Jump to content

Akogo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Amazina ga Akogo
Akogo amazina g'abateeso
Abazinnyi ba Akoga ku siteegi
Ab'omugigi ogwazooka nga bolesa amazina ga Akogo

Amazina ga Akogo mazina ga kinnansi ag'abantu b'e Teso mu Buvanjuba bwa Uganda . Okwolesebwa kuno okw’obuwangwa kukolebwa abasajja n’abakazi, abatambuza ebifuba byabwe mu ngeri ey’ekitiibwa nga bakwatagana n'omudigido gw’ebivuga bya akogo, ekivuga ekikuba ekikoleddwa mu mabanda ag'obuwanvu obw'etagisa. [1] Amazina galowoozebwa nti gakolebwa abantu b’e Teso okumala ebyasa ebiwerako era nga gazze gakulaakulana okumala ekiseera era nga gakwatibwako amazina amalala okuva mu bitundu ebiriraanyewo. [2] [3] [4]

Emitendera n’entambula ez’ennono

[kyusa | kolera mu edit source]

Akogo, era emanyiddwa nga akananga k'engalo, kye kivuga ekikulu ekikozesebwa mu mazina g’ekinnansi aga Akogo. [5] [6] Ekivuga kino kikolebwa mu mabanda agakolebwa mu buwanvu obw’enjawulo era nga kikubibwa nga osuna enkoba oba obuuma obw'asibibwako n'ekigalo ekisajja okuvaamu eddoboozi. Eddoboozi ery’amaanyi erikolebwa akogo lirina omulimu omukulu mu mazina, nga liteekawo omudigido abazinnyi gwe bagoberera. Amazina ga Akogo gamanyiddwa olw’okutambula amangu n'omudigido ogw'amaanyi. Amazina gano gakolebwa abasajja n’abakazi era nga gatera okuwerekerwako okuyimba. Abazinyi batambula mu mwetoloolo nga buli muzinyi afuna akaseera ak'okuzinira mu makatti ng'omwetolooloakyusakyusa okuyimba wakati mu nkulungo.

Amakulu mu by’obuwangwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Amazina ga Akogo mu buwangwa bw’Abateso galaga ebyambalo biyooyooteddwa n’emisono egy’enjawulo. [7] Abasajja batera okwambala empale n’essaati endebevu ng'ate abakazi bambala sikaati empanvu ne bbulawuzi. Amazina ga Akogo galina omugaso munene mu by’obuwangwa, nga gabiibizibwa ku mikolo egy’enjawulo omuli embaga, okuziika, n’okujaguza. Amazina gano ag’ekinnansi gakola ng’engeri abantu b’e Teso gye bayinza okussa ekitiibwa mu busika bwabwe n’okukola akakwate ak’amaanyi ne bajjajjaabwe.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://ugandasafariexperts.com/uganda-traditional-dances/
  2. https://makir.mak.ac.ug/items/8cbcc4a3-75c7-49b2-88f7-832b6e9e5c0e
  3. https://chimpreports.com/fun-as-itesoothers-embrace-akogo-festival-2nd-edition/
  4. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  5. https://chimpreports.com/fun-as-itesoothers-embrace-akogo-festival-2nd-edition/
  6. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  7. https://chimpreports.com/fun-as-itesoothers-embrace-akogo-festival-2nd-edition/

Ebisingawo eby'okusomako

[kyusa | kolera mu edit source]