Jump to content

Absa Bank Uganda Limited

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Absa Bank Uganda Limited, eyali emanyiddwa nga Barclays Bank of Uganda Limited, bbaanka y’eby'obusuubuzi mu Uganda. Lyafuna layisiinsi okuva mu Bbaanka ya Uganda enkulu, mu ggwanga era evunaanyizibwa ku kulungamya bbaanka z’eggwanga. [1] Bbaanka eno kampuni ya Absa Group Limited, ekitongole ekikola ku by’ensimbi, ekisangibwa mu South Africa, nga kirina kampuni za bbaanka mu mawanga ga Afrika 12 ne ofiisi ezikiikirira abantu mu mawanga amalala 2 aga Afrika. [2] Absa Bank Group, emigabo gyayo gye gisuubulwa ku JSE Limited, kyategeezebwa nti erina eby’obugagga byonna omugatte mu buwuumbi bwa doola za Amerika 91, wetwatukira mu Gwomwenda 2019. [3]

Emirimu gyayo

[kyusa | kolera mu edit source]

Bbanka eno okusinga yeenyigira mu kutuukiriza ebyetaago bya by'abantu sekinoomu eby'okutereka mu bbaanka, bizineensi entonotono n’eza wakati (SMEs), n’ebitongole ebinene. Nga 2006 tannatuuka, bbaanka eira yalisa nga ku kutuukiriza byetaago bya bitongole ebinene byokka n’abantu sekinnoomu abalina ssente ennyingi. Esira eryo lyasumulula ne liyingizaamu SMEs ne bakasitoma ba bulijjo. [4] Webwatukira mu Gwekumineebiri 2023, eby’obugagga bya bbaanka eno byonna byali bibalirirwamu tuliriyooni za ssente za Uganda 4.5, nga bwebuwumbi bwa doola za Amerika 1.19. Nga 31 Ogwekumineebiri 2021, emigabo gya bannannyini gyali gibalirirwaamu obuwumbi bwa ssente za Uganda 521.956, nga bwebukadde bwa doola za Amerika 148. [5] Mu mwaka ogwo, amagoba ga bbaanka oluvannyuma lw’okusolooza omusolo gaali obuwumbi bwa ssente za Uganda 110, nga bwebukadde bwa doola za Amerika 31.2. [6] Webwatukira 31 Ogwekumineebiri 2019, Absa Bank Uganda yali baanka ey'okusatu mu z'obusuubuzi ezisinga obunene mu ggwanga, okusinziira ku by’obugagga. [7] Webwatuukira Ogwekumineebiri 2022, Absa Bank Uganda yalina eby’obugagga ebibalirirwaamu obuwuumbi 4.23 , nga zze doola za Amerika obuwwumbi 1.143, nga zino zaali ebitundu 9.31 ku 100 ku by’obugagga bya baanka byonna mu ggwanga mu kiseera ekyo. [8]

Baanka eno yagulwaawo mu 1927, ng’erina amatabi gamirundi 2 mu kibuga ekikulu ekya Kampala, ate limu e Jinja, ekifo eky’okubiri mu bunene bw’eby'obusuubuzi mu biseera ebyo mu ggwanga. Mu 1969, baanka eno yafuna bizineensi ya Uganda eya Commercial Bank of Africa. [9] Mu Gwokubiri 2007, baanka eno yamaliriza okugula kampuni ya Nile Bank Uganda Limited, n’enyweza okubeerawo kwayo mu ggwanga. [10] [11]

Obwannannyini

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1969, eby'amaguzi bya baanka eno byali ebitundu 51 ku 100 nga byali mu mikono gya Barclays ate ebitundu 49 ku 100 nga bidukannyizibwa gavumenti ya Uganda. [9] Wetwatukira mu 2001, baanka eno yali efuuse kampuni edukannyizibwa aba Barclays. [12] Okuva mu Gwokusatu 2016, baanka eno ebadde edukannyizibwa aba Barclays Africa Group. [13] Olw'okuddamu okukyuusakyuusa mu Barclays Africa Group, mu 2018, Absa Bank Uganda ye kampuni ya Absa Group Limited ebitundu 100 ku 100. [14]

Omukutu gw’amatabi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekitebe kya baanka eno ekikulu kisinganibwa ku 2 Hanington Road, ku lusozi Nakasero, mu Kampala. Webwatukira mu Gwomusanvu 2013 , baanka eno yalabirira amatabi mu bifo bino wammanga: [15] [16]  

