Jump to content

Akena p'Ojok

Bisangiddwa ku Wikipedia
Akena p'Ojok
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi, military personnel, Minisita Kyusa
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziUganda People's Congress Kyusa

Akena p'Ojok Munnayuganda era munnabyabufuzi eyali mu bifo bya gavumenti eby'enjawulo mu myaka gya 1980, omuli Minisita w'amasannyalaze, poosita n'ebyempuliziganya. Yali muntu wa maanyi mu kibiina kya Uganda National Liberation Front/Army ekyayamba okuggyawo Idi Amin era nga y'enyigira mu ntalo z'okuwamba obuyinza ez'addirira.[1]

P'Ojok, ava mu ggwanga ly'Abacholi, yazaalibwa mu Pupwonya, ekitundu eky'omu kyalo okumpi n'ekitundu eky'obusuubuzi ekya Atiak mu Ssaza lye Kilak, mu Disitulikiti y'e Amuru.

Obulamu bwe mu byobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu kiseera ky’obukulembeze bwa Iddi Amin, p’Ojok yaddukira e Kenya, n’asiisira mu Nairobi, gye yafuukira yinginiya omukulu mu kkampuni y'amasanyalaze mu Kenya eya Kenya Electricity Utility.[2] Nga bali wamu ne Yonna Kanyomozi, Ephraim Kamuntu, Richard Kaijuka ne Bannayuganda abalala abatutumufu abaali mu buwaŋŋaanguse, p'Ojok baatandikawo ekibiina kyabwe ekya Save Uganda Movement (SUM), ekibiina ky'abatujju abaalwanyisa Iddi Amin oluvannyuma ne kyegatta wansi wa bendera ya Uganda National Liberation Front (UNLF) n'ebibinja ebyalina ebigendererwa ebifaanagana ng'ekyabwe, awamu n'amagye ga Tanzania, ne baggyako Iddi Amin mu mwaka gwa 1979.

Mu lutalo lwa Uganda ne Tanzania, p'Ojok yali mumyuka wa Ssentebe w'omukago gw'amagye ogwakolebwa okutondawo eggye lya Uganda National Liberation Army (UNLA, ekiwayi ky'amagye ekya UNLF) n'eggye lya Tanzania People's Defence Force, ekyaviirako Amin okuggyibwa mu buyinza. Oluvannyuma yafuuka omumyuka wa Pulezidenti wa UNLF,[3][4] ekiwayi ekyafuga Uganda amangu ddala nga Iddi Amin avudde mu bukulembeze. Akena p'Ojok yalondebwa okufuuka Pulezidenti wa Uganda nga yadda mu bigere bya Yusuf Lule eyali Pulezidenti oluvannyuma lwa Iddi Amin. Wabula oluvannyuma lw'olukuŋŋaana lwa The Moshi Conference, Godfrey Binaisa yalondebwa okubeera Pulezidenti mu kifo ekyo.[5][6][7][8]

Ebibiina by’obufuzi bwe byali bitondebwawo mu kwetegekera okulonda kwa bonna okwa 1980, p’Ojok yavuganya ku bukulembeze bwa Uganda Patriotic Movement (UPM),[9] kyokka Yoweri Museveni ye yalondebwa ku kifo kino. Akena p'Ojok oluvannyuma yeegatta ku kibiina ky'ebyobufuzi ekya Uganda People's Congress (UPC), n'afuuka omubaka wa Paalamenti eyali akiikirira Obugwanjuba bwa Gulu, oluvannyuma lw'okuwangula eyali amuvuganya Anthony Ochaya owa Democratic Party. Ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Uganda People's Congress kye kyawangula akalulu (akaali kamanyiddwa nti kabbiddwa). Akena p'Ojok yafuuka Minisita w'amasannyalaze n'ebyempuliziganya, era oluvannyuma n'akola emirimu egy'enjawulo nga Minisita wa kabineeti mu gavumenti ya Milton Obote eya UPC.

