Jump to content

Abdul Nadduli

Bisangiddwa ku Wikipedia
Abdul Nadduli
Munnauganda munnabyabufuzi.Yaliko minisita wa guno na guli mu kabineeti ya Uganda Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga22 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 1942 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waNakaseke Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimumunnabyabufuzi, Minisita Kyusa Wikidata
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa Wikidata
EdiiniIslām Kyusa Wikidata

Al hajji Abdul Nadduli (yazaalibwa nga 22 Ogwekkumineebiri 1942) munnabyabufuzi Omunnayuganda era munnamagye eyawummula azaalibwa mu Disitulikiti y'e Nakaseke.[1][2] Yaliko Minisita wa guno naguli mu Kabineeti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo nga 6 Ogwomukaaga 2016, ekifo kye yaweerezaamu okutuusa nga 14 Ogwekkuminebiri 2019.[3][4] Oluvannyuma lw’okusuulibwa ku kabineti mu December wa 2019, yalondebwa okubeera Omuwabuzi wa Pulezidenti Omukulu.[5]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Nadduli yazaalibwa nga 22 Ogwekkumineebiri 1942 ku kyalo Kaddunda mu ggombolola lye Kapeeka, mu Disitulikiti y’e Nakaseke. Bazadde be ye Nabukenya ne Ali Nadduli. Yasomera ku Luwero Boys Primary School ne Lukalu Quran School, oluvannyuma ne yegatta ku Gulu Central Technical School ne Ndejje Teachers College.[1]

Uganda Radio Network yategeeza nti yatikkirwa mu yunivasite y’e Bugema n’afuna diguli ya Bachelor of Arts mu by’obulamu n’okuddukanya embeera z’abantu.[6]

Nadduli yakola yasomesaako ku Kalasa Church of Uganda Primary School mu Disitulikiti y’e Luwero okumala emyaka 11, nga tannegatta ku kibiina ky’abayeekera ekya National Resistance Army (NRA) mu 1980 oluvannyuma lw’okusisinkana Yoweri Museveni mu Disitulikiti y’e Luwero.[1]

Emirimu gy'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ssentebe wa Disitulikiti y'e Luwero

[kyusa | kolera mu edit source]

Nadduli yaweereza ebisanja ebiwerako nga ssentebe wa Disitulikiti y’e Luwero (LC V). Lipoota ya ACODE score-card ey’omwaka gw’ebyensimbi 2011/2012 eraga nti yali aweereza ekisanja kye eky’okusatu era nti emabegako yaweerezaako nga ssentebe wa disitulikiti mu biseera 1996 okutuuka mu 2001 ne 2001 okutuuka mu 2006; lipoota y’emu eraga nti yaddamu okulondebwa mu March wa 2011 oluvannyuma lw’okufiirwa ekifo kino emabegako mu 2006.[7]

Mu kulonda kwa ssentebe wa disitulikiti mu 2011, New Vision yategeeza nti yawangula n’obululu 40,780 ng’avuganya ne Ronald Ndawula eyali mu ntebe ekiseera ekyo, eyafuna obululu 32,354, mu kuvuganya kw’abeesimbawo basatu.[8]

Mu 2015, Ronald Ndawula yawangula ekifo kya ssentebe wa NRM mu Disitulikiti y’e Luwero mu kulonda kw’ekibiina, n’adda mu bigere bya Nadduli.[9]

Emirimu gya kabineti n’okuwabula

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 6 Ogwomukaaga 2016, Pulezidenti Yoweri Museveni yalonda Nadduli Minisita wa guno naguli ku kabineti ya Uganda.[3][4]

Nga 14 Ogwekkumineebiri 2019, yakyusibwa n'alondebwa okubeera omuwabuzi wa Pulezidenti Omukulu mu nkyukakyuka ezaakolebwa.[5][10]

Obuvunanyizibwa mu kibiina

[kyusa | kolera mu edit source]

In 2016, Nadduli ye yali omumyuka wa ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement mu ggwanga lyonna owa Buganda.[11] Yaweerezaako ku kakiiko akafuzi ak'okuntikko aka NRM Central Executive Committee (CEC) ng'akiikirira ekitundu ky'omumasekkati ga Uganda.[12]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 "The Making of Retired Major Abdul Nadduli". Uganda Radio Network. 23 December 2022. Retrieved 15 December 2025.
  2. ↑ Independent, The (2021-08-08). "Retirement of Gen Kigongo, Maj Nadduli from army raises debate". The Independent Uganda: (in American English). Retrieved 2026-06-26.{{cite web}}: CS1 maint: extra punctuation (link)
  3. 1 2 "Betty Kamya, Nadduli and Tumukunde in new cabinet". The Independent (Uganda). 6 June 2016. Retrieved 15 December 2025.
  4. 1 2 "I've been appointed for my hard work - Nadduli". New Vision. 6 June 2016. Retrieved 15 December 2025.
  5. 1 2 "President Museveni Reshuffles Cabinet". Uganda Radio Network. 14 December 2019. Retrieved 15 December 2025.
  6. ↑ "Nadduli petitions High Court over his disqualification". Uganda Radio Network. 18 January 2006. Retrieved 15 December 2025.
  7. ↑ "Nadduli Rubbishes Local Government Score Card :". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2026-07-05.
  8. ↑ "Nadduli bounces back in Luwero". New Vision. 25 February 2011. Retrieved 15 December 2025.
  9. ↑ "Nadduli's rival wins Luweero NRM chairperson seat". Uganda Radio Network. 18 September 2015. Retrieved 15 December 2025.
  10. ↑ "Unforgettable moments of former ministers: Nadduli, Onzima". New Vision. 15 December 2019. Retrieved 15 December 2025.
  11. ↑ "Nadduli bows out of elective politics". New Vision. 10 May 2016. Retrieved 15 December 2025.
  12. ↑ "Why top NRM party officials skipped Nadduli son's burial". Daily Monitor. 26 October 2022. Retrieved 15 December 2025.