Afriart Gallery
Afriart Gallery mu bufunze kiwandiikibwa nga AAG. Kye kifo ekiterekebwamu ebifaananyi nga kisangibwa ku luguudo lwa 7th Street, mu Industrial Area mu Kampala mu Uganda era kyatandikibwawo mu 2002.[1][2] Kikiikirira era kiddukanya emirimu gy'abasiizi b'ebifaananyi abakolera ku ssemazinga wa Afirika. AAG eraga abasiizi b'ebifaananyi mu myoleso egiri ku mitendera gy'ensi yonna n'egy'okusiiga ebifaananyi. Waliwo ekifo omwolesezebwa ebiyiiye ebibeerawo mu biseera ebitali bimu.[3][4][5] Wano we baatongoleza magaziini eyitibwa Artfest.[6]
Ebyafaayo byakyo
[kyusa | kolera mu edit source]Afriart Gallery (AAG) yatandikibwawo Daudi Karungi mu Gwekkuminoogumu 2002[7] [3] [8] [9] [10] [11] Afriart Gallery yatongozebwa ku kifo ky'omwoleso ekigatta abantu abeenyigira mu kukola ebintu eby'enjawulo ekimanyikiddwa nga Uganda Manufacturers Association (UMA) e Lugogo. Omwoleso gwayo ogwasooka ogw'omuntu omu gwali gwa Paul Ndema nga 4 Ogwokuna mu 2003.[12] Mu 2009, AAG yasengulwa n'etwalibwa mu kitebe kyayo ekyookubiri ku luguudo lwa Kenneth dale drive e Kamwokya.[11][13] Mu 2017, AAG yasengulwa n'etwalibwa mu kitebe kyayo ekyookusatu mu Industrial Area eya Kampala mu kifo ekyefaanaanyiriza okubeera gye batereka ebyamaguzi nga kino kiri ku bunene bwa sikweya mmita 300 ne mmita 6 ng'oyambuka waggulu[14]
Afriart Gallery yeetaba era n’eyolesa mu myoleso gy’ebifaanannyi egy’ensi yonna nga Art X Lagos eyaliwo okuva nga 1 okutuuka 2 Ogwekkumineebiri mu 2019,[15] Art Paris 2023 okuva nga 30 Ogwookusatu mu 2023 okutuuka nga 2 Ogwokuna mu 2023,[16] eza 1-54 Contemporary African Art Fair London ne New York, ARCOlisboa, Art Basel e Miami Beach, [17] ne Joburg Art Fair mu 2016.[18]
Ebikuŋŋaanye byayo
[kyusa | kolera mu edit source]Ekuŋŋaaanizo lya AAG lirimu ebintu ebiva mu makowe ag'enjawulo era nga muno mulimu;
- Ebifaananyi ebisiige wabula nga tebirina kye biraga: Ebiyiiye bya Karungi byayolesebwa[19]
- Ebifaananyi: AAG yayolesa emirimu gy'omugenzi Deo Kyakulagira eyafa mu 2000 wansi w'omwoleso ogwatuumibwa erinnya "Ebifaananyi''.[20]
- Ebifaananyi ebisiigiddwa abantu abaliwo kati era nga bikwataka ku mbeera eriwo: gamba ng’ebikolebwa Sungi Mlengeya[21]
Abasiizi b'ebifaananyi abakiikirirwa AAG
[kyusa | kolera mu edit source]AAG ekiikirira emirimu gy’abasiizi b'ebifaananyi bano: Sanaa Gateja, Sungi Mlengeya, Henry Mzil’ Mujunga, Richard Atugonza,[22][23] Charlene Komuntale,[24] Mona Taha, Emmie Nume, April Kamunde, Kaleab Abate.
Abasiizi b'ebifaananyi abalina akakwate ku AAG
[kyusa | kolera mu edit source]AAG ekoze n’abasiizi b'ebifaananyi abawerako okuli Stacey Gillian Abe, Pamela Acaye, Collin Sekajugo, Abushariaa Ahmed, Ethel Aanyu, Wasswa Donald gwe baakazaako erya WASWAD, Edison Mugalu,[25] Eria Nsubuga ‘Sane’, Xenson, Ronex Ahimbisibwe,[26] Hood Jjuuko,[25][27] Enoch Mukiibi,[25] Ismael Kateregga,[28] Joshua Ipoot,[29] Kigozi,[30] Dr George Kyeyune,[31] Fred Mutebi,[32] Amna Elhassan, Khalid Abdel Rahman, Amani Azhari,[33] Nelsa Guambe, Boniface Maina, Lemek Sompoika, Elisa Mung’ora, Paul Onditi, Peterson Kamwathi, Florence Wangui, Onyis Martin.
