Ada Osakwe
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Nigeria | |
| Erinnya eriweereddwa | Ada | |
| Erinnya lya famire | Osakwe | |
| Yazaalibwa nga | 1980 | |
| Gy'azaalwa | Nigeria | |
| Native language | Igbo | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Igbo | |
| Writing language | Lungereza | |
| Omulimu | musuubuzi, economist, business executive, investor | |
| Field of work | agribusiness, food industry, STEM | |
| Omukozesa | African Development Bank | |
| Ekifo ky'alimu | chief executive officer | |
| Gyeyasomera | University of Hull, Northwestern University, Kellogg School of Management, University of Warwick | |
| Gyabeera | Lagos | |
| Ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 1990 | |
| Affiliation string | Agrolay Ventures | |
| Eggwanga lye | Igbo people | |
| Yeetabye mu | World Economic Forum Annual Meeting 2019 | |
| Awaadi z'afunye | Category:Young Global Leaders | |
Ada Osakwe (yazaalibwa nga 2 Ogwomwenda 1981) Munigeria omukugu mu by'enfuna, omusuubuzi, era omukungu w'ebitongole, nga ye mutandisi era akulira kkampuni ya Agrolay Ventures, kkampuni ekola ku by'obulimi esangibwa mu Nigeria, eteeka ssente mu kkampuni z'Afirika ezikwata ku mmere y'ebyobulimi.[1] Era ye mutandisi wa kkampuni ya Nuli Foods ne Nuli Juice. Okuva mu Gwekkuminoogumu 2012 okutuuka mu Gwokutaano 2015, Osakwe ye yali omuwabuzi omukulu ku by’okusiga ensimbi eri Minisita w’ebyobulimi n’enkulaakulana y’ebyalo mu Nigeria, Akinwumi Adesina.[1]
Ebyafaayo n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Ada Osakwe yazaalibwa nga 2 Ogwomwenda 1981 mu Nigeria.[2] A-Level yagisomera mu Lagos,[3] era yatikkirwa mu University of Hull, mu Bungereza ne Bachelor of Science mu Economics. Diguli ya Master of Science mu by’enfuna n’ebyensimbi yagifunira ku University of Warwick, nayo eri mu Bungereza. Era alina diguli eyookubiri mu by’obusuubuzi, gye yafuna okuva mu Kellogg School of Management, mu Northwestern University, e Evanston, Illinois mu Amerika.[3][4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Osakwe yasooka kukolera mu investment banker mu kkampuni ya BNP Paribas ku ofiisi yaabwe e London. Oluvannyuma yakola ng’omukungu omukulu mu by’ensimbi mu bbanka ya African Development Bank (AfDB), okusinga mu by’ensimbi z’ebizimbe, n’aweereza mu kifo ekyo okumala emyaka ena. Yali asinziira mu kibuga Tunis. Oluvannyuma, yaweereza ng’omumyuka wa pulezidenti mu kkampuni ya Kuramo Capital Management, ey’obwannannyini esangibwa mu kibuga New York.[1][5]
Oluvannyuma lw’okukola ne minisitule y’ebyobulimi mu Nigeria, Osakwe yatandikawo kkampuni ya Agrolay Ventures. Era yatandikawo kkampuni ya Nuli Juice ekola eby’okulya mu Nigeria.[5] Mu 2017, yalondebwa ku lukiiko olufuzi olwa One Acre Fund, ekibiina ekitali kya gavumenti ekikola ku by'ensimbi n'ebyenjigiriza e Kenya ekiweereza abalimi abatonotono mu Burundi, Kenya, Malawi, Rwanda, Tanzania ne Uganda.[5]
Engule n'okusiimibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwekkumineebiri 2014, Osakwe yalondebwa mu "Twenty Youngest Power Women in Africa 2014" mu lupapula lwa Forbes Magazine.[2]
Mu Gwokusatu 2021, yaweebwa engule ya Business Woman Award okuva mu Forbes Magazine.[6]
Osakwe yalondebwa ng'omu ku "Abakyala Abafirika 15 abatandisi b'osaanidde okumanya mu 2023" aba African Folder mu Gwokusatu 2023.[7]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 AfDB (23 May 2016). "African Development Bank Group: Annual Meetings, Lusaka: May 23 - 27, 2016: Speakers: Ada Osakwe, Chief Executive, Agrolay Ventures". Abidjan: African Development Bank (AfDB). Archived from the original on 7 November 2017. Retrieved 1 November 2017.
- 1 2 Nsehe, Mfonobong (4 December 2014). "The 20 Youngest Power Women In Africa 2014". Forbes.com. Retrieved 26 November 2017.
- 1 2 MoveBackToNigeria (31 May 2013). "Move Back to Nigeria: Ada Osakwe Takes the Leap from Private Equity Fund Investor to Special Investment Advisor to the Nigerian Minister of Agriculture". Bellanaija.com. Retrieved 1 November 2017.
- ↑ Ekunkunbor, Jemi (4 April 2016), "Ada Osakwe: The Creative Food Entrepreneur", Vanguard (Nigeria), Lagos, retrieved 1 November 2017
- 1 2 3 One Acre Fund (1 November 2017). "One Acre Fund: Governing Board: Ada Osakwe, Founder and Chief Executive, Agrolay Ventures". One Acre Fund. Retrieved 1 November 2017.
- ↑ "Nigeria's Temie Giwa-Tubosun and Ada Osakwe Scoop Forbes Awards For Innovation And Business". Technext.
- ↑ "15 African Female Founders You Should Know In 2023". African Folder. 10 March 2023. Retrieved 12 March 2023.