Jump to content

Ahmed Attoumani Douchina,munnabyabufuzi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ahmed Attoumani Douchina
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeBufalansa Kyusa
Name in native languageAhmed Attoumani Douchina Kyusa
Erinnya eriweereddwaAhmed Kyusa
Erinnya lya famireAttoumani Douchina Kyusa
Yazaalibwa nga2 Gusooka 1955 Kyusa
Gy'azaalwaMayotte Kyusa
Ennimi z'amanyiFrench Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi, secondary school teacher Kyusa
Ekifo ky'alimumember of the general council, member of the departmental council of Mayotte Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziUnion for a Popular Movement, Rally for the Republic Kyusa

  Ahmed Attoumani Douchina (yazaalibwa Ogusooka 2, 1955) munnabyabufuzi wa Mahoran. Douchina yaweereza nga Pulezidenti w'olukiiko lw'ekitongole olwa Mayotte wakati wa 20 Ogwokusatu 2009[1] ne 3 Ogwokuna 2011, bwe yasikirwa Daniel Zaïdani. Zaudani yawangula Douchina ng'amusinze akalulu kamu kokka nga baafuna obululu 10 ku 9 mu kulonda kwa pulezidenti okwaliwo mu lukiiko luno.[2]

Kansala wa munisipaali ya Kani-Kéli okuva mu 1983 okutuuka mu 1989, yalondebwa okuba kansala omujjuvu mu canton ey’erinnya lye limu mu 2004, mu kuvuganya kwa basatu, n’afuna ebitundu 38.72 ku kikumi ku bululu.[3]

Oluvannyuma lw’okufuuka omuwandiisi w’ekitongole mu kibiina kya Union for a Popular Movement (UMP), yekakanya mu kulonda kw’ababaka ba palamenti okwa 2007, bw'eyavuganya ne Mansour Kamardine eyali mu ntebe n’afuna obululu ebitundu 4.08%mu lwokaano olwasooka.[4]

Nga 20,Ogwokusatu 2008, yasikira Saïd Omar Oili ku bwapulezidenti bw’olukiiko olukulu olwa Mayotte olw’omukago wakati wa UMP n’ekibiina kya Mouvement départementaliste mahorais (MDM). Ebibiina bino byegatta okulwanyisa ekibiina kya New Impetus for Mayotte (NEMA) okusobola okutegeka amangu akalulu k’ekikungo ku ky’okugabanya ebitongole mu Mayotte.

Mu kulonda kwa 2011 mu canton, Ahmed Attoumani Douchina yaddamu okulondebwa mu ngeri ennyangu ku bwakansala obujjuvu, kyokka abesimbawo ku kiwayi ya left wing baawangulira watono aba renewable cantons mu Mayotte, ekyavaako enkyukakyuka mu bungi mu lukiiko olukulu.[5] Nga 3,Ogwokuna 2011, nga wayise ennaku ssatu nga Mayotte afuuse ekitongole kya Bufalansa eky'e 101, Daniel Zaïdani yalondebwa okuba pulezidenti w'olukiiko olukulu, n'afuna obululu 10 okusinga obwa Ahmed Attoumani Douchina eyafuna 9.[6]

Nga 15,Ogwekkuminogumu 2012, yayabulira UMP ne yegatta ku Union of Democrats and Independents.

Mu Gwokusatu gwa 2015, yalondebwa okuba kansala w’ekitongole mu Canton of Bouéni ng’ali wamu ne Afidati Mkadara.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "malango-mayotte.com". ww38.malango-mayotte.com (in Lungereza). Retrieved 2022-07-20.Template:Dead link
  2. https://web.archive.org/web/20110406170829/http://www.malango-actualite.fr/article/mayotte__8211_daniel_zaidani_elu_de_justesse_a_la_tete_du_101eme_departement-7446.htm
  3. http://www.interieur.gouv.fr/sections/a_votre_service/resultats-elections/can2004/985/canton09.html
  4. http://www.interieur.gouv.fr/sections/a_votre_service/resultats-elections/LG2007/976/circons01.html
  5. http://elections.interieur.gouv.fr/CN2011/976/97609.html
  6. http://www.latribune.fr/actualites/economie/france/20110403trib000612702/outre-mer-mayotte-passe-a-gauche.html