Pulojekiti zaakyo
[kyusa | kolera mu edit source]Pulojekiti za Silhouette - Enteekateeka y'Abasiizi b'Ebifaananyi mu Bitundu (SP-AIR)
[kyusa | kolera mu edit source]Eno pulogulaamu ya Artist-in-residence etwala emyezi esatu era nga AAG y'egiddukanya. Ekwata ku basiizi b'ebifaananyi twala ababeera basunsuddwamu nga balina ebitone okuva mu Afirika n’ebawagira nga bayita mu pulogulaamu z’okubabangula, okubayamba okukula mu by’ekikugu, emikisa gy’abasiiga ebifaananyi okufuna enkolagana ne bannaabwe bwe bakola omulimu gwe gumu era n’okubayamba okulaga emirimu gyabwe mu mwoleso gw’ebifaananyi egiri ku mutendera gw’ensi yonna, ebikujjuko n'emikolo egikuŋŋaanirako abantu ababeera bazze okugula ebifaananyi n'ebisiige.Emirimu gy'ebifaanannyi egibeera gikolebbwa mu ngeri ey'enjawulo ng'okusiiga ne langi, okubikuba n'engalo. Abayiiya bakola mu bintu eby’enjawulo ng'okusiiga ebifaananyi, okukuba ebifaananyi, bye babajjizza, ebibumbiddwa, okwolesa katemba, n’ebirala.[34]
Abasiizi b'ebifaananyi abazze basiigirako SP-AIR kuliko;
Vivid Synergies!
[kyusa | kolera mu edit source]Eno pulojekiti ya Afriart gallery ewagirwa ensimbi okuva mu nsako ya Ignite Culture Fund: ACP-EU Culture Program Eastern Africa eyatandika okuva mu Gwokutaano mu 2023 okutuuka mu Gwokutaano 2024. Eno pulojekiti y'abasiizi ba bifaananyi abatasigala oba abatabeera mu kifo kino egatta abasiiga ebifaananyi mu mawanga g'Omubuvanjuba bwa Afirika wabula nga bakikola basinziira ku kulabikirwa nga basinziira mu Uganda abakola ebifaananyi nga basinziira ku mbeera eriwo kati naddala okubuulira engero n'abawandiisi n’abakuumi b'ekifo ekiterekerwamu ebifaananyi okumala ebbanga lya myezi ena. Abasiizi b'ebifaananyi basobola okwekolera enteekateeka yaabwe ne basisinkana ne bayiiya okuva wonna we bali. Enteekateeka eno eyamba omusiizi w'ebifaananyi Omufirika okuwandiika, okubuulira, okugabana, okufulumya n’okutereka emirimu gye egy'ebifaananyi mu ngeri y'okwekkiririzaamu nga ye.[35]
Kampala Art Biennale (KAB)
[kyusa | kolera mu edit source]Guno gwe mwoleso gw'ebifaananyi ogubeerawo mu Kampala (KAB) buli luvannyuma lwa myaka ebiri gwatandikibwawo Daudi Karungi owa Afriart Gallery era ne gutongozebwa aba Kampala Arts Trust mu 2014. Kibeerawo buli luvannyuma lwa myaka ebiri nga gulaga ebifaananyi ebibeera bisigiddwa ku mbeera eriwo kati okuva mu mawanga ga Afrika.[36][37] KAB 2014 yafuula Uganda ensi eyasooka okutegeka omwoleso gw'ebifaananyi guno ogubeerawo buli luvannyuma lwa myaka ebiri.[38]
- KAB 2014 | Omulamwa gwali gwa "Progressive Africa." Kyabaawo okuva nga 31 Ogwomunaana 2014, KAB 14 yayita abasiizi b’ebifaananyi, abakubi b’ebifaananyi, abokolabikolwa, abakola katuuni, abawandiisi n’abayiiya bonna ab’emikutu gya 2D abaayanjula endowooza yaabwe ku mbeera ya Afirika nga bayita mu bifaananyi ebikubiddwa nga babiggya mu ndowooza zaabwe. Omwoleso gwa KAB 2014 gwali mu bifo okwali Nommo gallery, Uganda Museum, Makerere Art Gallery, Afriart Gallery, Alliance Francaise, National Theatre ne Kampala Railway Station.[39][38][36][37][40]
