Jump to content

Alam Group

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Alam Group of Companies, ekitera okuyitibwa Alam Group, kitongole kya bwannannyini mu Uganda. Ekibiina kino kirina eby'obusuubuzi ezitali zimu mu Uganda, Kenya ne Rwanda .

Kampuni ya Alam Group yatandikibwaawo Manzur Alam mu 1965. Alam yazimba ng'asiziira ku misingi ogwatandikibwaawo kitaawe, Mehbub Alam, eyali yinginiya w’ebizimbe n'okukola enteekateeka y'ebibuga eyakolagana obulungi ne gavumenti ya Buganda ne gavumenti z’ebitundu. Pulojekiti za Mehbub Alam mwalimu okuzimba ekomera ly’e Kigo n'emikutu gy'e Nakivubo. [1]

Mu 2019, Kampuni yalangirira okuzimba ekolero lya sukaali eppya mu disitulikiti y’e Kassanda mu Uganda. Ekolero lino lyali lisuubirwa okutandika okukola mu 2021. [2]

Ensonga z’ebitongole

[kyusa | kolera mu edit source]

Kampuni ya Alam Group ekulemberwa omutandisi waayo era nga ye ssentebe mu kiseera kino Manzur Alam.

Ofiisi n’abakozi

[kyusa | kolera mu edit source]

Kampuni ya Alam Group kyekitebe kyayo ekikulu ng'era kye kiddukanya makampuni ezisinga obungi mu Uganda, ng'eno gyekikozeseza abakozi 3,000 obutereevu. Era kirabirira kampuni zekikolagana nazo mu mawanga g'omuliraano omuli Kenya ne Rwanda .

Ebitundu bya bizineensi

[kyusa | kolera mu edit source]

Kampuni eno yeenyigira mu kukola ebyuuma, okulongoosa ebyuuma, ebikozesebwa mu bulimi, engatto, okukola sukaali, okukola amasannyalaze, okulima ebimuli, okukulaakulanya n’okuddukanya ebizimbe, loogi z’obulambuzi n'eby'ensula n’okukola ggaasi w’amafuta ow’amazzi, n’ebirala ebiteekebwamu ssente. [3]

Kampuni ezikolagana nabo

[kyusa | kolera mu edit source]

Kampuni za Alam Group zirimu naye nga tezikoma ku zino wammanga: [4]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Nakaweesi, Dorothy (29 April 2009). "Alam has maintained a prosperous family business". Daily Monitor. Archived from the original on 5 May 2019. Retrieved 26 July 2017.
  2. Javira Ssebwami (11 December 2019). "Abid Alam starts construction of $40m Kassanda Sugar Plant". PML Daily. Retrieved 15 August 2020.
  3. Khisa, Isaac (9 February 2013). "Alam Group To Start Sugar Production for Extra Electricity". The EastAfrican. Archived from the original on 2 June 2013. Retrieved 26 July 2014.
  4. "The Companies of Alam Group". alam-group.com. Archived from the original on 2 July 2014. Retrieved 26 July 2014.
  5. Khisa, Isaac (13 October 2012). "Alam Group's $50 Million Steel Mill 'Won't Lower Prices'". The EastAfrican. Archived from the original on 24 February 2015. Retrieved 26 July 2014.
  6. Tentena, Paul (8 October 2012). "East Africa: Kampala To Lead EA In Steel Production". East African Business Week (Kampala) via AllAfrica.com. Retrieved 26 July 2014.
  7. Sanya, Samuel (26 January 2013). "Kaliro Sugar Factory To Ease Sugar Deficit". New Vision. Retrieved 25 July 2014.
  8. Biryabarema, Elias (29 January 2013). "Ugandan Group Building $52 Million Sugar Plant". Reuters. Retrieved 26 June 2014.
  9. "Application for A License for The Establishment of A 11.9MW Bagasse Co-Generation Power Plant In Kaliro District". Electricity Regulatory Authority (ERA). 30 May 2014. Archived from the original on 11 August 2014. Retrieved 26 July 2014.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]