Akaziba ka Kaboni (Carbon atom)
Gakuweebwa Charles Muwanga !! Enjuba bw’emala okukyusa obuziba bwa ayidologyeni bwonna okubufuula keriyamu, etandika okukyusa obuziba bwa keriyamu okubufuula obwa kaboni ne okisegyeni. Kaboni yenna mu bwengula yakolebwa mu njuba. Obuziba bwa kaboni buzito okusinga obwa keriyamu oba ayidologyeni kubanga kaboni alina obukontanyo 6 ne nampawengwa 6 mu biziizi n’obusennyalazo 6 obuwewenyukira wabweru w'obuziizi w'akaziba .
Obusannyalazo omukaaga bwonna tebusobola kutebenta kwetoloola obuziizi ku mutendera gwe gumu. Obusannyalazo bubiri bwokka bwe busobola okuja mu kire ekisembayo munda (inner shell). N’olwekyo obusannyalazo obumu bulima okweyongerayo okuva okumpi n'obuziizi.
Akaziba ka kaboni n’olwekyo kalina ebire bibiri (two shells) nga obusannyalazo bubiri bwe busigala mu kire ekisembayo munda okuliraana obuziizi, olwo obusannyalazo buna ne bubeera mu kire ekiddako ekisimbayo ku ngulu 'mu kaziba.
Kyokka manya nti ekire ekyo kungulu kiyinza okwetikka obusannyalazo obutuuka ku munaana. Kino kisobozesa kaboni okwegatta n'obuziba obw'ekika ekirala okukola molekyo ezisingawo obunene. Kaboni yegatta nnyo ne okisigyeni okukola molekyo ya kaboni-emokisayidi(carbon monoxide), ekitegeeza molekyu ya kaboni omukwasiwaze n'akaziba ka okisigyeni kamu (carbon monoxide) oba molekyu ya "kaboni-bbiri-okisayad"i (carbon-dioxide) ”, ekitegeeza molekyo ya kaboni omukwasiwaze (bonded with) n'obuziba bwa a okisigyeni bubiri (carbon dioxide). Kaboni-emu-okisayidi (carbon-monoxide) oyinza n’okukyogera nga molekyu ya okisigyeni emu ne kaboni.
Ebiramu byonna ku nsi bikolebwa okusinga molekyo za kaboni eza nakazzi (hydrocarbons), eno nga eba molekyu ya kaboni eba ekwasiwaziddwa ne (bonded with)ayidologyeni.
Molekyo ya ayidologyeni ne okisigyeni y’eyitibwa "amazzi". Byombi, ebimera n’ensolo birimu ebitundu bya kaboni nga 18%. N’olwekyo tukolebwa birungo bya njuba kubanga kaboni yasibuka munda mu njuba.
Ebimera bifuna kaboni nga bijja kaboni-bbiri-okisadi (carbon dioxide) mu mpewo olwo ne bikutulako obuziba bwa okisegyeni ate ensolo ne zifuna kaboni nga zirya ebimera oba ensolo endala.
Ensolo ziddamu ne zegattisa kaboni ne okisegyeni okukola kaboni-bbiri-okisadi (carbon dioxide), nga guno gwe mukka gw’ofulumya mu kussa. Ate era ebimera n’ensolo bwe bifa emibiri gyabyo nagyo, oluvanyuma lw’ekiseera, gifuuka kabonibbiri-okisadi nate.
Ebisinga bye tukozesa ng’amafuta bikolebwa mu kaboni, nabyo. Amanda, koolo, woyiro, enku, gasoliini byonna bikolebwa kaboni-eza-nakazzi (hydro carbons). Kaboni okuyitirira mu nampewo (the atmosphere) ky’ekiviriddeko “okubugumirira kw’enkulungo y’ensi” (global warming)