Adam Mugume
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Adam |
| Omulimu | economist |
| Ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 2011 |
Adam Mugume, mukugu mu by'enfuna Munnayuganda era aweereza nga Dayirekita w'eby’okunoonyereza n’enkola mu Bank ya Uganda, ekifo kyabaddemu okuva 2011. Okuva nga 27 Ogwokusatu 2020 okutuusa nga 3 Ogwomunaana 2020, Dr Mugume yaweereza ng’akola nga omumyuka wa Gavana wa Bank of Uganda, banka enkulu y’eggwanga,[1] nga Michael Atingi-Ego, Omumyuka wa Gavana ow'enkalakkalira tanayingira ofiisi.[2]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mugume alina ddiguli esooka mu by'enfuna ( Bachelor of Arts in Economics ) mu okuva mu yunivasite y'e Makerere . Ddiguli ye eyookubiri mu by'enfuna ( Master of Arts - MA in economics) yagifuna kuva mu yunivasite y'e Botswana e Gaborone . Ddiguli ye eyookusatu mu by’enfuna (Doctor of Philosophy - PhD ), yamuweebwa Yunivasite y’e Oxford mu Bungereza.[1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Adam Mugume yaweereza ng'omukulu w'ekitongole ky'enkola z'eby'enfuna n'okuzinyonyola (Economoic theory and Analysis) ku yunivasite y’e Makerere. Yasomesa econometrics, essomo eritwalibwa okuba nga lyerisinga obuzibu, eri abo be yasomesa. Mukugu mu nteebereza y'ebyenfuna n’okwekenneenya enkola. Ebintu ebirala byeyakugukamu mulimu enkola ne neeyisa y'ebyenfuna by'eggwanga lyonna wamu (Macroeconomics), okuteeka ebibalo n'enkola z'okubala mu bikwata ku by'enfuna (applied econometrics ) n'enkola zi gavumenti ne zi bbanka enkulu zezikozesa okulwanyisa embeera z'ebyenfuna ezikosa eby'enfuna by'eggwanga awamu nga emirimu, okunaabuuka kw'ensimbi n'okukula kw'ebyenfuna (Fiscal and monetary policies) .[3]
Ebirala eby'okulowoozaako
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwolubereberye 2020, endagaano y’omulimu eya Louis Kasekende, omumyuka wa Gavana wa Bbank ya Uganda okuva 2010 okutuuka mu 2020 yaggwaako, oluvannyuma lw’ebisanja by’emyaka 5 bibiri eby’omuddiriἡἡanwa . Omukulembeze w'eggwanga alina obuyiza okubalonda endagaano teyagizza buggya. Bwatyo Kasekende yava mu bbanka enkulu.[4]
Nga 27 Ogwokusatu 2020, oluvannyuma lw'emyezi ebiri ng’ekifo kino kikalu, olukiiko olukulembera bbanka enkulu, nga lukulirwa ssentebe waalwo, lwalonda Mugume okuweereza ng’omumyuka wa Gavana wa bbanka enkulu, okutuusa ng’omuntu ow'enkalakkalira alondeddwa pulezidenti wa Uganda.[5]
Oluvannyuma lw'ennaku bbiri, pulezidenti wa Uganda, yalonda Michael Atingi-Ego ng’omumyuka wa Gavana wa Bbanka ya Uganda omuggya ow'enkalakkalira.[6]Atingi-Ego yakakasibwa Paalamenti nga 16 Ogwokuna 2020.[7] Wabula , olw'obukwakkulizo bw'okutambula olw'ekirwadde kya Lumiima Mawugwe (Covid-19) , yali tanaba kuva Zimbabwe kudda Uganda okutwala omulimu gwe, n'olwekyo Mugume yasigala amyuka Gavana okutuuka mu Gwomukaaga 2020.[8]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Ismail Musa Ladu (27 March 2020). "Dr Adam Mugume to perform deputy governor duties at BoU". Daily Monitor. Kampala, Uganda. Retrieved 13 June 2020.
- ↑ Eagle Uganda (3 August 2020). "Dr. Michael Atingi-Ego assumes role as BoU Deputy Governor". Kampala: Eagle Uganda. Retrieved 1 September 2020.
- ↑ Alon Mwesigwa (10 July 2015). "Who Will Be Bank of Uganda Boss?". The Observer (Uganda). Kampala. Retrieved 13 June 2020.
- ↑ Arthur Arnold Wadero (20 January 2020). "Kasekende bows out, bids farewell to BoU Staff". Retrieved 15 June 2020.
- ↑ SoftPower (27 March 2020). "Adam Mugume Named Acting BOU Deputy Governor". SoftPower Uganda. Retrieved 15 June 2020.
- ↑ George Okello (29 March 2020). "Museveni names Dr. Ating-Ego new BoU Deputy Governor". PML Daily. Retrieved 15 June 2020.
- ↑ Jolly Gwari (6 June 2020). "Covid-19 RECOVERY: Banks to restructure loan Portfolios – BoU". Archived from the original on 14 June 2020. Retrieved 15 June 2020.
- ↑ Jolly Gwari (6 June 2020). "Covid-19 RECOVERY: Banks to restructure loan Portfolios – BoU". Red Pepper. Mukono, Uganda. Retrieved 15 June 2020.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Ekitundu ky'e Ankole
- Abantu abalamu
- Abayizi abaasomera ku Yunivasite y'e Makerere
- Bugwanjuba bwa Uganda
- Abaasomera ku Yunivasite y'e Botswana
- Abannyankole
- Ettundutundu ly'obugwanjuba
- Abasomesa ba yunivasite y'e Makerere
- Abaasomera ku yunivasite y'e Oxford
- Bannabyanfuna Bannayuganda
- Abamyuka ba Gavana aba Bbanka ya Uganda