Jump to content

Abakozi ba Goodlyfe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Radio & Weasel Bannayuganda abayimbi ababiri abaayimbiranga wansi w'ekibiina kya Goodlyfe. Abayimbi abakulu kwaliko; Moses Radio (amannyage amazaale ye Moses Nakintije Ssekibogo) ne [Weasel Manizo] (amannya ge amazaale ye Douglas Mayanja). Moses Radio yayimbira nga mu sitayiro ya RnB ng'ate ye Weasel nga ayimbira mu sitayiro za reggae, ragga ne dancehall.[1] Olw'obusobozi bwabwe mu kuyimba, Moses Radio ne Weasel baatandika okuyimbanga nga babiri era nebeetuuma Radio and Weasel. Omuyimbi omukulu mu kibinja nga ye weddoboozi Moses Radio yafa nga 1 Ogwokubiri 2018 ng'ensonga yava ku kufuna obuvune ku bwongo oluvannyuma lw'okukubibwa kanyama webbaala emu esangibwa Entebbe. Omuntu ono eyamutuusaako obuzibu yamukasuka ku ttaka naye nga waliwo obuwanvu nga bwa mmita 3 metres (ffuuti 9.8) ekyamuviirako obuzibu obwam'anyi ku bwongo obuyitibwa intracranial hemorrhage.

Radio ne Weasel era beebatandikawo ekibiina ky'abayimbi ekya Goodlyfe. Ekibiina kino ky'afunamu enkyukakyuka mu nsengeka y'akyo mu mbeera ezenjawulo nga muno mwe mwali okwegattwako abayimbi abalala omwali Chagga, Lenin Briton,ne Lawrence. Bangi ku bannakibiina kino baali bayimba nnyimba za kinnoomu awamu ne zebaayimbanga naabayimbi abalala.

Radio ne Weasel

[kyusa | kolera mu edit source]

Moses Radio (amannyage amazaale ye Moses Nakintije Ssekibogo) yali wa manyi mu mulimu gw'okuyimba. Yamalako siniya ye ey'okuna okuva mu 1998 okutuuka nga 2001 ku ssomero lya Holy Cross Lake View Secondary School erisangibwa e Jinja, gyeyaweerereza nga omukulebeze mu kibiina mu ssomero ekyali kiyitibwa Youth Alive Club. Yawandiika ennyimba mu kibiina ekyo era zaawangula mu mpaka ezaalinga mu ssomero ez'ekibiina ekyo. Mu 2002, Radio yasomera ku ssomero lya Kiira College Butiki erisangibwa e Jinja gyeyawummuliramu omulimu gwe ogw'okuyimba naasalawo asooke afe ku misomo gye. Oluvannyuma yeegatta He later joined Jose Chameleone's Leone Island Crew in 2004.[1] While working as Jose Chameleone's backing vocalist, Radio released solos on Leone Island Records. These include "Jennifer", "Dagala", "Wololo" and "Sweet Lady".[1] Sweet Lady was well received, though Radio's public profile remained low.

Weasel (amannya ge amazaale ye Douglas Mayanja) yatandika muyimbi eyeetongodde nga ayimba yekka nga ayambibwako mukulu we Jose Chameleone gweyayimbako naye mu luyimba lwa "Bomboclat" olw'akwata.

Radio ne Weasel baaliko abayimbi abaayambangako omuyimbi ow'amanyi amanyiddwa Jose Chameleone, naye oluvannyuma nebeeyawula ku kibinja kya Chameleone ekiyitibwa Leone Island Crew mu 2008 nebatandika ekyabwe ekya Goodlyfe Crew.

Abayimbi Radio and Weasel ennyimba zabwe zisobodde okuzannyibwa ku leediyo ezenjawulo mu ggwanga.[2] okutandikira ku luyimba lwa "Nakudata" mu 2008, Ababiri bano baafulumya "Lwaki Onumya", "Zuena", "Nyambura" ne"Bread and Butter". Wakati wa 2008, ababiri bano baayimba n'abayimbi omwali Rachel Kay, Blu*3, OS, Allan Toniks, GNL n'omuyimbi okuva e Zambia ayitibwa General Ozzy. Baayimbako mu buliwo era nebayimbako ne Munnayuganda omuyimbi Keko. Emabegako, baafunye ettutumu mu Afirika oluvannyuma lw'okuyimba naabayimbi omuli PJ Powers, gwe baayimba naye oluimba oluyitibwa "Home to Africa", omuyimbi okuva e Jamaica mu luyimba lwa "Fire & Butter".Abayimbi bano abalina ttalanta baayongerayo olugendo lwabwe olw'obuwanguzi nga bayimba naabayimbi ab'omu kibiina kya Warner Music Group abalongo abayitibwa Locnville mu luyimba lwabwe bokka olwa Done

Abayimbi abaali mu kibinja kya Goodlyfe

[kyusa | kolera mu edit source]

Radio And Weasel be baali abayimbi abakulu mu kibinja kino ekya Goodlyfe Crew. Emiwendo gy'abayimbi mu kibinja gyali gikyukakyuka naye bano be bayimbi abaali bammemba abakulu were:[3]

  • Weasel Manizo
  • Chagga Geoffrey
  • Emotions Felingz

Ba mmemba bonna baafulumyanga ennyimba zebaayimbanga ez'omu . Jeff Kiwanuka baamusikiza Chaggama ku bwa maneja Chaggama oluvannyuma lw'okumugoba ku nkomerero ya 2014.

