Jump to content

Achilleus Kiwanuka

Bisangiddwa ku Wikipedia
Achilleus Kiwanuka
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Name in native languageAchile Kiwanuka Kyusa
Yazaalibwa nga1869 Kyusa
Gy'azaalwaBuganda Kyusa
Olunaku lwe yafa3 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 1886 Kyusa
Place of deathNamugongo Martyrs Shrine Kyusa
Manner of deathhomicide Kyusa
Cause of deathdeath by burning Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimuchild actor Kyusa
Canonization statusCatholic saint Kyusa
Feast dayJune 3 Kyusa
Magnum opuscanonization Kyusa

Achilleus Kiwanuka, era amanyiddwa nga Achileo Kiwanuka oba Achilles Kiwanuka oba Achiles Kiwanuka (1869 – Ogwomukaaga 3, 1886), yali mujulizi wa Uganda Omukatoliki assibwamu ekitiibwa ng’omutukuvu mu Klezia Katolika.[1]

Kiwanuka yazaalibwa Lulagala mu Ssaza ly’e Ssingo era yali y'eddira Lugave ekika ky’Abaganda.[2] Kitaawe yali mumyuka w'akulira essaza omukukuutivu okumala ebbanga ddene.[3]

Ku myaka kkumi n'etaano Kiwanuka yalondebwa okuweereza n'gomubaka mu kisenge ky'abawuliriza mu lubiri lwa Kabaka Mwanga II owa Buganda,[4] yakyuka n'adda mu nzikiriza y'Ekikristaayo wansi w'ekibiina ky'abaminsani ekyali kimanyiddwa nga Missionaries of Africa.[5] Yabatizibwa Pere Simeon Lourdel mu kiro kya 16 Ogwekkuminoogumu mu 1885, n'afuna erinnya Achilles.

Kabaka Muteesa I y'eyayaniriza abaminsani era n'afuba okuzannyisa Abakatoliki, Abakristaayo n'abasuubuzi Abasiraamu, ng'afa kw'omu asoose okujja, ate oluvannyuma omulala azzeeko, olw'ensonga z'eby'obufuzi. Mutabani we, Mwanga II ye yamuddira mu bigere mu 1884 ng'alina emyaka kkumi na mukaaga era n'atandika okutunuulira Abakristaayo ng'abalabe, kubanga baali batutte emitima gy'abaweereza be nga tebayamuwuliriramu. Okulumba kw'Abagirimaani okwakolebwa ku lubalama lwa ssemayanja nakwo kwamuleetera okwekengera abantu b'ebweru. Ng'atidde nti bano bandi muwakanya essaawa yonna, yagoba abaminsani n'alagira okutta Ssabasumba w'Abakrisitayo James Hannington.[6]

Joseph Mukasa Balikuddembe yali mukungu mu kkooti era yali mukulembeze mu bakristaayo, yavumirira eky'okutta Hannington. Kabaka kino yakiraba ng'okumuyisamu amaaso era n’alagira Balikuddembe attibwe.[7] Kabaka Mwanga yalagira abo bonna abaali bakyusizza enzikiriza okuzivaamu era bangi abatakikola okuli Abakatoliki n'Abakulistaayo battibwa.

Kiwanuka yalina emyaka kkumi na musanvu lwe yayokebwa nga mulamu olw’enzikiriza ye e Namugongo nga mu Gwomukaaga 3, 1886,[8] ye ne banne batuumibwa Abajulizi ba Uganda. Era ne bafuulwa abatukuvu mu 1964 Paapa Paul VI. Okujjukira Kiwanuka kubeerayo nga 3 Ogwomukaaga.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Uganda Martyrs". Uganda Episcopal Conference (in British English). Retrieved 2024-02-02.
  2. Saint Achilleus Kewanuka", Munyonyo Martyrs' Shrine
  3. "St. Achilles Kiwanuka", Diocese of Kampala
  4. ""Achillis Kiwanukaaaa", Uganda Martyrs Shrine, Namugongo". Archived from the original on 2024-12-16. Retrieved 2026-07-08.
  5. Mubiru, Charles Lwanga (2012). The Uganda Martyrs and the Need for Appropriate Role Models in Adolescents' Moral Formation: As Seen from the Traditional African Education. LIT Verlag Münster. p. 127. ISBN 978-3-643-90142-2.
  6. "French, Bob. "The Uganda Martyrs", The Word Among Us, August 2015". Archived from the original on 2018-08-23. Retrieved 2021-09-25.
  7. "Shorter, Aylward. "Mukasa Balikuddembe, Joseph", Dictionary of African Christian Biography, 2003". Archived from the original on 2010-03-23. Retrieved 2008-08-31.
  8. "The Christian Martyrs of Uganda". Archived from the original on 2014-07-19. Retrieved 2020-02-12.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]