Jump to content

Ahmad Ssengendo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ahmad Kaweesa Ssengendo Munnayuganda omukugu mu by'ebimera, musomesa mu matendekero, era mukulembeze mu by'enjigiriza. Yeeyali omukulembeze (Rector ) wa yunivasite y’Obusiraamu mu Uganda, yunivasite ey’obwannannyini eyakkirizibwa akakiiko ka Uganda akatwala eby'enjigiriza by'eggwanga ebya waggulu (UNCHE) mu 1988. [1] Yalondebwa ku kifo ekyo mu 2004. [2] [3]

Yazaalibwa mu kyalo Bukanga mu Disitulikiti y’e Isingiro nga 6 Omwezi ogwokubiri 1959 eri Yunus Kaweesa ne Zuhurah Kaweesa. [4]

Yasomera mu ssomero lya Kyaluhambura mu okusoma kwe okwa pulayimale. Yasomera mu Old Kampala Secondary School Ku misomo ggye egya siniya 4 , okuva 1973 okutuusa 1976. Ku misomo gye eggya siniya 6, yadda ku St Henry's College Kitovu, gye yasomera physics, chemistry, biology, n'okubala. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (March 2016)">okujuliza kwetaagisa</span> ]

Yaweebwa ekifo ku yunivasite y’e Makerere, yunivasite esinga obunene era yunivasite ya gavumenti esinga obukadde mu Uganda. Yatikkirwa diguli esooka eya ssaayansi mu bimera. Eyo yagizaako Dipuloma mu by’enjigiriza. Oluvannyuma yafuna diguli eyookubiri mu by’enjigiriza, n'era okuva mu yunivasite y’e Makerere. Okuva mu 1985 okutuuka mu 1987, Ssengendo yasomera mu Yunivasite y'e Kansas n’afuna ddiguli eyokusatu mu by’enjigiriza. [4]

Ebyafaayo by’emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Bwe yali asoma dipulooma mu by’enjigiriza, yasomesa ku Nyamitanga Primary School ne ku Nyamitanga Secondary School mu Mbarara mu Disitulikiti y’e Mbarara, mu ttundutundu ly'obugwanjuba . Oluvannyuma lw’okufuna dipulooma, yeegatta ku kitongole ky’ebimera mu yunivasite y’e Makerere ng’omusomesa omuyambi. Okusobola okwongera ku nnyingiza ye, mu kiseera kye kimu yasomesa mu Old Kampala Senior Secondary School, essomero lye gyeyasomerako ,ne ku Bilal Islamic Institute.

Bwe yakomawo mu Uganda ng’amaze emisomo gye egya ddiguli eyokusatu mu 1987, yaddamu okwegatta ku Makerere, naye ku mulundi guno, mu bbanguliro ly’ebyenjigiriza. Nga tegunnawera na mwaka, yavaayo okwegatta ku bannabyanjigiriza omunaanavabalala abeegattira awamu okutandikawo Yunivasite y’Obusiraamu mu Uganda mu 1988. Ng'atandise ng'omusomesa ku IUIU, Ssengendo yalinnya n’ayita mu maddaala n’afuuka Omuwandiisi wa Yunivasite. Mu 2001, yasabibwa okutandika ettabi lya IUIU ery'e Kampala .Okuva mu 2003 okutuuka mu 2004, yaweerezaako ng'amyuka omumyuka wa ccansala avunanyizibwa ku by'enjigiriza. Mu 2004, ku myaka 45, yalondebwa ku bumyuka bwa ccansala wa IUIU. [5] [6]

Ebirala by’olina okulowoozaako

[kyusa | kolera mu edit source]

Ahmad Ssengendo yawasa abakyala babiri. Taata w’abaana 13, abawala bana n’abaana ab’obulenzi mwenda. Wa nzikiriza ya busiraamu.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Uganda National Council for Higher Education: Private Universities". Uganda National Council for Higher Education. Archived from the original on 3 March 2016. Retrieved 14 September 2014.
  2. "Executive 2006-2011". uvcf.ac.ug (in British English). Archived from the original on 2020-01-30. Retrieved 2020-01-30.
  3. Franklin, Ezaruku Draku. "IUIU Rector Gets Another Five Year Contract". Uganda Radio Network (in Lungereza). Retrieved 2020-01-30.
  4. Talemwa, Moses; Nankinga, Mary (5 June 2011). "Dr. Ssengendo - IUIU's Bright Star". The Observer (Uganda). Archived from the original on 15 September 2014. Retrieved 15 September 2014.
  5. "Islamic University in Uganda: Leadership - Rector (Vice Chancellor)". Islamic University in Uganda. 15 July 2013. Archived from the original on 15 September 2014. Retrieved 15 September 2014.
  6. Wasike, Alfred (10 February 2008). "IUIU Opens Female-Only Campus". New Vision (Kampala). Archived from the original on 12 February 2008. Retrieved 15 September 2014.
  1. "Uganda National Council for Higher Education: Private Universities". Uganda National Council for Higher Education. Archived from the original on 3 March 2016. Retrieved 14 September 2014.
  2. "Executive 2006-2011". uvcf.ac.ug (in British English). Archived from the original on 2020-01-30. Retrieved 2020-01-30.
  3. Franklin, Ezaruku Draku. "IUIU Rector Gets Another Five Year Contract". Uganda Radio Network (in Lungereza). Retrieved 2020-01-30.
  4. 1 2 Talemwa, Moses; Nankinga, Mary (5 June 2011). "Dr. Ssengendo - IUIU's Bright Star". Archived from the original on 15 September 2014. Retrieved 15 September 2014.
  5. "Islamic University in Uganda: Leadership - Rector (Vice Chancellor)". Islamic University in Uganda. 15 July 2013. Archived from the original on 15 September 2014. Retrieved 15 September 2014.
  6. Wasike, Alfred (10 February 2008). "IUIU Opens Female-Only Campus". Archived from the original on 12 February 2008. Retrieved 15 September 2014.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]