Bammemba abaalimu

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Moses Radio yali omu ku Baatandika ekibiina oba CEO. Yafa oluvannyuma lw'okubeera n'obuvune obwo mu 2018 naaleka Weasel Manizo nga yekka yaaliwo nga Omutandisi [ [CEO] ][4]
  • Gift of Kado - yali munnakibinja owenkalakkalira oluvannyuma lw'okweyungako mu 2009.[5] Wabuka ate, mu Gwekkumineebiri gwa 2010, yalekulira era naatandikawo ekikye ekya Kaddo Pharm ngali ne Mr X (yafa mu Gw'omukaaga gwa 2012).[6]
  • Diamond Oscar[7]

Ekibiina kya Goodlyfe kirina ekifo ky'akyo webafulumiza ennyimba, ekya Goodlyfe Magic.[8] Wabula ate, ekibina kino kirina ennyimba endala kyezikoze,: bakoze ennyimba endala nga zikoleddwa abakozi bennyimba abalala okugeza, Washington, Bleas, Swangz Avenue, Bushington ne label Nash Wonder owa Monster.[9][10]

Controversies and collaborations

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2008, Radio and Weasel baafulumya oluyimba lwa "Potential" lwe baayimba n'omuyimbi okuva e Zambia ayitibwa General Ozzy.[11] Abayimbi bano baakola oluyimba lwa "Take my Heart Still" ne Ozzy.[12][13]

Mu 2009,ekibiina kya Goodlyfe ky'afulumya oluyimba olwatutumuka ennyo lwebaayimba n'omuyimbi ayitibwa Rabadaba, "Opportunity oba Ability". Wabuka ky'agambibwa nti oluyimba lwali lukolokota omuyimbi Bebe Cool, naddala mu kitundu eky'ayimbibwa Radio's[14] Ku ntandikwa ya 2014, Radio and Weasel baayimba ne Pallaso ne Mess, mu luyimba lwa "Amaaso".[15] Mu 2011, baafulumya "Dembesa" ne Da TWINZ.[16][17] Radio and Weasel baafulumya oluyimba olulala lwebaayimba ne Diamond Oscar lwebaatuuma "You Make Me cry".[18] Radio and Weasel bakoze ennyimba naabayimbi abalala mu Bannayuganda: "Tax Money" ne Sizza Man,[19] "Pollination", ne Obsession mu 2011.[20]

Mu 2010, Radio and Weasel baakola "Maama Wabaana" ne Tom Close.[21] ate mu 2013, baakola ennyimba naabayimbi omwali Desire Luzinda, ne "Hellena" ne David Lutalo.[22][23]

Mu Gw'okusatu 2011 okusika omugwa kwajjawo mu Kampala wakati wa Radio/Weasel ne Kenzo. Okusika omugwa kuno kwava ku luyimba lwa Ken[24]zo olwa "Mundeke Numbe". Ekibiina kya Goodlyfe lwali lulumiriza nti oluyimba olwo lwonna ne vidiyo yalwo yali nkoppe mu luyimba lwabwe olwa "Talk and Talk".

Mu Gwekkumineebiri gwa 2013, Radio and Weasel baalwana olutalo lwennyimba olwayatiikirira ennyo n'omuyimbi Bebe Cool. Baalutuuma "The Battle of the Champions", lwali ku kifo ekiyitibwa Kyadondo Rugby grounds.[25] Chameleone yasiima aba Goodlyfe engeri gyebaayimbamu; yasiima ne Bebe Cool.[26] Tewaaliwo kusalawo kulabika kwakolebwawo.[26][27] Kino era ky'aviirako nookutereeza obukuubagano obwaliwo wakai wabwe ne eyali mukama wabwe mu kibiina kya Leone Island Chameleone ne Radio ne Weasel. Bano beegatta ne Chamleone omulundi ogw'asooka oluvannyuma lw'okwawukana mu 2008.[28] Kino ky'aviira ababiri bano okuyimbira ku ssiteegi yeemu ne Chameleone mu kivvulu kya Tubonge ekyaliyo mu 2014.[29]

Mu 2013 ababiri bano baagamba nti obukuubagano n'omuyimbi w'omu Gagamel, Bebe Cool nabwo bwali buweddewo.[30]

Byebawangudde

[kyusa | kolera mu edit source]
  • 2010: Best East African Song – Bread and Butter/ Where You Are ft. BLU*3
  • 2011: Best East African Song – Heart Attack Vuvuzela
  • Channel O Music Video Awards
  • 2011: Most Gifted African East Video – This is How We Do It ft. Keko

Buzz Teeniez Awards Uganda

  • 2010: Hottest Group/Duo
  • 2011: Hottest Group/Duo
  • 2011: Hottest Collabo – Mr. DJ ft. Swangz Avenue