- KAB 2016 | Kyaliwo okuva nga 3 Ogwomwenda 2016 okutuuka nga 2 Ogwekkumi 2016 wansi w'omulamwa "Seven Hills." Enkola ya KAB 2016 yali ya kugatta baddukanya byabuwangwa bonna mu kitundu mu pulojekiti y’ebifaananyi eyazimbibwa okwetooloola okuwanyisiganya okuggule, okwa buli omu. KAB 2016 yaleeta Enteekateeka y’okusomesa Okukuba Ebifaananyi[41][39][42][43][40][44][45][46]
- KAB 2018 | Omulamwa gwali "The Studio." KAB18 yakwata enkola y'omuyigiriza / n'omugoberezi okutambuza okumanya n’obukugu mu by’emikono okuva mu bakugu abasiiga ebifaananyi ebikwata ku biriwo kati nga babiggya mu ndowooza zaabwe okutuuka ku basiizi b'ebifaananyi abato Abannauganda, mu mawanga g'omu Buvanjuba bwa Afirika ne Afrika. Omwoleso gwa 2018 gwategekebwa Simon Njami. [47] [48]
- KAB 2020 | Omulamwa gwali "Situka Yimirira". Yaggulwawo nga 28 Ogwekkumi mu 2020. Olw’ekirwadde kya COVID-19, KAB20 yali ya ku mikutu emigattabantu era ne kigoberera enkola ya KAB18 Ey'omutendesi n'omuyigiriza we, abasiizi b'ebifaananyi okwetoloola ensi yonna baabangulwa n'enkola y'ekikugu ng'osiiga ebifaanannyi wabula nga kino kyakolebwa nga bayita ku mikutu gya kkompyuta gimukwanirawala oba egiyitibwa emikutu emigattabantu.[49][50]
Emyoleso egy’ekiseera
[kyusa | kolera mu edit source]AAG etegese emyoleso mingi mu tterekero lyayo era nga ku gino kuliko;
- Shapes of Water Group Exhibition, mu Gwokutaano 27, 2023, okutuusa mu Gwomunaana nga 12, 2023[51][52]
- When Thoughts Attack Me Emmie Nume mu Gwookubiri nga 11, 2023 okutuusa mu Gwokuna nga 15, 2023[53]
- Walking the Edge Group Exhibition okuva mu Gwekkuminoogumu nga 26, 2022, okutuusa mu Gwoluberyeberye nga 28, 2023[2]
- Don't Try, Don't Not Try Sungi Mlengeya (B.LA Art Foundation, Vienna, Austria) okuva mu Gwomwenda nga 20, 2022, okutuusa mu Gwomwenda nga 28, 2022
- Kaddugalamukatale | Samson Ssenkaaba (eyakazibwako erya Xenson) okuva nga 20 Ogwomunaana 2022, okutuusa nga 28 Ogwekkumi 2022[10]
- (UN)CHOREOGRAPHED nga bikolebwa Sungi Mlengeya (The Africa Centre, London), okuva mu Gwomukaaga 20, 2022, okutuusa mu Gwomusanvu nga 24, 2022[54][55]
- Where the wild things are Group exhibition | okuva mu Gwokuna nga 9, 2022, okutuusa mu Gwomukaaga nga 11, 2022.[1]
- Radical Care Sanaa Gateja okuva mu Gwoluberyeberye nga 26, 2022, okutuusa mu Gwokusatu nga 26, 2022[56]
- Iwang Sawa Acaye E. Pamela | okuva mu Gwomwenda nga 18, 2021 okutuusa mu Gwekkumi nga 28, 2021[57]
- I draw, therefore I think SOUTH SOUTH Platform okuva mu Gwomwenda nga 11, 2021, okutuusa mu Gwekkumi nga 11, 2021
- Just Disruptions Sungi Mlengeya, okuva mu Gwomukaaga nga 19, 2021, okutuusa mu Gwomunaana nga 19, 2021[21]
- Rendezvous Group exhibition Abushariaa Ahmed, Salah Elmur, Eltayeb Dawelbait, and Hussein Halfawi okuva mu Gwokusatu nga 20, 2021, okutuusa mu Gwokutaano nga 20, 2021
- Down In Napak Waswad okuva mu Gwekkuminoogumu nga 14, 2020, okutuusa mu Gwoluberyeberye nga 30, 2021[58]
- (Im)perfections nga byakolebwa Richard Atugonza ne Odur Ronald okuva mu Gwomwenda nga 26, 2020, okutuusa mu Gwekkuminoogumu nga 5, 2020
- Playing to the Gallery Group Exhibition okuva mu Gwomusanvu nga 25, 2020, okutuusa mu Gwomwenda nga 19, 2020
