Jump to content

Abraham Luzzi

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Abrahan Luzzi)
Abrahan Luzzi
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaAbraham Kyusa
Omulimumusuubuzi Kyusa
GyeyasomeraNkumba University Kyusa

Abraham Luzzi amanyikiddwa nga Mr. Economy, Munnayuganda, musuubuzi, munabyabufuzi ate nga ayagalanyo okutumbula ebyemizannyo Emirimu gye gikwata ku by’obugagga ebiva mu ttaka, okuteekateeka n’okwongera omutindo ku mmere, eby’obulamu n’ebyentambula, eby’obulimi, ne by’obusuubuzi obw’enjawulo.[1][2][3] Ye mutaandisi wa Ssebo food industries Uganda limited ne Ssebo pure Gold and jewelry center era yaddukanya n'amakampuni amalala agali wansi wa Ssebo Internationalgroup mu Afirika, mu bulaaya,ne mu middle East[4]

Luzzi era yennyigira mu bukulembeze bwe by’emizannyo n’okuwagira enkulaakulana y’abavubuka, ng'okubeera mu mitendera egy’obukulembeze mu Uganda Police Football Club n’okutandikawo essomero ly’emizannyo mu London.[5][6] Mu 2022, yafuna ekiwandiiko ekimukugira okwennyigira mu mirimu gyona egyekuusa ku by'emizannyo nga kino kyamuweebwa ekitongole kya FUFA ekikwasaganya eby'empisa, okusalawo kweyawakannya mu butongole [7][8][9]

Ng'ovudde ku mirimu gy’obusuubuzi, Luzzi yenyigira mu by’obufuzi bya Uganda. Yasooka kubeera mukwanaganya wa National Resistance Movement (NRM) mu Mityana ne Mubende, oluvannyuma navuganya ku kifo kya Ssentebe wa Palamenti owa Mityana Municipality mu 2021. Oluvannyuma yayingira mu Democratic Party nga tannaba kwesimbawo nga ttanagumira mu byabufuzi ng'omuntu.[3][10][11] Mu kulonda kwa 2026, yavaayo ng’omubaka okukiikirira Kampala Central nga yajjiira ku bwa namunigina, era n’afuna ettutumu lingi mu bantu olw’empaka ze ezalabika nnyo ku mikutu gya gimugatta bantu (social media), engeri gy’akwatamu abantu , awamu n'okwogera ku bintu abantu bye bagala nga okulwanyisa obwavu, okukyusizaamu enkola y’okufuga, okuteekateeka by’ensimbi by'eggwanga, n’enteekateeka z’okulambulula obulungi ekibuga.[12][1][13]

Manifesito yali eraga ebikolebwa ng’okukendeeza ku bunene n’omuwendo gwa Palamenti, okugaziya enkola za digito ez’okuweereza gavumenti, okutereeza ebibonerezo by’emisango emitonotono, n’okuleeta ebibonerezo ebikakali eri enguzi, ebifo ebipya ebireteddwa okusooka okubaganyibwako ebirowoozo okw’amaanyi mu lujjudde. Omubala gwe ogwa kampeyini, “Sarah muwanvu,” ng’ajuliza mukyala we Sarah Luzzi, gwafuuka ensonga enkulu ennyo mu bubaka bwe obw’ebyobufuzi n’okubeera ku yintaneeti.[14][12]

Obuto bwe n’Ebyenjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Abraham Luzzi mutabani wa Hajj Badru Kafuuma omutuuze w’e Kakiri Luwunga mu Busiro mu Disitulikiti y’e Wakiso, wa kika kya Nsusu, n’omugenzi Hadijah Nantaba, nga yava ku kyalo Kibanga e Bukandula mu Disitulikiti y’e Gomba okuva mu lunyiriri lw’omugenzi Kalfane Gwayambadde ow’ekika ky’e Ffumbe.[4]

Pulayimale yagisomera ku masomero gaSOS Hermann Gmeiner mu kakiri, siniya yagisomera ku Kawempe Muslim Secondary School, Mityana Secondary School, ne Lubiri Secondary School.[15]

Luzzi yasoma Physics, Chemistry, Biology, ne Mathematics ku daala lya Advanced Level oluvannyuma ne yeegatta ku Mulago Paramedical Schools okusoma Orthopedic Medicine.[16] Oluvannyuma yegatta ku NkumbaYunivasite, gye yafunira diguli ye esooka mu by’okugula ebintu n’okuddukanya emirimu. Mu kiseera kino asoma diguli mu mateeka ng'agisomera ku Victoria University Uganda.[17]

