Abdullah Muhammad Mukwaya
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ezzadde lye | Usama Mukwaya |
| Omulimu | qadi |
| Ediini | Islam |
Abdullah Muhammad Mukwaya Musomesa, mukulembeze wa ddiini era Munnayuganda,nga mu kiseera kino ye Disitulikiti Kaadi mu Disitulikiti y’e Mbarara wansi w’ekitundu ky’e Ankole-Kigezi.[1][2]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Kaadi: okuva 2019 okutuusa kati
[kyusa | kolera mu edit source]Yatongozebwa mu buyinza nga 24 Ogwokuna 2019 nga Pulezidenti wa Uganda, Yoweri Kaguta Museveni [3][4][5] yeeyali omugenyi omukulu ku mukolo wamu ne Mufuti wa Uganda, Sheikh Shaban Mubajje. Pulezidenti era yasimba ejjinja ku ddwaliro lya Supreme General (Hospital) eribalirirwamu obuwumbi n’obuwumbi, pulojekiti empya mu Munisipaali y’e Mbarara eddukanyizibwa Abasiraamu mu disitulikiti y'e Mbarara.[6] Pulezidenti era yawa Mukwaya ekirabo kya kapyata w'emotoka.[7] Okutongozebwa kwa Mukwaya kwakulemberwaamu Ssentebe w’akakiiko ka Uganda akookuntikko akakulembera obuyisiraamu ( Uganda Muslim Supreme Council) Sheikh Ahmed Nyago.[8][9][10]
Mukwaya yadda mu bigere bya Shiekh Ahmed Siraj Kwikiriza eyafiira mu kabenje k’emmotoka mu Gwomwenda 2017 ku Independence Park bweyali agenda okukulembera okusaala Eid-Adhah ku muzikiti gwa Abubakar mu divizoni y’e Kakoba.[11][12]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mukwaya ye taata wa dayirekita wa firimu era omuwandiisi w'ebifaananyi Usama Mukwaya.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Disitulikiti y'e Mbarara
- Yoweri Kaguta Museveni
- Uganda Muslim Supreme Council
- Sheikh Ahmed Nyago
- Sheikh Ahmed Siraj Kwikiriza
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Ankole Muslim Clerics Call for Peace and Reconciliation :: Uganda Radio Network". ugandaradionetwork.com.
- ↑ "Muslims asked to be security conscious". www.newvision.co.ug.
- ↑ Trumpet, Admin (25 April 2019). "President Commends Muslims' Unity in Mbarara - Trumpet News".
- ↑ Kakeeto, Moses. "Photo: Govt to support Muslim Community-Museveni - Newz Post".
- ↑ "Museveni atenderezza obumu bw'Abasiraamu". www.bukedde.co.ug. 27 April 2019.
- ↑ "NRM National Chairman Commends Muslims for Unity". 25 April 2019.
- ↑ "Museveni officially delivers car to Mbarara district Khadi". 5 October 2019.
- ↑ "Museveni Urges Muslims to Maintain Unity as Mbarara Gets New District Khadhi – Online news from Uganda and the East African region – SoftPower News". Archived from the original on 26 April 2019. Retrieved 26 April 2019.
- ↑ https://redpepper.co.ug/talking-tough-mbarara-muslims-task-govt-on-service-delivery-curse-area-woman-mp/129850/
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/mbarara-musilm-land-dispute-resolved-after-seven-years/
- ↑ URN. "Mbarara district Kadhi dies in Eid day accident". The Observer - Uganda.
- ↑ "President commends Muslims' unity in Mbarara District – KMAUPDATES". Archived from the original on 5 May 2019. Retrieved 5 May 2019.