Africa Renewal University
Africa Renewal University nga mu bumpi mpi kiwandiikibwa nga AfRU ye yunivasite y'obwannannyini eyaweebwa ebisaanyizo by'okukakalabya emirimu gyayo nga yunivaiste eri ku musingi gw'Ediini mu Uganda. Yatandikibwawo mu 2007 ng'emannyikiddwa nga Gaba Bible Institute, [1] nga tebanaba kugituuma Africa Renewal Christian College . Esira lya yunivasite eno eryali lisinga okubeera ekulu lyali lisinziira ku bwetaago bwa Afrika obw'okubeera ng'Abakulembezze B'ediino baalina okusitukira awamu okugabana okusaasira kwa Kristo n’enjiri y’esuubi mu kanisa n’ebitundu ebiyagayaga ennyo okufuna enkyukakyuka.[2] Ku nkomerero ya 2013, yafuna Layisinsi ey’ekiseera okuva mu lukiiko lwa Uganda Oludukanya Eby'enjigiriza By'amatendekero Agawagulu okubeera Yunivasite Ey’obwananyini. [3] Oluvannyuma baagitogoza ng'eri wansi w’erinnya ly'erina kati ku ntandikwa ya 2014.[4]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "History". Africa Renewal University. Archived from the original on 8 April 2018. Retrieved 11 August 2016.
- ↑ "Who we are" (in American English). Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2021-04-29.
- ↑ "Accreditation". Africa Renewal University. Retrieved 11 August 2016.
- ↑ "Uneducated people make poor leaders- graduates told". New Vision. 5 March 2014. Retrieved 11 August 2016.
Africa-Renewal-University-ekiriziddwa -aba by-nche-for-charter-status Bigiddwa okuva ku Nile Post