Abantu abasinga tebamanyi mugaso gwa ntobazi

Bisangiddwa ku Wikipedia

== Abantu abasinga tebamanyi mugaso gwa ntobazi==Awareness on swamps Abantu abasinga tebamanyi mugaso gwa ntobazi era bazonoona nga bazijjawo n’ebazimbamu amayumba n’okulima emmere, ekiretedde entobazi azisinga okusanawo, kino kitureteddwa ensonga y’obwaavu n’obufunda bw’ettaka. Ebigendererwa bya Gavumenti ku’mateeka agafuga obutonde bw’ensi. Gavumenti ya [Uganda] eteeka bino mu kukola: Okunyweezza amateeka agaakolebwa okusobola okukuuma obutonde era n’okukozesa obutonde okusoboola okuberawo kati ne jebulijja. Okubonerezza abantu abasangibwa nga bonoona obutonde okusobola okumalawo abazi be misango. Okukuuma emigaso gy’entobazi. Okukuuma obulamu bw’ebintu ebisangibwa mu ntobazi nga ensolo n’ebimera. Gavumenti ekiriza emirimu egitasanyawo butonde bw’ansi, gamba okufuna amazzi aganywebwa, okuvuuba mu nvuba ennungi n’okulunda. Era ekubirizza abantu n’ebitongole ebya nnakyewa okwongera okwogera ennyo n’okusasannya ku migaso gy’entobazi. <ref:wwf/lvceep>