Aisha Lubega
Aisha Lubega Munnayuganda omusomesa, addukanya emirimu era omumyuka wa Ssentebe w’akakiiko k’eby'okulonda.[1][2]
Obuto bwe n'okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Aisha alina diguli ey'okubiri mu by’enjigiriza (Administration and Planning) okuva mu yunivaasite y'e Makerere, dipulooma mu by’enjigiriza okuva mu Institute of Public Administration (kati eyitibwa Uganda Management Institute) ne Bachelors of Arts (BA) wamu ne Dipulooma mu by’enjigiriza okuva mu yunivasite y’e Makerere.[1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Aisha ye mumyuka wa Ssentebe w’akakiiko k’eby'okulonda eyaddamu okulondebwa nga yakegattako mu 2017 era yakuguka mu busomesa. Mu nzirukanya ye ey'emirimu, amanyiddwa okulwanirira obwenkanya mu kikula ky’abantu n’okutumbula abakyala. Yali musomesa ku Masaka Secondary School, Nabisunsa girls School gye yali Omumyuka w’omukulu w’essomero oluvannyuma n’afuulibwa Omukulu waalyo (1992–2017).[1][3]
Mu 2001, yagaanibwa akakiiko ka paalamenti akasunsula abantu nga kagamba nti tekisaanira kubeera na bantu babiri okuva mu maka gamu ku bukiiko obuteekebwawo mu mateeka kubanga bba ye yali Ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’enjigiriza.[4][5][6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 administrator (2017-01-19). "Hajjat Aisha Lubega". Electoral Commission. Archived from the original on 2024-08-14. Retrieved 2025-04-09.
- ↑ "Men and women in charge of polls". Monitor (in Lungereza). 2021-01-12. Retrieved 2025-04-09.
- ↑ "Museveni reappoints Justice Byabakama as EC boss". Monitor (in Lungereza). 2024-01-11. Retrieved 2025-04-09.
- ↑ "Lubega unacceptable, says Awori". New Vision. Retrieved 2025-04-09.
- ↑ "The Aisha irony". New Vision. Retrieved 2025-04-09.
- ↑ Adams, Sadiiki (2016-11-19). "Hajjat Aisha Lubega: So what if gov't business is our family business?". The Ugandan (in American English). Retrieved 2025-04-09.