Mu 1985, gavumenti ya Obote yagobebwa mu buyinza mu lutalo lw'okuwamba gavumenti olwakulemberwa Tito Okello ne Bazilio Olara-Okello . Mu 1986, oluvannyuma lw’akavuyo akaddirira mu kuwamba gavumenti, eggye lya Yoweri Museveni erya National Resistance Army, eryali limaze emyaka mukaaga nga lirwanagana ne gavumenti ya Obote, ly'awamba obuyinza. P’jok yagaana okwegatta ku gavumenti ya Museveni bwe yamusaba[10] era mu 1987 yakwatibwa n’aggulwako omusango gw’okulya mu nsi ye olukwe olw’ebigambibwa nti yali akuŋŋaanya eby'okulwanyisa okusuula gavumenti. Tewali kiwandiiko kyonna kikakasa nti yasingisibwa emisango egyo, naye yasindikibwa mu kkomera. Mu 1990 yayimbulwa oluvannyuma lw'okusonyiyibwa kwa Pulezidenti Museveni, oluvannyuma n’ava mu Uganda n’asenga mu Bungereza.[11]

Ku ntandikwa ya 2005, ekibiina ky’abakadde b’Acholi kyatuukirira p’Ojok ne bamusaba okukiikirira Abacholi mu Uganda People’s Congress, ekiteeso kye yagaana.[12][13]

Okuva mu myaka gya 1990, p'Ojok abadde abeera ne mukyala we n'abaana ku njegoyego z'ekibuga London.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Admin (2026-01-20). "Ugandaelections2026: Persons who wanted to rule Uganda before January 1986". New Vision. Retrieved 2026-07-06.
  2. "How battle of Lukaya shaped war between Uganda, Tanzania". Daily Monitor. 28 March 2021. Retrieved 2021-05-27.
  3. Nanyenga, Peter F.B (1982). "The Overthrowing of Idi Amin: An Analysis of the War". Africa Today. 31 (3): 69–71. JSTOR 4186254.
  4. "UPC ..::|::.. Uganda Peoples Congress". www.upcparty.net. Retrieved 2021-05-27.
  5. "44. Uganda (1962-present)". uca.edu. Retrieved 2021-05-27.
  6. Nyeko, Balam (1987). "The Background to the Political Instability in Uganda" (PDF). Ufahamu: A Journal of African Studies: 1–22.
  7. "President Godfrey Lukongwa Binaisa | State House Uganda". www.statehouse.go.ug. Retrieved 2021-05-27.
  8. Times, Carey Winfrey Special to The New York (1979-06-21). "UGANDAN PRESIDENT OUT AFTER 10 WEEKS". The New York Times. ISSN 0362-4331. Retrieved 2021-05-27.
  9. Makara, Sabiti (2009-09-01). "The Challenge of Building Strong Political Parties for Democratic Governance in Uganda: Does multiparty politics have a future?". Les Cahiers d'Afrique de l'Est / The East African Review (41): 43–80.
  10. "P'Ojok declined several personal offers from Museveni to join his government - Nonya Google". www.google.com. Retrieved 2021-05-27.
  11. "From third to main force: Tracing Museveni's final leg to power". Daily Monitor. 26 January 2021. Retrieved 2021-05-27.
  12. "Uganda Peoples Congress | Ugandan political party". Encyclopedia Britannica. Retrieved 2021-05-27.
  13. Otunnu, Ogenga (2017), "Crisis of Legitimacy and Political Violence Under the Uganda National Liberation Front (UNLF), 1979–1980", in Otunnu, Ogenga (ed.), Crisis of Legitimacy and Political Violence in Uganda, 1979 to 2016, African Histories and Modernities, Cham: Springer International Publishing, pp. 33–67 retrieved 2021-05-27
  • Nyai, Dick. The Origins of the Uganda Luwero War. Pdf Paper Submissions .