Jump to content

Aisha Kabanda

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Aisha Kabanda, omusajja omulala)
Aisha Kabanda
omuntu
ekikulamukyala Kyusa
ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
omulimumunnabyabufuzi Kyusa

Nalule Asha Aisha Kabanda Munnayuganda, Munnabyabufuzi era omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y'e Butambala mu palimenti ya Uganda era nga yajjira ku ttikiti y'ekibiina ki National Unity Platform.[1][2]

Aisha Kabanda mukyala mufumbo era omwami we ye Omar Kalinge-Nnyago, omunoonyereza era akulira eby'okusoma mu Uganda's Wasafiri consulting firm. Balina abaana kkumi.[3]

Aisha Kabanda yasooka okumanyibwa ennyo bweyalondebwa okukiikirira omukulembeze w'eggwanga mu kibuga Kampala (RCC). Kyokka mu mwaka 2015 nga akalulu ka bonna aka 2016 kabindabinda Kabanda yasulawo obukulu buno nagenda avuganye ku bubaka bwa Paalamenti akikiirire disitulikiti ye Butambala nga omubaka omukyala.[4] Mu kulonda okwo Kabanda yakwata kaadi y'ekibiina ki NRM era navuganya kyokka namegebwa Lydia Mirembe. Kabanda teyamatira era naddukira mu kooti okuwakanya ebyalangirwa nti byebivudde mu kulonda kyokka omusango negugobwa nga omulamuzi yesigama ku Kabanda okulemererwa okuleeta obujulizi obukakasa nti okulonda kwalimu emivuyo.[5] Nga okulonda kwa bonna okwomwaka 2021 kusemberera okutuuka, Kabanda yasala eddiiro okuva mu kibiina ki NRM neyegatta ku kisinde ki People Power ekyali kikulemberwa omuyimbi era munnabyabufuzi Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine). Ekisinde kino kyekyafuuka ekibiina ky'ebyobufuzi ki National Unity Platform era Kabanda nakikwatira bbendera nawangula akalulu nga omubaka omukyala owa Butambala.[6][7][8][9] Nga ogyeko okuba omubaka wa Palamenti era y'amyuka Ssabawandiisi w'ekibiina ki National Unity Platform.[10]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://ugandaradionetwork.net/story/aisha-kabanda-wins-butambala-woman-mp-seat-
  2. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/nalule-asha-aisha-kabanda-10214/
  3. https://www.newvision.co.ug/articledetails/106282
  4. https://www.newvision.co.ug/news/1331570/kampala-rcc-aisha-kabanda-quits-butambala
  5. https://chimpreports.com/aisha-kabandas-election-petition-thrown-out/
  6. https://ugandaradionetwork.net/story/aisha-kabanda-wins-butambala-woman-mp-seat-?districtId=505
  7. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/nalule-asha-aisha-kabanda-10214/
  8. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1331570
  9. https://www.independent.co.ug/2021-elections-bobi-wine-unveils-political-party/
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2023-09-28. Retrieved 2024-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]