Alamara Nhassé,
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Guinea-Bissau | |
| Yazaalibwa nga | 2 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 1957 | |
| Gy'azaalwa | Guinea-Bissau | |
| Ennimi z'amanyi | Portuguese | |
| Omulimu | munnabyabufuzi, Minisita | |
| Ekifo ky'alimu | Prime Minister of Guinea-Bissau, Prime Minister of Guinea-Bissau | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Party for Social Renewal | |
Alamara Ntchia Nhassé (yazaalibwa nga 2 Ogwomukaaga 1957) munnabyabufuzi mu Bissau-Guinea, eyali Ssaabaminisita okuva nga 9 Ogwekkumineebiri 2001 okutuuka nga 17 Ogwekkuminoogumu 2002. Mu kiseera kino Nhassé ye Pulezidenti w'ekibiina kya National Reconciliation Party; emabegako yakulembera ekibiina ky'Okuzza Obugya mu Mbeera z'Abantu (Social Renewal Party) (PRS).
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nhassé mukugu mu by’obulimi, era yatendekebwa mu Cuba ne mu Soviet Union . Oluvannyuma lwa Kumba Yala eyali yesimbye ku tiketi ya PRS okulondebwa ku bwapulezidenti, Nhassé yalondebwa nga Minisita w’ebyobulimi, amazzi, ebibira n'eby'okuyigga mu gavumenti eyatondebwawo mu Ogwokubiri nga 19, 2000.[1] Oluvannyuma, mu gavumenti eyatondebwawo mu Ogwolubereberye 25, 2001, yafuuka Minisita w’ebyobulimi n’obuvubi.[2] Ku mulembe gwa Ssaabaminisita Faustino Imbali, yafuuka Minisita w'ensonga z'omunda oluvannyuma lwa Artur Sanhá okugobwa mu Ogwomunaana nga 29, 2001. Oluvannyuma lwa Imbali naye okugobwa, Nhassé yamusikira ku bwa ssaabaminisita mu Ogwekumineebiri nga 9, 2001. Mu Ogwolubereberye nga 15, 2002, olukiiko lw'ekibiina olwa PRS lwamulonda nga pulezidenti w'ekibiina. Olwa katyabaga akagwawo mu biseera ebyo, obukulembeze teyabumalaako bbanga ddene era ne gavumenti ye newalirizibwa okusasika. Nhassé yalekulira obwa Pulezidenti bwa PRS mu Ogwekkuminoogumu nga 15, 2002, era oluvannyuma lw’ennaku bbiri, Mário Pires yalondebwa okudda mu bigere bya Nhassé ku bwa ssaabaminisita.
Mu kulonda kwaba Pulezidenti okwa 2005, Nhassé yawagira eyeesimbyewo João Bernardo Vieira . Oluvannyuma lw’okulondebwa kwa Vieira, Nhassé yasaba Carlos Gomes Júnior alekulire obwa ssaabaminisita; Olwo Gomes Junior n’afiirwa omusingi gwe ogwa paalamenti oluvannyuma lw’ababaka 14 ku 45 aba paalamenti okuva mu kibiina kye ekya PAIGC okukivaamu.
Mu kiseera kino Nhassé ye Pulezidenti w’ekibiina kya National Reconciliation Party. Kyalemererwa okuwangula ekifo kyonna mu kulonda kwa paalamenti okwa 2008, era y’akkiriza okuwangulwa kuno.[3]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2007-09-27. Retrieved 2026-03-12.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Le gouvernement de GUINEE BISSAU formé le 25 January 2001" Template:Webarchive, Afrique Express Template:In lang.
- ↑ Template:Usurped, Agência Bissau, 19 November 2008 Template:In lang.