Jump to content

Akakiiko Akavunaanyizibwa ku By'okulonda mu Uganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

  

Akakiiko Akavunaanyizibwa ku by'okulonda mu Uganda, era nga k'Ekakiiko k'Eby'okulonda mu Uganda, kitongole kya Gavumenti ya Uganda ekyasibwaawo nga bayita mu semateeka, ng'ekiragiro kyakyo "kyakutegeka n'okukola okulonda okwa bulijjo, okw'eddembe era okw'obwenkanya" mu ggwanga, mu ngeri ennungi, ey'ekikugu era etaliimu kyekubiira. [1]

Gyekasinganibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Akakiiko k’Eby'okulonda mu Uganda nga 19 Ogwomwenda kaatongoza amaka gaako amapya agasinganibwa e Lwez-Lubowa mu Makindye Ssabagabo Municipal Council mu Disitulikiti y’e Wakiso okusunsula abaali baagala okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2026 era n'okukola ng'ekifo ky;eggwanga ewanaabalirwa obululu n'okulangirira ebinabeera bivudde mu kulonda. Emabegako akakiiko k’eby'okulonda kaava ku kitebe kyako ekyali kuku luguudo lwa 55 Jinja Road, mu Central Division mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene mu ggwanga.[2] nga beetegekera okuzimba oluguudo olunabeera luva e Kampala okugeda e Jinja olugenda okubeera nga luyisibwa wagulu.Endagiriro y'ekitebe ekikulu eky'Akakiiko k'Eby'okulonda mu Uganda ng'okozesa bibalo zeezino ye:0°19'00.0"N, 32°35'39.0"E (Latitude:0.316675; Longitude:32.594154).[3] kyasengulwa ne kitwalibwa mu ku luguudo lwa 7th Sreet mu kitundu ky’amakolero oluvannyuma ekyafuuka okubeera nga kyaali kitawanyizibwa amataba ng'enkuba ey’amaanyi etonye okutuusa lwe baafuna ekifo ekirungi e Lweza-Lubowa okusobozesa okuzimbibwa kwakyo okupya. Emirimu emipya egy’okuzimba gyatandise era nga gyakolebwa kampuni ya National Housing and Construction Company egikolebwa mu mitendera.

Etteeka eryaviirako okutandikawo kw'akakiiko k’eby'okulonda lyalangirirwa mu 1997. Akakiiko k’eby'okulonda akaasooka kaakola okuva mu 1997 okutuuka mu 2002. Akakiiko akaliwo kati kajja mu ofiisi mu 2016 okumala ekisanja kya myaka musanvu, nga kazzibwa obuggya omulundi gumu gwokka. Akakiiko kano akakulirwa Omulamuzi wa Kkooti Enkulu, Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama, kadda mu bigere by'ako akaali kakulemberwa Yinginiya Badru Kiggundu akawereza ebisanja bibiri okuli okuva mu 2002 okutuusa mu 2009 ne 2009 paka 2016). Ba kaminsona abalala kuliko Hajjat Aisha Lubega amyuuka ssentebe, ne bakamisona Peter Emorut, Steven Tashobya, Justine Ahabwe Mugabi, Nathaline Etomaru ne Mustapha Ssebaggala Kigozi. Mu kiseera ky'emyaka gyabwe egyasooka mu ofiisi, baategeka era ne balabirira okulonda. Okulonda okusooka mu ggwanga lyonna kwe baali basuubirwa okutegeka kwe kulonda kw'abakulembeze b’olukiiko lw’ebitundu . Webwatukira mu Gwokuna mu 2018, ebyo byali birwawo olw’obutaba na nsimbi zimala. [4]

Wamanga be bakamisona abaliwo kati okuva mu 2016, okutuusa 2022) [5] Ttiimu empya yalayizibwa nga 17 Ogwoluberyeberyemu 2017. [6]

  1. Simon Mugenyi Byabakama : Ssentebe
  2. Hajjat Aisha Lubega: AmyuUka wa Ssentebe
  3. Peter Emorut: Kaminsona
  4. Justine Ahabwe Mugabi: Kaminsona
  5. Stephen Tashobya: Kaminsona
  6. Mustapha Ssebagala Kigozi: Kaminsona
  7. Nathaline Etomaru: Kaminsona

Akakiiko k’Eby'okulonda kazze kalumirizIbwa enfunda eziwera olw'obutabeera na bwenkanya. Mu Kulonda kwa Pulezidenti okwa 2021 waaliwo ebifo 409 ebyali birondebwaamu ng'abantu ebitundu 100 ku 100 beebalabibwaayo, wabula nga bino byonna byawangulwa Pulezidenti Museveni. [7] Empapula ezikozesebwa mu Kulonda ezimannyikiddwa Ng'ebivudde mu Kulonda zikyusibwa zaakyusibwa nga kino kiyamba pulezidenti Museveni mu ngeri Akakiiko k’Eby'okulonda gye katasobodde kunyonyola. [8]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. UCU (5 August 2016). "Mission, Vision and Goal". Electoral Commission of Uganda (ECU). Retrieved 5 August 2016.
  2. ECU (6 August 2015), Uganda Electoral Commission: Head Office, Kampala: Electoral Commission of Uganda (ECU), archived from the original on 22 January 2016, retrieved 6 August 2015
  3. Template:Google maps
  4. Nabwiso, Samuel (17 April 2018). "Uganda's EC seeks Ushs7bn for local council elections". Archived from the original on April 24, 2018. Retrieved 24 April 2018.{{cite web}}: CS1 maint: unfit URL (link)
  5. Kafeero, Stephen (18 November 2018). "Justice Simon Byabakama replaces Kiggundu as EC chairperson". Retrieved 24 April 2018.
  6. Vision Reporter (17 January 2017). "New Electoral Commission team sworn in". Retrieved 24 April 2018.
  7. "Observers baffled by 100% voter turnout". Observer. 17 February 2021. Archived from the original on 2021-02-17.
  8. "Something doesn't add up". The Continent. Archived from the original on 2021-03-06.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]