- Collage broadly defined curated by Sarah Bushra nga mulimu emirimu gy'ebifaananyi okuva mu basiizi b'omu Kampala, Kinshasa, ne Nairobi okuva mu Gwokusatu nga 20, 2020, okutuusa mu Gwokutaano nga 16, 2020[59][60]
- Options Ronex Ahimbisibwe okuva mu Gwokubiri nga 7, 2020 okutuusa mu Gwokusatu nga 6, 2020
- Seniority First (Omwolese nga guli mu bibinja) nga gulimu Taga Nuwagaba, Sanaa Gateja, Fred Mutebi, Stephen Gwoktcho, Kizito Maria Kasule, Lilian Nabulime okuva mu Gwomunaana nga 10, 2019, okutuusa mu Gwomwenda nga 30, 2019[61]
- SURFACE 2 (G.I.R) Gender Identity Rebellion artist discovery workshop nga bikolebwa Henry Mzili Mujunga , okuva mu Gwokutaano nga 25, 2019 okutuusa mu Gwomukaaga nga 25, 2019[62]
- Brain Damage JB Sekubulwa, okuva mu Gwokusatu nga 9, 2019, okutuusa mu Gwokuna nga 30, 2019
- Contemplation Ronex Ahimbisibwe, okuva mu Gwoluberyeberye nga 11, 2019, okutuusa mu Gwokubiri nga 14, 2019[63][64]
- Shadows, okuva mu Gwekkumineebiri nga 7, 2018, okutuusa mu Gwoluberyeberye nga 10, 2019
- Brain Damage John Baptist Ssekubulwa | 2019 [65]
- What is beautiful Collin Sekajugo, okuva mu Gwekkumi nga 27, 2018, okutuusa mu Gwekkumineebiri nga 31, 2018[66]
- A portrait of Power, Authority and Control Arim Andrew, okuva mu Gwomunaana nga 25, 2018, okutuusa mu Gwekkumi nga 21, 2018
- Who Is Your Saint? Ocom Adonias okuva mu Gwokutaano nga 25, 2018, okutuusa mu Gwomusanvu nga 25, 2018
- Sculptures (1993 – 2018) Dr. Lilian Nabulime, okuva mu Gwokubiri nga 10, 2018, okutuusa mu Gwokusatu nga 31, 2018[67][68]Memories and… Ronex Ahimbisibwe, okuva mu Gwoluberyeberye nga 12, 2018, okutuusa mu Gwokubiri nga 5, 2018[69]
- Possibilities a design exhibition, okuva mu Gwekkumineebiri nga 15, 2017, okutuusa mu Gwokubiri nga 2, 2018
- Creases and Tears Eria 'Sane' Nsubuga okuva mu Gwomwenda 29, 2017, okutuusa mu Gwomwenda nga 31, 2017[70]
- Gunflowermask Xenson, okuva mu Gwomwenda nga 1, 2017, okutuusa mu Gwekkuminoogumu nga 30, 2017[71]
- Surfaces abaabangulwa Henry Mzili Mujunga, okuva mu Gwomukaaga nga 24, 2017, okutuusa mu Gwomunaana nga 14, 2017
- To Live Is To Become Waswa Donald, okuva mu Gwokusatu nga 31, 2017, okutuusa mu Gwokuna nga 18, 2017
- A love that dares ogwategekebwa Margaret Nagawa, okuva mu Gwokusatu nga 5, 2017, okutuusa mu Gwokutaano nga 6, 2017[72][73]
- Kampala…A City in Transition Taga Nuwagaba, okuva mu Gwekkumineebiri nga 9, 2016. okutuusa mu Gwoluberyeberye nga 7, 2017
- The art of cancer photography exhibition by History in Progress Uganda (HIP Uganda) ne Dr. Marissa Mika mu 2017, ebifaananyi ebikadde ebiviira ddala mu myaka gya 1960 n'egya 1970 nga kwe kuli n'ebipya ebikwata ku kifo gye bajjanjabira ekirwadde kya kookolo, ebiraga abaana n'abantu abakulu abalina ebizimba ku mibiri gyabwe byayolesebwa ku mukolo Ekifo ekijjanjabirwamu Ekirwadde kya Kookolo bwe kyali kijaguza okuweza emyaka amakumi 50.[74]
- Crowd control - six degrees of separation Henry Mzili Mujunga, okuva mu Gwekkuminoogumu nga 11, 2016, okutuusa mu Gwekkumineebiri nga 11, 2016
