Jump to content

Action for Development

Bisangiddwa ku Wikipedia

Action for Development (ACFODE) kibiina ky’abakyala mu Uganda ekimu ku byasooka nga tekidukanyiziba gavumenti ekyatandikibwawo abakyala abasomesa; Dr Joy Kwesiga, Dr Hilda Tadria ne Dr Ruth Mukama nga bayambibwako Maxine Ankra n’ekigendererwa eky’okuyingizaamu ebirowoozo ebyateesebwako mu lukungaana lw’Amawanga Amagatte olw’Ensi Yonna mu Lukungaana olwali ku bakyala olwaliwo mu Gwomusanvu 1985 mu kibuga Nairobi ekya Kenya. [1] Uganda yali egaaniddwa okuyingira mu lukungaana luno olw’embeera y’eby'obufuzi eyaliwo mu kiseera ekyo, bwekityo ne waberawo obwetavu bw’okutandikawo ekibiina ekigenda okulwanirira ensonga z’abakyala awatali kuyingirirwa gavumenti.[1]

ACFODE esira esinga kuliteeka ku nsonga ezikwata ku kuwa abakyala amaanyi mu Uganda nga bayita mu kunoonyereza, okuzimba obusobozi, okuzimba omukago, okukunga abantu, okumanyisa abantu n’okubunyisa amawulire ku kuteekawo enkola. [2]

Era kiwanirira ensonga z'abakyala mu n'omwenkanonkano ku bigendererwa by'eggwanga era ng'esira baliteeka ku kumalawo Obutabanguko n'Okusosola mu kikula ky'abantu mu Uganda .

ACFODE era ewagira enfuga ennungi ne gavumenti eyeenyigirwaamu abantu nga bayita mu kulondoola n’okusomesa abantu. Era etumbuula okukola n’okuteeka mu nkola enteekateeka z’eby'obufuzi, eby'enfuna, n’embeera z’abantu ezikwata ku kikula ky’abantu. [3]

Era kiyamba mu kuzimba n’okunyweza ebibiina by’obwannakyewa ekikyefananyiriza emirimu gyekikola mu Uganda.[4][5]

Enteekateeka z’okubangula abantu

[kyusa | kolera mu edit source]

ACFODE yatandikawo enteekateeka z’okubangula abantu ku nsonga eyatuumibwa Sauti Ya Sasa, kaweefube eyagendererwa okuzimba obukugu mu by'obukulembeze eri abavubuka mu Uganda. Enteekateeka eno yawa abavubuka bangi obusobozi obukulu obw’okusalawo, okulonda mu ngeri ey’amagezi n’emikisa gy’obukulembeze egyongezebwaamu ku busobozi bw’ebitongole obw’enjawulo.[6]

Gyebasinganibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekitebe kya ACFODE ekikulu kisinganibwa ku poloti namba 623/624 Dan Mulika close e Bukoto.[7][8]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Adrianna L. Ernstberger (April 2020). "A Room, A Chair A Room, A Chair, and A Desk: Founding Voices of Women's and Gender Studies in Uganda". Bridgewater State University. Archived from the original on 7 April 2021. Retrieved 2022-04-04.
  2. "The Status of Human Rights Organizations in Sub-Saharan Africa Uganda". hrlibrary.umn.edu. Retrieved 2021-05-12.
  3. "Action for Development (ACFODE) Experiences at the Local Level". gender-financing.unwomen.org. Retrieved 2021-05-12.
  4. "Action for Development". Mysite (in British English). Retrieved 2021-05-12.
  5. "Human Rights Watch: Domestic Violence and HIV/AIDS". www.hrw.org. Retrieved 2021-05-12.
  6. "SAUTI YA SASA Project | Action For Development (ACFODE)". www.acfode.or.ug. Retrieved 2024-05-23.
  7. "Action For Development, Action For Development, ACFODE House, Plot 623/624 Bukoto, Kampala (2021)". www.findglocal.com. Retrieved 2021-05-12.
  8. "Action for Development - Uganda - Uganda - Health Research Web (HRWeb)". healthresearchweb.org. Archived from the original on 2021-05-12. Retrieved 2021-05-12.