Aisha Naluzze Batala
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | high court judge |
| Omukozesa | judiciary |
Aisha Naluzze Batala (yazaalibwa 1977) Munnayuganda nga munnamateeka era omulamuzi wa kooti enkulu mu Uganda, ng'akola nga kaliisoliiso wa gavumenti ya Uganda .[1] Yalondebwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu Gwekkumi 2025 okusikira Beti Olive Namisango Kamya.[2] [3]
Nga tannalondebwa, yali mulamuzi atuula mu kooti enkulu eya Uganda mu ttabi erikola ku nsonga z'etttaka.[4][5]
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Aisha Naluzze Batala yazaalibwa mu 1977 nga muwala wa Sheikh Abdul Obeid Kamulegeya ne Hajjat Haliima Kamulegeya.[6][7] Yasomera mu Uganda era n'eyettanira nnyo ensonga z'amateeka n'obwenkanya ng'akyali muto.[8]
Yasomera Makerere Yunivasite gye yafunira diguli esooka mu mateeka era oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gye egya diguli, y'egatta ku ttendekero lya Law Development Centre (LDC) mu Kampala, n’afuna dipulooma emukkiriza okuwoza emisango mu kooti za Uganda.[9]
Oluvannyuma y'ewandiisa mu ttendekero lya Uganda Management Institute (UMI), gye yafunira diguli eyookubiri mu nzirukanya y'emirimu.[10]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Batala emirimu yagitandikira mu kkampuni y'abannamateeka eya F. Mukasa & Co. Advocates, gye yakolera ng’omuyambi mu by'amateeka wakati wa 2003 ne 2005.[11]Batala era yaweerezaako mu ttabi erivunaanyizibwa ku by'ettaka mu kkooti enkulu eya Uganda.[12]
Nga 7 Ogwekkumi 2025, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yamulonda okufuuka kalisoliiso wa Gavumenti era bwatyo n'asikira Beti Olive Namisango Kamya, eyali aweerezza mu kifo kino okuva mu Gwomusanvu 2021.[13] Amawulire g'okulondebwa kwe gakakasibwa Faruk Kirunda, omuyambi wa Pulezidenti ow’enjawulo ku by'amawulire mu Ofiisi ya Pulezidenti.[14]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Namayo, Moses. "It Won't Be Business-As-Usual, Says New IGG Naluzze". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-10-10.
- ↑ Odongo, Jacobs Seaman. "BREAKING: Justice Naluzze Replaces Beti Kamya as IGG". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-10-10.
- ↑ "Museveni replaces Kamya with High Court Judge Aisha Naluzze as IGG, deputies retained". Monitor (in Lungereza). 2025-10-08. Retrieved 2025-10-10.
- ↑ Atukunda, Rogers (2025-10-07). "Justice Aisha Naluzze Batala Appointed New IGG". SoftPower News (in American English). Retrieved 2025-10-10.
- ↑ "Land Division". judiciary.go.ug. Retrieved 2025-10-10.
- ↑ "Bitter-sweet moment for Kamulegeya family: IGG Naluzze's rise, Lutale's ordeal". Monitor (in Lungereza). 2025-10-10. Retrieved 2025-10-10.
- ↑ Odongo, Jacobs Seaman. "A Tale of Two Siblings: Lutale Faces Treason Trial as Sister Naluzze Becomes New IGG". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-10-10.
- ↑ Murungi, Paul (2025-10-07). "Who is Lady Justice Aisha Naluzze Batala, the Newly Appointed IGG?". CEO East Africa (in American English). Retrieved 2025-10-10.
- ↑ "Explainer: What it takes to practise law in EAC countries - The EastAfrican". www.theeastafrican.co.ke. Retrieved 2025-10-10.
- ↑ https://www.cavendish.ac.ug/wp-content/uploads/2023/09/Profiles-of-new-Judges-of-the-High-Court.pdf
- ↑ "F.Mukasa & Co. Advocates". Commonwealth of Nations (in American English). Archived from the original on 2025-09-06. Retrieved 2025-10-10.
- ↑ "Judiciary: The Republic of Uganda". judiciary.go.ug. Retrieved 2025-10-10.
- ↑ Reporter, NewVision (2021-07-15). "Beti Kamya is new IGG". New Vision. Retrieved 2025-10-10.
- ↑ Reporter, NewVision (2021-11-04). "Museveni appoints Farouk Kirunda Deputy Press Secretary". New Vision. Retrieved 2025-10-10.
- CS1 Lungereza-language sources (en)
- CS1 American English-language sources (en-us)
- Abazaalwa mu 1977
- Abantu abalamu
- Abantu abasibuka mu Disitulikiti y'e Mukono
- Bannayuganda abalamuzi ab'ekyasa ky'abiri mw'ekimu
- Abaasomerako ku Yunivasite y'e Makerere
- Abaasomerako ku Law development Centre
- Abaasomerako ku Uganda Management Institute