Luzzi musuubuzi nga ssente aziteeka mu bintu eby’enjawulo, omuli okusuubula zaabu n’okusima omusenyu, okusima amayinja, alima ebintu by'okutunda, okulima enjaga y'eddagala mu nnima ey'enjawulo (Medicinal canarbis farming), okukola n'okuwereza ebintu ebifuluma ebweru,contract financing,okukyusa ensimbi (forex), okwongera ku birime omutindo, oblambuzi, n'ebyentambula.[18] kwebyo era yennyigira ne mumirimu emiralala nga, akola emirimu gy’okutambuza ebintu, okugogola, n’okuweereza, n’emirimu emirala.[19]

Ono ye yatandikawo era nannyini Ssebo Food Industries Uganda Ltd, kkampuni ekuguse mu kulongoosa eby’obulimi mu bungi n’okukola emmere, gamba nga Ssebo Pure Maize Flour. Ekirala, awereza nga nannyini Ssebo Pure Gold and Jewelry Center, esangibwa ku Serena Hotel mu Kampala. Ekifo kino eky’ebyokwewunda essira kisinga kulissa ku kusuubula n’okukola dizayini ya zaabu ow’omutindo n’ebintu eby’okwewunda ebirala. Luzzi yeenyigira mu kulimisa ebyuma n’okutumbula amakolero g’ebyobulimi, ng’essira aliteeka ku nkola z’ebyobulimi ez’omulembe n’okutumbula omuwendo gw’emmere.[19]

Ebitongole bye bikolera mu mawanga nga Uganda, Democratic Republic of the Congo, n’amawanga amalala nga South Africa, United States of America, Canada, Bungereza, China, ne United Arab Emirates (Dubai).[20]

Awereza nga ssentebe w’ekibiina kya Ssebo International Group, mwe yayita n’okutandikawo ettendekero ly’ebyemizannyo e Hammersmith, North West London, okuwagira abavubuka ba Uganda ab’emyaka 10 okutuuka ku 16.[21]

Mu 2019, yali omu ku baawaayo ssente za Ttiimu ya Ssingo Ssaza mu mpaka za Airtel Masaza Football Championship.[22] Mu 2021, yalondebwa okuba kiyunzi n'okuddukanya Uganda Police Football Club era nga yaliko akulira okutawuluza obutabanguko mu bantu.[5] Mu mwaka gwe gumu, yawandiikira ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA), ng’asaba okwekenneenya n’okukyusa mu mateeka agafuga okukyusa abazannyi.[23]

Mu 2022, Luzzi yawerebwa okwetaba mu mirimu egyekuusa ku mupiira ku mutendera gw’eggwanga n’ensi yonna okumala emyaka kkumi. Abakungu abalala abawerebwa ku mabbali ge kwaliko munnamawulire David Isabirye ne James Kaweesa.[24] Akakiiko ka FUFA akakwasisa empisa n’okukangavvula kabasaako omusango gw’okugatta emipiira.[25] Wadde nga kyasalibwawo kityo, Luzzi yejjulira mu kooti, n’asigala nga talina musango era n’alumiriza nti omusango guno gwali gwa byabufuzi.[26]

Luzzi era yawerezaako ng’omukung’anya w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu disitulikiti y’e Mityana ne Mubende. Mu kulonda kwa 2021, yavuganya ku kifo ky’omubaka wa Palamenti ng’akiikirira Mityana Munisipaali wansi wa w'ekibiina kya NRM kyokka n’awangulwa Bugembe John Mary mu kalulu k’ekibiina.[27] Oluvannyuma yalumiriza ekibiina kya NRM okukola okubba akalulu era ne yeegatta ku kibiina kya Democratic Party (DP) n’ekigendererwa eky’okuggyako Owek. Francis Zaake ow'ekibiina kya National Unity Platform (NUP).[28] Kyokka mu kampeyini ze mu kibiina kya DP, oluvannyuma yalabibwako ng’awagira owa NRM eyali yeesimbyewo ku bwapulezidenti.[11]

Yeesimbawo ku kifo ky'omubaka wa Palamenti ng'akiikirira Kampala Central Division ng'avuganya ku bwannamunigina.[20][29] Endowooza ye ey’ebyobufuzi yalimu ennongoosereza; ye muwagizi w’enkyukakyuka okuva mu nkola eriwo. Omubala gwe mu kampeyini, “Sarah muwanvu,” gujuliza mukyala we Sarah Luzzi.[20] Abalala abesimbawo ku kifo kye kimu kwaliko eyakwatira NUP bendera, Lewis Rubongoya, Hon. Minsa Kabanda, Suzan Kushaba, ne Moses Muhangi.[30] Kabanda yawangula akalulu kano era Luzzi neyeyama okolera wamu naye

