Jump to content

Abel Kandiho

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Abel Kandiho
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Erinnya eriweereddwaAbel Kyusa
Gy'azaalwaGomba Kyusa
Omulimumilitary personnel Kyusa

Meeja Genero Abel Kandiho, Munnayuganda nga munnamagye. Yalondeddwa okubeera omuwabuzi wa pulezidenti omukulu ku Lwokutaano nga 17, Ogwokusatu 2024. Emabegako yali awerezaako nga Joint Chief of Staff mu poliisi ya Uganda, okutandika nga 9 Ogwokubiri 2022.[1]

Okuva nga 25 Ogwoluberyeberye 2022 okutuuka nga 8 Ogwokubiri 2022, yasindikibwa ku mirimu mu South Sudan, ng’omubaka ow’enjawulo.[2] Kyokka omulimu guno gwakyusibwa era mu kifo ky'omulimu ogwo n’alondebwa okuba omukwanaganya w'emirimu gy'ebitongole (Chief of Joint Staff) mu kitongole kya poliisi ya Uganda.[3]

Emabegako yaweerezaako ng'akulira eby'ekikessi mu ggye lya Uganda People's Defence Force (UPDF).[4]

Kigambibwa nti emabegako Kandiho obutemu obw'omuddiringanwa mu bitundu bya Uganda eby'ebibuga wakati wa 2015 ne 2018 yabussa ku kiwayi ky'abamenyi b'amateeka ekirina akakwate ku Genero Kale Kayihura eyaliko omuduumizi wa poliisi .[5] Kandiho "mu kyama yalumirizza eyali akulira poliisi okukola kampeyini egenderera okulaga obunyomero bw'obubuga obw'omunda ng'obutafugika".[6] Kandiho, mu kiti kye ng’akulira CMI, yali omu ku bantu abaabuuza Kale Kayihura ebibuuzo mu buntu, oluvannyuma lw’okukwatibwa kwe mu 2018.[7]

Mu Gwekkuminoogumu 2017, ku ddaala lya Kkano(Colonel) era ng'omuduumizi w'ekitongole ky'amagye ekikessi (CMI) yakuzibwa okutuuka ku ddaala lya Bbuligeediya(Brigadier).[8] Mu Gwekkumineebiri 2019, ku ddaala lya bbuligeediya Kandiho yasisinkana Luteenanti Genero Jeremiah Nyembe, akulira ekitongole ekikessi mu magye ga South Afirika, n’ekigendererwa eky’okugabana amawulire.[9]

Emabegako, Ogwokutaano 2014 nga tegunnatuuka, ku ddaala lya luteenanti kkano, yaweerezaako ng'omuduumizi w'enkambi y'amaggye ey'e Makindye, ekitebe ekikulu ekya UPDF Military Police. Nga 30 Ogwokutaano 2014, yasikizibwa Kkano Emmanuel Kanyesigye. Kandiho yasigalawo ng'omumyuka w'omudduumizi.[10]

Mu 2009, ku ddaala lya Meeja, Kandiho yali munnamagye ku kitongole ky'amagye ekikessi ki CMI.[11] Mu 2019, olupapula lw'amawulire olwa The Independent (Uganda) lwategeeza nti Kandiho yakolera ku kitebe kya Uganda mu Kigali, Rwanda, ku ntandikwa y’emyaka gya 2000, gye yalina obutakkaanya n’ebitongole bya Rwanda eby'ebyokwerinda.[12]

Mu Gwekkumineebiri 2021, Abel Kandiho, yasongebwamu olunwe envumbo eggwanga ly'Amerika ez'alangirirwa ekitongole kyabwe ki U.S Department of the Treasury. Eby’obugagga bya Abel Kandiho mu Amerika kati byassibwako envumbo. Olwebigambibwa nti y'enyigira mu misango gy’okutyoboola eddembe ly’obuntu.[13][14]

Mu Gwoluberyeberye 2022, yasikizibwa Meeja Genero James Birungi ng'akulira ekitongole ekikessi mu magye ga UPDF. Kandiho yaweebwa emirimu egyenjawulo mu South Sudan.[2]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Muhamadi Byemboijana (9 February 2022). "Museveni Appoints Major General Abel Kandiho As Chief of Joint Staff of Uganda Police Force". SoftPower Uganda. Retrieved 9 February 2022.
  2. 1 2 Julius Barigaba (25 January 2022). "Uganda's military intelligence boss, Gen Kandiho, removed from post". The East African. Nairobi, Kenya. Retrieved 26 January 2021.
  3. ChimpRports (9 February 2022). "Why Museveni Cancelled Ex-CMI Boss Abel Kandiho's Transfer To South Sudan". ChimpReports.com. Retrieved 9 February 2022.
  4. Sarah Kagingo (14 April 2020). "Chief of Military Intelligence, Abel Kandiho Promoted To Major General For Meritorious Performance". SoftPower Uganda. Retrieved 17 May 2020.
  5. Amon Katungulu (3 September 2018). "CMI Commander Surrounded By Angry Traders In Kisekka Market". Nile Post Uganda. Retrieved 17 May 2020.
  6. The Capital Times (28 March 2020). "Gen. M7 Promotes CMI Boss 'Abel Kandiho' To The Rank Of Maj. Gen". The Capital Times. Archived from the original on 27 February 2021. Retrieved 17 May 2020.
  7. Risdel Kassira and Joseph Kato (15 June 2018). "We Are Grilling Kayihura – UPDF". Retrieved 17 May 2020.
  8. Franklin Draku and Eric Dominic Bukenya (23 November 2017). "Museveni promises pay raise for soldiers, promotes SFC, CMI commanders". Retrieved 17 May 2020.
  9. Risdel Kasasira (13 December 2019). "CMI, South Africa Intelligence Bosses Meet To Discuss Security". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 17 May 2020.
  10. Ronald Mubiru (30 May 2014). "Makindye Barracks Get New Commandant". Retrieved 17 May 2020.
  11. Charles Ariko (19 October 2009). "Judge Locks Media Out of CMI Chief Case". Retrieved 17 May 2020.
  12. Ronald Musoke (2 September 2019). "Museveni–Kagame: What To Look Out For Next". Retrieved 17 May 2020.
  13. RFI (9 December 2021). "Ouganda : le Trésor américain prend des sanctions contre le chef des renseignements militaires". Retrieved 9 December 2021.
  14. "Treasury Targets Repression and the Undermining of Democracy". U.S. Department of the Treasury (in Lungereza). Retrieved 2021-12-26.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]