Okulondebwa okwetaba mu mpaka

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gw'omunaana gwa 2011, Abayimbi ba Goodlyfe Radio ne Weasle baalondebwa okwetaba mu mpaka za Africa music awards, MOAMA ku kibinja ky'omwaka. Oluyimba lwabwe olwa Vuvuzela(oluyimba olwayatiikirira mu 2010 ) lwali mu nnyimba zeekidongo ezaalondebwa okwetaba mu mpaka.[35]

Radio and Weasel Music albums Goodlyfe balina entambi nga kkumi 1. Mwana Wabandi (2016) 2. Neera & The Best of Radio & weasel (2015) 3. Amaaso Ntunga Album ( 2014 ) 4. Obudde (2014) 5. Fantastic (2014) 6. Tonjagala (2012) 7. Talk and Tailk (2011) 8. Ngenda Maaso (2010) 9. Bread and Butter (2009) 10. Nyambura (2008)

Ennyimba zabwe

[kyusa | kolera mu edit source]

(mulimu ennyimba ezaafulumizibwa Goodlyfe Crew/Radio ne Weasel releases)

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 http://www.ugpulse.com/articles/daily/Entertainment.asp?about=Radio+and+Weasel%3A+Living+the+Good+Life&ID=1104
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2015-02-07. Retrieved 2022-12-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://web.archive.org/web/20100623020711/http://www.goodlyfe.net/bio.html
  4. https://www.bbc.com/news/world-africa-42902215
  5. https://web.archive.org/web/20140419012252/http://www.ugandaonline.net/red.../the_hostel_s_tibba_thrown_out_by_lover
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2016-04-08. Retrieved 2022-12-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2014-04-14. Retrieved 2022-12-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2016-04-08. Retrieved 2022-12-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. http://bigeye.ug/battle-of-the-producer-nash-wonder-vs-washington/
  10. https://archive.today/20141116195921/http://lyrics256.com/2014/01/.../ring-a-bell-nakudata-remix-lyrics-radio-wease
  11. https://archive.today/20141116195921/http://lyrics256.com/2014/01/.../ring-a-bell-nakudata-remix-lyrics-radio-wease
  12. http://www.reverbnation.com/radioweasel/song/7841270-take-my-heart
  13. http://www.reverbnation.com/open_graph/song/7852562
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2019-04-30. Retrieved 2022-12-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. https://archive.today/20141116193125/http://lyrics256.com/2014/01/.../amaaso-lyrics-radio-weasel-ft-pallaso-the-mess
  16. https://archive.today/20141116193125/http://lyrics256.com/2014/01/.../amaaso-lyrics-radio-weasel-ft-pallaso-the-mess
  17. https://archive.today/20141116193125/http://lyrics256.com/2014/01/.../amaaso-lyrics-radio-weasel-ft-pallaso-the-mess
  18. https://web.archive.org/web/20141129075538/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Goodlfye-Moses-Radio-Weasel-and-Diamond-Oscar-You-Make-Me-Cry
  19. https://web.archive.org/web/20141129075538/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Goodlfye-Moses-Radio-Weasel-and-Diamond-Oscar-You-Make-Me-Cry
  20. https://web.archive.org/web/20141129075538/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Goodlfye-Moses-Radio-Weasel-and-Diamond-Oscar-You-Make-Me-Cry
  21. https://web.archive.org/web/20140407140544/http://www.songswale.com/radio-and-weasel-goodlyfe-maama-wabaana-bange-mp3.html
  22. https://web.archive.org/web/20141129075543/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Radio-Weasel-Desire-Luzinda-Fitting
  23. https://web.archive.org/web/20141129185433/http://lyrics256.com/tag/hellena-by-goodlyfe-and-david-lutalo/
  24. https://web.archive.org/web/20140403224053/http://ugandaonline.net/red_pepper/goodlyfe?category=141
  25. "Archive copy". Archived from the original on 2014-04-14. Retrieved 2022-12-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  26. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-02. Retrieved 2022-12-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  27. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-02. Retrieved 2022-12-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  28. https://web.archive.org/web/20140413144342/https://xclusive.co.ug/?p=7790
  29. https://archive.today/20141116195159/http://ugandaonline.net/news/view/.../moze_radio__weasel_all_set_for_tubong
  30. https://archive.today/20141116195159/http://ugandaonline.net/news/view/.../moze_radio__weasel_all_set_for_tubong
  31. https://web.archive.org/web/20141218163446/http://www.hipipo.com/hma/2014/news/553/Full-List-Of-Winners-Hipipo-Music-Awards-2014
  32. https://web.archive.org/web/20141218163446/http://www.hipipo.com/hma/2014/news/553/Full-List-Of-Winners-Hipipo-Music-Awards-2014
  33. 1 2 3 https://web.archive.org/web/20160130101808/http://museke.com/node/2396
  34. https://web.archive.org/web/20110223174235/http://allafrica.com/stories/201102220178.html
  35. https://web.archive.org/web/20140404042808/http://www.ugandaonline.net/news/goodlyfe?category=141
  36. "Archive copy". Archived from the original on 2014-04-20. Retrieved 2022-12-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
[kyusa | kolera mu edit source]