- A Bargain for Woman Fred Mutebi mu 2012, ng'essira baalissa ku biki abakyala okuva mu Uganda bye batuseeko oluvannyuma lw'emyaka 50 egya Uganda nga yeefuga.[32]
- Women Artists in Uganda exhibition i.a. Sheila Nakitende mu 2012.[75][76]
- Dances of Uganda Edison Mugalu okuva mu Gwokuna nga 13 okutuusa nga 30, 2012.[77]
- First edition of the Controversial Art Exhibition Kampala Arts Trust mu 2010.[78]
- (Dis)placed KucKidz mu 2009, omwoleso guno gwali gwa kuyamba baana okuva mu ttundutundu ly'e Acholi abaali tebalina we babeera nga kiva ku lutalo olwali lutegekeddwa abayeekera b'ekibiina kya Lord's Resistance Army (LRA), era guno gwali gwa kufunamu ssente oluvannyuma lw'okutunda ebisiige.[79]
Engule n’okusiimibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2022, AAG yasiimibwa ng'ekimu ki bifo 10 ebiterekebwamu ebifaananyi n'okuby'olesa ebyali bisuumuuse ne bituuka ku ntikko mu 2022" omukutu gw'akatale k'ebifaananyi ogumannyiddwa nga Artsy.[80]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ewalala w'oyinza okubiggya
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Young artists stage exhibition at Afriart Gallery". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-07-13.
- 1 2 "Eight Kenyan artists exhibiting in Kampala". Monitor (in Lungereza). 2023-01-18. Retrieved 2023-02-10.
- 1 2 "New Picture Home In Town". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "A city artist who paints with his heart". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "At Constructs, artist searches for commonalities in his works". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "Artfest magazine". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "Daudi Karungi - About - Independent Curators International". curatorsintl.org (in Lungereza). Retrieved 2023-07-14.
- ↑ "Afriart Gallery exhibition paves way for new talent". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "Visualising Karungi". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-07-13.
- 1 2 "Moment of truth for Ugandan art". Monitor (in Lungereza). 2022-12-31. Retrieved 2023-07-13.
- 1 2 "Using art to depict reality". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "Ndema exhibits in brand new gallery". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "Art show about artists". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "Home |". afriartgallery.org. Retrieved 2023-07-17.
- ↑ "Art X Lagos, 2019". The Independent Uganda (in American English). 2019-11-07. Retrieved 2023-07-14.
- ↑ Soares, Alisson Frota (2023-03-28). "Afriart Gallery presents Mona Taha, Richard Atugonza, and Sanaa Gateja at Art Paris 2023". waau art (in American English). Retrieved 2023-07-14.
- ↑ Miami, Por Leydi Torres3 de Diciembre de 2022Desde. "Nova, Positions y Survey: los sectores de Art Basel con menos fama pero notable obra". infobae (in European Spanish). Retrieved 2023-02-07.
- ↑ "FNB Joburg Art Fair 2016 | Exhibitor List & Focus Announced". ArtThrob (in American English). Retrieved 2023-02-01.
- ↑ Nsimbe, John Vianney (2011-11-30). "Art: Karungi showcases from 730 days". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-07-14.
