Abraham Byandaala
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Abraham |
| Yazaalibwa nga | 14 Gusooka 1950 |
| Gy'azaalwa | Yuganda |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | engineer, munnabyabufuzi, Minisita |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere, University of Strathclyde |
| Gyabeera | Kampala |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement |
Abraham James Byandala (yazaalibwa nga 14 Ogwolubereberye 1950) yinginiya, munnabyabufuzi era Munnayuganda. Ono ye yali Minisita w'Emirimu n'Entambula mu Kabineti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 27 Ogwokutaano 2011.[1] Yadda mu bigere bya John Nasasira, eyalondebwa okubeera Nampala wa Gavumenti (Chief Whip).[2] Byandala era yaweerezako nga Omubaka wa Paalamenti omulonde owa Essaza ly'e Katikamu Mubukika kkono bwa Uganda , mu Disitulikiti y'e Luweero mu paalamenti ya Uganda ey'ekkumi (okuva 2016 okutuuka 2021).[3]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Abraham Byandala yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Luweero nga 14 Ogwolubereberye mu 1950. Alina Ddiguli esooka mu bwa Yinginiya bw'Okuzimba (BSc.Civ.Eng.), gyeyafuna okuva ku Yunivasite y'e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde era esinga obunene mu Uganda. Ddiguli ye ey'Okubiri mu bwa Yinginiya bw'Okuzimba (MSc.Civ.Eng.), yagifunira ku Yunivasite y’e Strathclyde, e Glasgow mu Scotland. [4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Ebyafaayo by’emirimu gye biweza emyaka egisukka mu 40 mu By'entambula /By'enguudo za Uganda. Nga tannalondebwa ku bwa Minisita w’Eby'entambula n’Emirimu, yakolako nga Yinginiya era nakola nga Omupimi w'ettaka (Omupunta) w’ekibuga Kampala. Ebiseera ebimu yaweerezako nga Ssentebe w’Akakiiko ka gavumenti akavunaanyizibwa ku bizimbe n'enguudo.[5] Mu 2016, Byandala yeesimbawo ku bw'Omubaka bwa Paalamenti, ng'akiikirira Essaza lya Katikamu mu Bukika kkono bwa Uganda, mu Disitulikiti y'e Luweero wansi w'ekibiina ekiri mubuyinza kya National Resistance Movement era yawangula, ekisanja kye kyatandika 2016 okutuusa 2021.[6][3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Mukasa, Henry (28 May 2011). "Museveni Names New Cabinet". Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 1 September 2014.
- ↑ "Comprehensive List of New Cabinet Appointments And Dropped Ministers". 27 May 2011. Retrieved 1 September 2014.
- 1 2 "Byandala Abraham James - 2016 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2025-08-24.
- ↑ "Parliament of Uganda: Profile of Engineer Byandala Abraham James, MP for Katikamu County North, Luweero District". Parliament of Uganda. 2011. Archived from the original on 4 March 2016. Retrieved 1 September 2014.
- ↑ Nalumansi, Angela (15 August 2011). "Court Dismisses Election Petition Against Byandala". Archived from the original on 1 September 2014. Retrieved 1 September 2014.
- ↑ Times, European (2 October 2012). "Minister Abraham Byandala: Transport And Works Minister Committed To Service Delivery". The European Times. European Times. Archived from the original on 4 March 2016. Retrieved 1 September 2014.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- CS1 Lungereza-language sources (en)
- Abaazaalibwa mu 1950
- Abantu abalamu
- Baminisita b'ebyentambula mu Uganda
- Abantu abasibuka mu Disitulikiti y'e Luweero
- Abayizi abaasomera ku Yunivasite y'e Makerere
- Baminisita b'emirimu gy'eggwanga mu Uganda
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda eyoomwenda
- Abaganda
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi
- Bannabyabufuzi abali mukibina ekiri mubuyinza (NRM)
- Bannabyabufuzi mu Uganda