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Omusunsuzi, Bukedde (2025-11-17). "Is Abraham Luzzi a pace setter for Kampala Central Politics?". New Vision. Retrieved 2025-11-19.
  2. "I'm not lousy, I'm not a loser: I am Luzzi. Vote me in or shut up! - The EastAfrican". www.theeastafrican.co.ke. Retrieved 2025-11-19.
  3. 1 2 Naimanye, Andrew Victor Mawanda. "Abraham Luzzi: The Self-Made Businessman Turning Kampala Politics on Its Head". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-11-19.
  4. 1 2 "Who is Abraham Luzzi, the outlandish candidate shaking up Kampala MP race | Pulse Uganda". Pulse Uganda (in Lungereza). Retrieved 2025-11-02.
  5. 1 2 Abdusalam, Kigozi (2021-12-07). "Abraham Luzzi: Police Boosts Marketing and Sales Department". ChimpReports (in American English). Retrieved 2025-11-01.
  6. Isabirye, David (2017-09-26). "Abraham Luzzi becomes 11th FIFA Player Intermediary in Uganda". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2025-11-19.
  7. "Ethics and Disciplinary Committee bans three officials – FUFA: Federation of Uganda Football Associations" (in American English). 2022-03-23. Retrieved 2025-11-19.
  8. "Fufa finally come down hard on match-fixing, hand lengthy bans". Monitor (in Lungereza). 2022-03-26. Retrieved 2025-11-19.
  9. Abdusalam, Kigozi (2022-03-24). "Luzzi Slams FUFA's 10-Year Ban Handed to Him over Match-Fixing". ChimpReports (in American English). Retrieved 2025-11-19.
  10. "NRM primaries loser Luzzi defects to DP". New Vision. Retrieved 2025-11-19.
  11. 1 2 "Confusion as DP parliamentary candidate backs Museveni for presidency". Monitor (in Lungereza). 2021-01-12. Retrieved 2025-11-01.
  12. 1 2 Naimanye, Andrew Victor Mawanda. ""Mr. Economy" Abraham Luzzi Pledges Transparent, Digital-First Leadership for Kampala Central". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-11-19.
  13. "Amos Wekesa, Kin Kariisa praise Abraham Luzzi's economic vision". Pulse Uganda (in Lungereza). 2025-11-14. Retrieved 2025-11-19.
  14. Writer, JAVIRA SSEBWAMI | PML Daily Staff (2025-11-08). "Luzzi Unveils Wide-Ranging Reform Agenda for Kampala". PML Daily (in American English). Retrieved 2025-11-19.
  15. Sseggiriinya, Mark Peter (2025-10-31). "Hon Luzzi, Sarah is Tall – Sqoop". Sqoop – Uganda Entertainment News (in American English). Retrieved 2025-11-01.
  16. "Who is Abraham Luzzi – Pulse Uganda". Pulse Uganda. Retrieved 2025-11-02.
  17. Ssejjombwe, Isaac (2018-02-27). "Abraham Luzzi finds solace in sports academy – Sqoop" (in American English). Retrieved 2025-11-02.
  18. Ruby, Josh (2025-11-08). "Meet Abraham Luzzi, the Independent Candidate for Kampala Central MP (2026–2031)". MBU (in American English). Retrieved 2025-11-11.
  19. 1 2 Naimanye, Andrew Victor Mawanda. "Abraham Luzzi: The Self-Made Businessman Turning Kampala Politics on Its Head". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-11-11.
  20. 1 2 3 admini (2025-10-24). "Abraham Luzzi: The Internet Sensation Promising To Transform Kampala Central". The Insider (in American English). Retrieved 2025-11-01.
  21. Ssejjombwe, Isaac (2018-02-27). "Abraham Luzzi finds solace in sports academy - Sqoop" (in American English). Retrieved 2025-11-02.
  22. Isabirye, David (2019-05-20). "Abraham Luzzi: Ssingo is favourite to retain the Airtel Masaza football trophy". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2025-11-02.
  23. "Police FC's Abraham Luzzi requests FUFA to adopt new transfer legislation". Monitor (in Lungereza). 2021-12-31. Retrieved 2025-11-01.
  24. Kazibwe, Kenneth. "Two Ugandan officials banned from football for 25 years over match fixing". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-11-01.
  25. "Fufa finally come down hard on match-fixing, hand lengthy bans". Monitor (in Lungereza). 2022-03-26. Retrieved 2025-11-01.
  26. Kazibwe, Kenneth. "Ugandan referee handed 10-year ban over match-fixing". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-11-02.
  27. "Loser in NRM primaries joins DP". New Vision. Retrieved 2025-11-01.
  28. "Mityana municipality DP candidate abandons Mao, campaigns for Museveni". The Independent Uganda (in American English). 2021-01-10. Retrieved 2025-11-01.
  29. "Abraham Luzzi: Lousy Voters Get Lousy Leaders – Uganda Radio Network" (in American English). Retrieved 2025-11-01.
  30. Namwanje, Salmah. "Tough Battle Brewing in Kampala Central as Rubongoya, Muhangi, and Kabanda Clash". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-11-01.

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]