Okukyusa amannya

[kyusa | kolera mu edit source]

Okutandika mu Gwomunaana 2019, Barclays Bank of Uganda yatandika okwekyuusa okufuuka Absa Bank Uganda Limited. [17] Enkola eno yakomekerezebwa nga 11 Ogwekuminoogumu mu 2019, amannya ga baanka eno mu mateeka ne bizineensi bwe gakyuuka ne gafuuka Absa Bank Uganda Limited. [18] [19]

Baanka eno edukanyizibwa olukiiko olufuzi. ssentebe w’olukiiko luno y’omu ku ba dayirekita abatali bakulu. Webwatukira mu Gwokuna April 2025, ssentebe yali Keith Kalyegira. Akulira emirimu era akulira ba maneja mu kifo ky’okukola emirimu ye David Wandera. [20]

Mu Gwokusatu 2020, eyali Akola nga Ssentebe yali Nadine Byarugaba. [21] Yavaayo mu Ogwekumineebiri 2024. [22] Okuva nga 1 Ogwokuna 2020 Mumba Kalifungwa yatandika okukola ng'akulira ba maneja eyali omusingi ng'era alina omugaso, ng'era y'Akulira Eby'emirimu. [23] Yavaayo mu Gwokusatu mu 2025 ne yeegatta ku Stanbic Bank Uganda Limited ng'akulira Eby'emirimu. [22]

Ekyo nga tekinnabaawo, eyali akulira ba maneja yali Mian Nazim Mahmood. Yalondebwa mu Gwomusanvu 2019, ng'eyali Akulira Eby'emirimu Ow'ekiseera, ate nga bwebanoonya akulira eby'emirimu era ng'alina omugaso . Nazim alina Diguli Mukudukanya Bizineensi, eyaweebwa Yunivasite y’e Massachusetts, Amherst ne Diguli Ey'okubiri mu Kudukanya Bizineensi mu By’ensimbi okuva kutendekero lya Bentley College, mu Waltham,e Massachusetts, byonna biri mu Amerika. [24] Nga tekinabeerawo, Rakesh Jha yaweereza mu kifo ekyo. Alina diguli ya MBA mu by’Okutunda gye yafuna okuva mu IMED ne diguli ya Bachelor of Arts (BA) gye yafuna okuva mu Yunivasite y’e Mumbai. Amangu ddala nga tanalondebwa ku bw'akulira ba maneja, Jha yeeyali akulira ba maneja mu Barclays Bank ey'e Seychelles. [25]

Webwatukira mu Gwokusatu 2025, bamemba ku lukiiko luno bali nga bwe bawandiikiddwa mu kimeeza wansi. [26]

Olukiiko olufuzi olwa Absa Bank Uganda
Eddaala Memba Okunnyonnyola Ekifo Ebiwandiiko
1. 1. Keith Kalyegira atali dayirekita omukulu Ssentebe wa ssentebe
2. 2. David Wandera Executive Director CEO & maneja dayirekita [20]
3. 3. Alex Rugamba atali dayirekita omukulu Memba [26]
4. 4. Sophie Nkuutu atali dayirekita omukulu Memba [26]
5. 5. Phillip Aliker atali dayirekita omukulu Memba [26]
6. 6. Ina De Vry atali dayirekita omukulu Memba [26]
7. 7. Michael Segwaya Executive Director akulira ebyensimbi [26]
8. Edward Ocen omuwandiisi wa kkampuni Memba [26]
Okugatta
8

Mu Gwekumineebiri 2021, Absa Bank Uganda kye kyali ekitongole ky’eby'ensimbi ekyasooka mu ggwanga okuleeta ebyuma bya ebisobola okukiriza ssente n'okuzifulumya ebiyitibwa ATM, nga bakozesa esimu sereza, nga tewali kaadi za byuuma bya ATM biriwo kati ezikozesa kaadi. Absa Banking App ekola ku QR Code,ng'eno kasitoma agiyisa kulutimbe lwa ATM oluvannyuma n’agikiriza okukola omulimu gw’ayagala. [27] [28]

 