- ↑ Kaggwa, Andrew (2014-05-04). "Exhibition celebrates little-known maestro's brilliance". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-07-13.
- 1 2 "Contemporary Art from Africa roars on". The Independent Uganda (in American English). 2021-08-05. Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "SOUTH SOUTH / Afriart Gallery". South South (in American English). Archived from the original on 2023-07-14. Retrieved 2023-07-14.
- ↑ Olele, Malobi (23 November 2020). "Richard Atugonza's New Sculpture Celebrates Body Flaws".
- ↑ Britt (2022-02-23). "David Krut Podcast | Charlene Komuntale: Thinking outside the box and beyond… Listening Time: 14 Minutes". DAVID KRUT PROJECTS (in American English). Retrieved 2023-02-07.
- 1 2 3 Muwanguzi, Dominic (2009-01-14). "Big art at Afriart gallery". The Observer - Uganda (in British English). Archived from the original on 13 July 2023. Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "ARTS: Ronex unveils legacy works". The Independent Uganda (in American English). 2017-01-23. Retrieved 2023-07-14.
- ↑ Nsimbe, John Vianney (2013-03-03). "Jjuuko brings the wild to life". The Observer - Uganda (in British English). Archived from the original on 14 July 2023. Retrieved 2023-07-14.
- ↑ "The Fine Art of Success: The story of Ismael Kateregga". ChimpReports (in American English). 2013-02-19. Retrieved 2023-07-13.
- ↑ Nsimbe, John Vianney (2012-01-18). "Art: Ipoot puts fantasy on canvas". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-07-14.
- ↑ Nsimbe, John Vianney (2014-02-16). "Kigozi lives life through his art". The Observer - Uganda (in British English). Archived from the original on 14 July 2023. Retrieved 2023-07-14.
- ↑ Nsimbe, John Vianney (2011-11-09). "Art: Feel your environs". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-07-14.
- 1 2 Nsimbe, John Vianney (2012-11-01). "Mutebi's art bargains for women". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-07-14.
- ↑ "Amani Azhari" (in American English). 2023-07-18. Archived from the original on 18 July 2023. Retrieved 2023-07-18.
- 1 2 3 4 "Projects | Silhouette Projects |". afriartgallery.org. Archived from the original on 2023-07-17. Retrieved 2023-07-17.Template:Dead link
- ↑ "Projects | Vivid Synergies! |". afriartgallery.org. Archived from the original on 2023-07-17. Retrieved 2023-07-17.
- 1 2 "Kampala Art Biennale 2014". Kampala Art Biennale (in American English). Retrieved 2023-07-17.
- 1 2 "Using art to depict reality". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Retrieved 2023-07-17.
- 1 2 Musasizi, Simon (2014-07-08). "Kampala art biennale to boost tourism". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-07-17.
- 1 2 "Kampala Celebrates Seven Hills in Art Biennale". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Retrieved 2023-07-17.
- 1 2 "Kampala Art Biennale (Uganda)". Biennial Foundation (in American English). Retrieved 2023-02-07.
- ↑ "KAB16". Kampala Art Biennale (in American English). 2016-07-25. Retrieved 2023-07-17.
- ↑ "Euro games and beverages: Fair cocktail for Kampala arts". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-07-17.
- ↑ "Ugandan artist finds purpose in blending folk material". Monitor (in Lungereza). 2023-05-09. Retrieved 2023-07-17.
- ↑ start (2016-12-14). "On the Role of Curatorial Assistant, Kampala Art Biennale 2016". Start Journal (in American English). Retrieved 2023-02-07.
- ↑ "Kampala Art Biennale 2016 : Seven Hills". Contemporary And (in Ludaaki). Archived from the original on 2023-02-07. Retrieved 2023-02-07.
- ↑ "2016 memorable moments in arts". Monitor (in Lungereza). 2021-01-04. Retrieved 2023-07-17.
- ↑ "Kampala Biennale 2018 – I.U.B…". I.U.B... (in Lungereza). Retrieved 2023-02-07.
- ↑ "Official opening: Kampala Art Biennale 2018 | EEAS Website". www.eeas.europa.eu. Retrieved 2023-02-07.
- ↑ "Kampala Art Biennale 2020 on". The Independent Uganda (in American English). 2020-11-19. Retrieved 2023-02-07.
