Akaziba ka Keriyamu(Helium atom)
Obuzimbe bw'akaziba ka Keriyamu (helium atom) bwangu ddala, nga mu bwangu bwe budirira obwa ayidologyeni. Okwetoloola obuziizi (nucleus) bwa keriyamu, waliwo obusannyalazo bubiri.
Munda mu njuba era mulimu obizaba bwa keriyamu. Enjuba ekola keriyamu nga ekwasawaza obuziba bwa keriyamu buna wamu ne kivaamu akaziba kamu aka keriyamu. N’olwekyo enjuba okusinga zikolebwa buziba bwa ayidologyeni na keriyamu.
Singa enjuba eba eggweredwako ayidologyeni, etandika okukyusa obuziba bwa keriyamu okubufuula “obuziba bwa kaboni” (carbon atoms). Kyokka keriyamu abamu gwe bakozesa ku nsi afunibwa nga basima ebitundutundu wansi mu magombe g'ensi gy’aba awagamidde.
Keriyamu awagamira wansi mu magombe g’ensi okufaanana ne “obiziba obubumbulukufu” (radioactive atoms),buno era nga buyitibwa “buziba obufulumya olubugumu” nga yulaniyaamu nabwo eziba mu magombe (in the earth’s crust) nga zivunze ne bufulumya “obutunninnya bwa alufa” (alpha particles), nga buno bwe bumu n'obuziba bwa keriyamu nga teburiimu busannyalazo bwazo. Kyokka era mu magombe, “obutunniinya bwa alufa (alpha particles) busanga obusannyalazo ne bubwegattako okufuukamu obuziba bwa keriyamu.
Kubanga obuziba bwa keriyamu butini , buba ziwewuka nnyo. Okufaanana ne ayidologyeni, keliyamu ewewuka okusinga empewo, n’olwekyo bw’ojjuza bbaluuni na keriyamu, bbaluuni ziba zitengejja mu mpewo.
Kyokka omugaso gwa keriyamu ogusinga kwe kuziiyiza ebintu okutulika oba okubaluka (exploding). Obuziba bwa keriyamu buggumivu nnyo (are very stable) ekitegeeza nti kizibu okubuteeka mu mbeera ebusobozesa okweggata n'obuziba obulala okukola molekyo.
N’olwekyo bw’oba ng’okozesa matiiriyo eziyinza okutulika okwewala obubenje bikozese mu mbeera erimu keriyamu. Ekyokulabirako abookya ebyuma (welders) bakozesa nnyo keriyamu mu ngeri eno.