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Uganda Radio Network (12 November 2019). "ABSA Uganda Officially Drops Barclays Brand Name". Uganda. Retrieved 12 November 2019.
  2. "Absa Group Limited: About Us". Absa Group Limited. 2020. Retrieved 27 March 2020.
  3. Adrian Frey (23 October 2019). "Barclays in Mozambique rebranding as Absa Bank". Club of Mozambique. Archived from the original on 21 February 2020. Retrieved 27 March 2020.
  4. "Overview of Barclays Bank Uganda". Barclays Bank Uganda. Archived from the original on 3 May 2014. Retrieved 2 May 2014.
  5. Esiara Kabona (16 April 2022). "Absa Uganda profit up as bad debts shrink". The EastAfrican. Retrieved 18 April 2022.
  6. Javira Ssebwami (12 April 2022). "Absa Bank Uganda records UGX110 billion in profits in 2021". PML Daily. Retrieved 18 April 2022.
  7. Muhereza Kyamutetera (4 May 2020). "Absa Bank Uganda's Assets Reach UGX3.4 Trillion, Moves From Fifth To Third Largest Bank, By Assets". CEO Magazine Online. Retrieved 5 May 2020.
  8. Taddewo William Senyonyi (9 May 2023). "Exclusive: Largest & Smallest Banks By Assets Named As Total Industry Assets Hit Shs45.4Tn In 2022". Business Focus Uganda. Retrieved 24 August 2023.
  9. 1 2 Barclays Africa Group (31 December 2017). "Barclays Africa Group: Uganda: About Us: 1969". Barclays Africa Group. Archived from the original on 14 June 2018. Retrieved 31 December 2017.
  10. URN (20 December 2006). "Barclays Confirms Purchase of Nile Bank". Uganda Radio Network (URN). Retrieved 4 August 2014.
  11. Lori Chang (22 January 2007). "UK-Based Financial Services Group Barclays Buys Nile Bank of Uganda and Plans to Enter Microfinance Sector in Uganda". MicroCapital. Archived from the original on 3 October 2016. Retrieved 4 August 2016.
  12. "Founding banks and building societies: Barclays Bank of Uganda Limited". Barclay Bank. 30 August 2015. Archived from the original on 8 March 2016. Retrieved 30 August 2015.
  13. Khisa, Isaac (8 March 2016). "Uganda: Barclays to Get New Owners". Retrieved 8 March 2016.
  14. Adengo, Jonathan (2 March 2018). "Barclays becomes Absa". Retrieved 21 July 2018.
  15. "List of Branches of Barclays Bank Uganda". Barclays Bank Uganda. Archived from the original on 3 May 2014. Retrieved 2 May 2014.
  16. Mwesigwa, Alon (15 January 2013). "Barclays Closes Branches, ATMs". The Observer (Uganda). Retrieved 2 May 2014.
  17. Alfred Ochwo (15 August 2019). "Barclays Bank Starts Rebranding To Absa". The Observer (Uganda). Kampala. Retrieved 8 November 2019.
  18. Mwesigwa Alon (11 October 2019). "Barclays Uganda to Become Absa Uganda On November 11th". Kampala: Uganda Radio Network. Retrieved 11 November 2019.
  19. Paul Ampurire (11 November 2019). "BOU Issues Licence To Absa Uganda After Rebranding From Barclays Bank". Kampala: SoftPower Uganda. Retrieved 11 November 2019.
  20. 1 2 "Wandera named Absa interim chief executive after Mumba joins Stanbic". Daily Monitor. 16 December 2024. Retrieved 4 March 2025.
  21. Kenneth Kazibwe (19 March 2020). "Absa Uganda gets new Managing Director". Nile Post Uganda. Kampala. Retrieved 19 March 2020.
  22. 1 2 Javira Ssebwami (2 December 2024). "Absa Bank Uganda bids farewell to outgoing board chairperson Nadine Byarugaba". PML Daily. Retrieved 3 December 2024.
  23. Ashita Chopra (19 March 2020). "Absa appoints Mumba Kalifungwa new Absa Uganda MD". Retrieved 19 March 2020.
  24. Julius Businge (16 July 2019). "Barclays Bank Uganda Managing Director Rakesh Leaves". Retrieved 11 November 2019.
  25. Nation Reporter (15 September 2014). "James Kinyany Appointed Barclays Seychelles' Interim Managing Director". Retrieved 9 September 2014.
  26. 1 2 3 4 5 6 7 Kenneth Kazibwe (28 October 2021). "Absa Bank Uganda appoints new board members". Nile Post Uganda. Retrieved 28 October 2021.
  27. Lydia Labanya (15 December 2021). "New digital solution to ease banking experience". New Vision. Retrieved 15 December 2021.
  28. Joan Banura (14 December 2021). "Absa Bank Customers Can Now Withdrawal Money Using QR Codes". PCTechMag.com. Kampala, Uganda. Retrieved 15 December 2021.

Ewalala w'okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]