- ↑ Dee, Christa (2021-04-28). "Kampala Art Biennale 2020". South South (in American English). Archived from the original on 2023-02-07. Retrieved 2023-02-07.
- ↑ Musyoki, Rose (2023-05-04). "Shapes of Water Exhibition at Afriart Gallery". Art News Africa (in American English). Archived from the original on 15 August 2023. Retrieved 2023-08-15.
- ↑ Soares, Alisson Frota (2023-06-06). "Afriart Gallery presents 'Shapes of Water', a group exhibition portraying works by women artists from Eastern and Southern Africa, curated by Lara Buchmann". waau art (in American English). Retrieved 2023-08-15.
- ↑ "When Thoughts Attack Me: Emmie Nume at Afriart Gallery, Uganda - ART AFRICA Magazine" (in British English). 2023-02-09. Archived from the original on 2023-02-14. Retrieved 2023-02-14.
- ↑ "Sungi Choreographs at (Un)Choreographed show". The Independent Uganda (in American English). 2022-07-15. Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "'(Un)Chreographed' by Sungi Mlengeya at The Africa Centre, London - ART AFRICA Magazine" (in British English). 2022-06-09. Archived from the original on 2023-02-10. Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "'Bead king' Sanaa Gateja on upcycling, art as a social enterprise". The East African (in Lungereza). 2022-02-17. Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "Iwang sawa – In the eye of Time: An exhibition of WovenRemaking Curated by Acaye E. Pamela Kerunen". Muwado (in American English). 2021-09-09. Retrieved 2023-02-10.
- ↑ Kayem, Matt (2020-12-07). "Waswad: Down in Napak". AFRICANAH.ORG (in American English). Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "Collage Broadly Defined | Exhibitions | MutualArt". www.afriartgallery.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-10.
- ↑ Kayem, Matt (2020-07-08). "Collage Broadly Defined, groupshow in Afriart, Kampala". AFRICANAH.ORG (in American English). Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "ARTS: Seniority First". The Independent Uganda (in American English). 2019-08-29. Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "Surface 2 (G.I.R) Gender... | Exhibitions | MutualArt". afriartgallery.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "Ronex@20: Visual artist finds beauty everywhere". Monitor (in Lungereza). 2022-12-03. Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "Contemplating dreams and the ideal vs reality". The East African (in Lungereza). 2020-07-06. Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "ARTS: A brainy affair". The Independent Uganda (in American English). 2019-03-28. Retrieved 2023-07-14.
- ↑ "ARTS: What is beautiful exhibit". The Independent Uganda (in American English). 2018-11-07. Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "Lilian Nabulime's emotive sculptures at Afriart". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "Dr Lilian Mary Nabulime - Biography". Almas Art Foundation (in Lungereza). Archived from the original on 2023-02-10. Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "Ronex - Memories and..." Contemporary And (in Ludaaki). Archived from the original on 2023-02-10. Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "ARTS: Creases and Tears". The Independent Uganda (in American English). 2017-10-18. Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "XENSON: GUNFLOWERMASK". Contemporary And (in Ludaaki). Archived from the original on 2023-02-10. Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "A love that dares, new space at Afriart gallery". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-07-13.
- ↑ "Art that dares the two sides of love". Monitor (in Lungereza). 2021-01-04. Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "The art of cancer". The Independent Uganda (in American English). 2017-09-04. Retrieved 2023-07-14.
- ↑ "Ugandan artist finds purpose in blending folk material". Monitor (in Lungereza). 2023-05-09. Retrieved 2023-07-13.
- ↑ Nsimbe, John Vianney (2012-03-22). "Art celebrates Women's Day for a month". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-07-13.
- ↑ Nsimbe, John Vianney (2012-05-10). "When canvass became the stage at Dances of Uganda". The Observer - Uganda (in British English). Archived from the original on 14 July 2023. Retrieved 2023-07-14.
- ↑ "Controversy in Ugandan art". The Independent Uganda (in American English). 2021-08-18. Retrieved 2023-07-13.
- ↑ Muwanguzi, Dominic (2009-02-04). "Displaced children find hope in art". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-07-13.
- ↑ Thaddeus-Johns, Josie (2022-11-09). "10 Galleries That Had a Breakout Year in 2022". Artsy (in Lungereza). Retrieved 2023-01-27.
