddala enkumi bbiri.
Ebyafaayo bya Afirika
[kyusa | kolera mu edit source]Afirika eyogerwako nnyo mu byafaayo era ng'amawanga naddala ag'obukiikaddyo galina ebyafaayo ebyenkukunala ebimaze emyaka egisukka mu nkumi bbiri. Okugeza amasiro ga bassekabaka b'eMisiri abaayitibwanga ba falaawo gakyaliyo na kaakano. Omugga kiyiira gumanyiddwa nnyo mu byafaayo era nga ne mu bayibuli gwogerwako. Tujjukira nti jjajjaffe Yibulayimu yawŋŋaangukirako mu Afirika muno ate era ssemazinga ziri bbiri zokka Yezu omwana wa Katonda ze yalinnyako ng'emu ku zzo ye Afirika. Anti tujjukira nti nga kabaka Kerode bwe yali ayagala okutta omwana oyo, Katonda yalagira kitaawe Yozefu amuddusize e Misiri, wano mu Afirika. Ate ye kabaka omukyala eyakyalirako kabaka Solomooni naye yava ku lukalu lw'Afirika kuno. Mu nsagi zino nga wazzeewo tekinologiya ow'okunoonyereza, abakugu baazuula mu Tanzania obujulizi obukakasa okubaawo kw'abantu ku lukalu luno mu mirembe egy'edda ennyo. Era Afirika yeesinga okuba n'eddungu eddene erikira gonna munsi yonna erya Sahara. Eddungu lino olw'okuba eddene lityo, tewali yeetambaalanga kulisomoka, kubanga buli eyagezangako, yafanga nga tannatuuka gy'alaga. Noolwekyo, ebitundu ebiri mu bukiikakkono bw'eddungu lino byasigala nga byeyawudde nnyo ku nsi yonna era tewali yalowooza nti eno eriyo abantu okutuusa abatambuze abeetooloola ensi bwe baazula ebitundu bino nga bayitira ku ssemayanja.