Alan Kasujja
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Alan |
| Yazaalibwa nga | 1978 |
| Gy'azaalwa | Yuganda |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | journalist, government spokesperson |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere |
Alan Kasujja (b. ca. 1978) Munnayuganda era munnamawulire omuweereza ku leediyo eyakolera ku BBC News okumala emyaka 13, n'avaayo mu Gwomunaana 2025.[1] Kasujja yali omu ku baweereza ba Newsday abakulu era ne pulogulaamu kati eyayimirizibwa ey'Africa Daily ku mukutu gwa BBC World Service.
Mu kiseera kino y’akulira ekitongole kya Uganda Media Centre, ekifo ng'omukozi wa gavumenti kyafuniddemu okumwemulugunyako.[2]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Kasujja omulimu gw’amawulire yagutandika mu myaka gya 1990, ku Sanyu Fm. Akoze ku ttivvi ne leediyo za Uganda. Emabegako yakolako pulogulaamu y'okumakya ‘The Big Breakfast’ ku leediyo ya 91.3 Capital FM ng’ali ne Jackie Lumbasi ne Ramesh Gabalsing, era abadde ayanjula pulogulaamu y’omuzannyo Who wants to be a Millionaire? okuva mu 2011. Era yakubiriza pulogulaamu ya The Fourth Estate, ey’emboozi y’ebyobufuzi mu Uganda.
Kasujja abadde abeera London okuva mu mwaka gwa 2012, nga y’omu ku baweereza ba Newsday ab'olulango.
Nga 15 Ogwoluberyeberye 2016, Kasujja yali omu ku baakubiriza okukubaganya ebirowoozo ku bwapulezidenti okwasooka ku ttivvi mu Uganda, ng’ali wamu ne munnamawulire wa KTN Nancy Kacungira.[3]
Obulamu ku bubwe
[kyusa | kolera mu edit source]Alan Kasujja yamala emyaka kkumi n'ebiri egyasooka mu bulamu bwe mu Kenya, gye yali addukidde okusobola okuwona obwannakyemalira bwa Idi Amin.[4] Yaddayo okubeera mu Uganda nga wa myaka kkumi n'ebiri, era oluvannyuma n'asoma amateeka ku Yunivasite y' e Makerere.
Mu Gwekkumineebiri 2003, Kasujja yawasa Sara Shalita, muwala w'omugenzi Ernest Munyambabazi Shalita eyali bishop w'Abakrisitaayo mu Muhabura.[5] Kasujja mukwano gwa Muhoozi Kainerugaba, era y'enyigira mu kujaguza amazaalibwa ge ag'emyaka 48.[6]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Wekesa, Annah Nanjala (25 August 2025). "Veteran Ugandan Journalist Leaves BBC After 13 Years". The Kenya Times. Retrieved 16 March 2026.
- ↑ Uganda, Oj (9 February 2026). "Kasujja calls Sunday Monitor article criticising move from BBC to Uganda Media Centre 'nonsense'". Oj-Uganda. Retrieved 16 March 2026.
- ↑ Okuda, Ivan. "Uganda: Presidential Candidates Hold First Live TV Debate As Museveni Stays Away". All Africa. Retrieved 24 February 2016.
- ↑ Kasujja, Alan (10 February 2015). "My Africa: The competing visions of Africa's future". BBC News. Retrieved 24 February 2016.
- ↑ "Wedding Bells". New Vision Uganda. Retrieved 24 February 2016.
- ↑ "Muhoozi project". Africa Report. 21 April 2022.
- Bannamawulire mu Uganda
- Abantu abalamu
- Bannamawulire era abasomi b'amawulire ku BBC
- Abaweereza ba BBC World Service
- Abaasomerako ku Makerere University
- Abazaalwa mu 1978
- Bannamawulire ba laadiyo Bannayuganda
- Bannayuganda abaweereza ku laadiyo
- Bannamawulire abasajja Abangereza
- Bannayuganda abawandiisi b'ekyasa ky'abiri mu ekimu