Acan Joyce Okeny
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Joyce | |
| Erinnya lya famire | Achan | |
| Yazaalibwa nga | 22 Gwakutaano(Muzigo) 1965 | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | munnabyabufuzi, legislator | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda, PWD Representative, Minisita | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement | |
| Okwesiimbawo kwe mu kalulu | Akalulu ka Uganda aka 2026 | |
| Mmemba wa | 12th Parliament of Uganda | |
Acan Joyce Okeny Munnayuganda munnabyabufuzi era munnasayansi era nga ye mubaka omukyala akiikirira abantu abaliko obulemu mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumineebbiri.[1][2][3][4][5][6] Ono ye Minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu, abakozi n’okutumbula embeera z’abantu mu nsonga z’abantu abaliko obulemu mu Paalamenti ya Uganda ey’ekkuminebbiri, oluvannyuma lw’okulondebwa Yoweri Kaguta Museveni era n’atwalibwa ng’asinga okukwatibwako naddala eri abantu abaliko obulemu mu Kampala.[7][8][9]
Ebimukwatako eby'omunda n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Alina diguli ey'okubiri mu by’okukwasaganya abakozi ne diguli ey'okubiri mu by’enjigiriza by’abantu abakulu okuva mu Ssettendekero wa Makerere.[10]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]
Yalondeddwa Pulezidenti Museveni ku bwa minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’abantu (ku nsonga z'abaliko obulemu) mu Paalamenti ya Uganda ey’ekkumineebbiri.[7][8] Yasuubizza okukolagana n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kubala emiwendo gy'abantu mu Uganda ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) n’ekitongole kya National Information Technology Authority-Uganda (NITA-U) okuzimba enkola eno n’okuwagira okunoonyereza okukulemberwa PWD okumalawo ebiziyiza enkola. Nga minisita, yasuubiza okwewaayo okussa mu nkola n'okugoberera okutuusa ku bantu ebikozesebwa bya gavumenti eby'omutindo, entambula, ne ICT nga bigendereddwamu okunyweza pulogulaamu za z'amatendekero agasomesa Bizinensi, eby’ekikugu, eby’emikonoez'atuumibwa Business, Technical, Vocational Education and Training (BTVET) okusobozesa okutumbula emirimu.[11]
Joyce era yaweerezaako nga kansala mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga kya Uganda ekikulu ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) olw’emikisa egy’enkanankana era y’asunsulwa ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement eky'Obukiikakkono bwa Uganda ng’omubaka wa Paalamenti PWDs.[10] Alina okumanya n’obukugu mu kukulaakulanya n’okuddukanya ekitongole, abakozi n’okuddukanya pulojekiti, obukulembeze n’okufuga n’okubunyisa amawulire. Ono ali mu kakiiko ka Paalamenti akakwasaganya ensonga z'abaliko obulemu aka Uganda Parliamentary Forum for Persons with Disabilities.[12]
Joyce yatandika olugendo lwe olw’ebyobufuzi ku nkomerero y’emyaka gya 1990, ng’aweereza ng’omukiise w’aba PWD ku lukiiko lw’ebibuga e Nakawa okuva mu 1998 okutuuka mu 2005. Mu 2006, yalondebwa mu KCCA ng’omukiise w’abantu abaliko obulemu (PWD), ekifo kye yaweerezaamu okumala emyaka 10 egya likodi okutuusa mu 2016. Mu 2015, yavuganya ku kifo ky’omubaka wa Paalamenti ow’omu Bukiikakkono ku kifo ky’abantu abaliko obulemu nga tannawangulwa William Nyokrach ayali mu ntebe n’obululu 30 bwokka.[10]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Members of Parliament | Parliament of Uganda". parliament.nwtdemos.com. Retrieved 2026-06-19.
- ↑ "Members of Parliament | Parliament". mpsdb.parliament.go.ug. Archived from the original on 2026-06-19. Retrieved 2026-06-19.
- ↑ "MP Acan Joyce Okeny Salutes Workers, Demands Space for PWDs in all Catagories of Work". TAYARI NEWS UGANDA (in American English). 2026-05-01. Retrieved 2026-06-19.
- ↑ Mugabi, Sam Ibanda (2026-02-04). "Uganda: Disability MPs Elections - Joyce Can, Mpindi Bumali Lead As Minister Asamo Loses Seat". Nile Post (in Lungereza). Archived from the original on 2026-06-20. Retrieved 2026-06-19.
- ↑ "Joyce Acan Okeny, incumbent Female MP for PWDs :: Uganda Radionetwork". ugandaradionetwork.net. Retrieved 2026-06-19.
- ↑ "Archives". The Voice Uganda (in American English). 2023-08-17. Retrieved 2026-06-19.
- 1 2 "The Cabinet - State House Uganda" (in American English). 2023-08-02. Retrieved 2026-06-19.
- 1 2 "Kampala PWDs Hail President Museveni For Appointing Hon Acan Joyce Okeny As Minister For Disability Affairs". TAYARI NEWS UGANDA (in American English). 2026-06-03. Retrieved 2026-06-19.
- ↑ "Why Hon Acan Joyce Okeny Could be Uganda's Most Impactful Disability Minister". TAYARI NEWS UGANDA (in American English). 2026-06-11. Retrieved 2026-06-19.
- 1 2 3 Bwanika, Elisha Z. (2020-08-13). "Former KCCA councillor Joyce Acan calls for equal opportunities as she is nominated for NRM Northern Uganda MP for PWDs". Watchdog Uganda (in British English). Retrieved 2026-06-19.
- ↑ "Govt to fast-track national disability data system to curb high school dropout rates". Monitor (in Lungereza). 2026-06-11. Retrieved 2026-06-19.
- ↑ "Publicity Secretary (UPFPWDs) Profile - UPFPWDs" (in American English). 2025-03-14. Archived from the original on 2026-06-19. Retrieved 2026-06-19.
Ebijuliziddwamu wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Okulondebwa kwa kabineti ku Lwokubiri: Aba PDWD Baaniriza Okulondebwa kwa Acan Joyce Okeny
- Hon Acan Joyce Okeny Aweze Okulwanirira Abantu Abaliko Obulemu Nga Akwata Ofiisi Nga Minisita.
- "Acan Joyce Okeny Awangudde Binene; Asigazza Ekifo kya PWD mu Palamenti n'obululu 602".
- Okulondebwa kwa kabineti ku Lwokubiri: Aba PDWD Baaniriza Okulondebwa kwa Acan Joyce Okeny