Adison Kakuru
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda | |
| Yazaalibwa nga | 14 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 1962 | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | munnabyabufuzi | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda | |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere, Kigezi College Butobere | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement | |
Adison Kakuru Munnayuganda nga munnabyabufuzi, musuubuzi, mulimi, era omukugu mu by’obutonde. Ono yali akiikirira Rukiga County mu Disitulikiti y'e Kabale mu Palamenti ya Uganda ey'omunaana. Era yakola nga ssentebe wa disitulikiti y’e Kabale (ssentebe wa LC 5), sipiika w’olukiiko lwa disitulikiti e Kabale, era mmemba ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Kabale ng’akiikirira e Ggombolola ly'e Rwamucucu. Ono mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.[1][2]
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Kakuru yazaalibwa nga 14 Ogwokuna 1962 mu Disitulikiti y’e Kabale.[3] Yasomera ku Kigezi College Butobere ku ddaala lya O ne A. Kakuru yafuna diguli esooka mu ssayansi w'’ebibira, okuva ku yunivasite y’e Makerere mu 1990. Era alina diguli eyookubiri mu by’obutonde n’okuddukanya eby’obugagga eby’omu ttaka okuva mu yunivasite y’e Makerere. Yasomera ku kitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulimi, e Wageningen, Netherlands.[4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Kakuru yaliko omukungu mu kitongole ekinoonyereza mu kitongole ky’ebibira era ng’omukozi munne mu kitongole kya Gavumenti ya Uganda ekinoonyereza ku bibira ekya Agroforestry Research Network for Africa (AFRENA).
Mu kitongole kya Uganda National Agricultural Research Organization, yakolako nga research officer/centre manager mu Forestry Research Institute era yakola ne ku pulojekiti endala.[5] Y'eyali akulira ekifo kya Kabale ki AFRENA. Era yaliko akulira ekitongole ky'ebyobugagga eby'omu ttaka ekya Africare[6] wansi wa Africare/ USAID, Pulojekiti eya Title II Food for Peace eyassibwamu ssente eyitibwa Uganda Food Security Initiative.
Ng’omukugu mu by’obutonde bw’ensi, Kakuru yakolera mu kitongole kya Regional Center for Services in Surveying, Mapping and Remote Sensing, e Nairobi, Kenya ; ekitongole ky’ensi yonna ekinoonyereza ku by’obulimi mu Nairobi; ekitongole ky’ensi yonna eky’amaanyi ga atomu n’ekitongole ky’emmere n’ebyobulimi mu kibuga Vienna ekya Austria ekitongole ky’eggwanga ekinoonyereza ku by’obulimi mu Kampala, Uganda; n’ekibiina ekigatta abantu b’oku nsozi mu nsi yonna mu kibuga Paris ekya Bufalansa.
Ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwokuna 1992, Kakuru yalondebwa okubeera mmemba ku lukiiko lw’eggombolola y’e Kabale, ng’akiikirira Rwamucucu. Ofiisi eno yagirimu okutuusa mu 2002, n’aweereza nga ssentebe w’akakiiko k’ebyenjigiriza mu disitulikiti n’akakiiko akakola ku by’okufulumya n’obutonde bw’ensi mu disitulikiti. Mu Gwokuna 1998, yalondebwa okubeera sipiika w’olukiiko lwa disitulikiti e Kabale, ekifo kye yalimu okutuusa mu Gwokusatu 2002, ate nga ye ssentebe w’akakiiko k’ebyobusuubuzi aka District Council.
Kakuru yafuuka ssentebe wa Disitulikiti y'e Kabale mu Gwokuna 2002,[7] ng'awangula Francis Runumi. Yaddamu okulondebwa mu ofiisi y’emu mu 2006. Mu Gwokusatu 2010, yalekulira okwetaba mu kulonda okwokujjuza ekifo okwa federo okwaliwo mu 2010 mu Rukiga county.[8]
Mu Gwokusatu 2010, Kakuru yalondebwa okubeera omukiise mu Palamenti ya Uganda ey’omunaana, ng’akiikirira Rukiga County mu Disitulikiti y’e Kabale oluvannyuma lw’okuwangula Jack Sabiiti eyeesimbawo ku lw'ekibiina kya Forum for Democratic Change.[9][10] Bwe yali mu Palamenti, yaweereza ku kakiiko ak'enkalakkalira aka Physical Infrastructure n’akakiiko ka committee of Commissions, Statutory Authorities and Government Enterprises.
Mu kulonda kw’eggwanga okwa 2011, yawangulwa Jack Sabiiti.[11]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Rukiga race: Independent candidate gives NRM trouble". The Independent, 23 March 2010
- ↑ Adison Kakuru Hands Over Kabale Office to Vice-Chairman
- ↑ Adison Kakuru Was Born in 14 April 1962
- ↑ Profile At Commonwealth Business Council 17 March 2012
- ↑ "RUKIGA BY-ELECTION: Kakuru pledges to unite, develop Rukiga". The Observer.
- ↑ Mugisha Odrek Rwabwogo (2007). Uganda Districts Information Handbook. Fountain Publishers. ISBN 9789970024292.
- ↑ "Kakuru 'Compromise' Candidate – Rugunda.", Africa News Service, 6 February 2004. via Highbeam
- ↑ "Mbale FDC win maintains NRM urban jinx". The Independent. 2 March 2010
- ↑ Rukiga by-election: Kakuru pledges to unite, develop Rukiga
- ↑ "District winners" . New Vision. 2 September 2010
- ↑ joomlasupport. "Was the election rigged?". The Observer - Uganda (in British English). Archived from the original on 2023-11-01. Retrieved 2020-05-30.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Bannabyabufuzi Abanayuganda
- Bannabyabufuzi mu Uganda
- Abantu abalamu
- Abantu abasibuka mu Disitilukiti y'e Kabale
- Abazaalwa mu 1962
- Baminisita ba Gavumenti ya Uganda
- Bannabyabufuzi aba NRM
- Abaasomerako ku Makerere University
- Ababaka ba Paalamenti ey'omunaana
- Bannayuganda abatandisi b'emirimu ab'ekyasa ky'abiri mwekimu
- Abaasomera ku Makerere University
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'omunaana