Albert Ruskin Cook
Sir Albert Ruskin Cook, CMB, OBE (22 Omwezi ogwokusatu 1870 – 23 Omwezi ogwokuna 1951) yali Mungereza omuminsani omusawo mu Uganda, era omutandisi w' eddwaliro ly'e Mulago n'eddwaliro ly'e Mengo . Ng’ali wamu ne mukyala we, Katharine Cook, (1863–1938), baatandikawo essomero eritendeka abazaalisa mu Uganda..
Emirimu gy'obusawo n'obuminsani
[kyusa | kolera mu edit source]
Albert Ruskin Cook[1] yazaalibwa mu Hampstead, London mu 1870. Bazadde be baali Dr. W. H. Cook ne Harriet Bickersteth Cook. Yatikkirwa ddiguli esooka okuva mu ttendekero lya Trinity College Cambridge mu 1893 ne mu ddwaliro lya Albert Ruskin Cook mu 1895 nga ddiguli esooka ey'obusawo .Yafuuka omusawo mu 1901.
Mu 1896, Albert Cook yagenda e Uganda n’obutume b'ekibiina ky'ekkanisa eky'abaminsani ekya Church Missionaery Society, era mu 1897 n’atandikawo eddwaliro ly’e Mengo, eddwaaliro erisinga obukadde mu buvanjuba bwa Afrika. Mu 1899 yeegattibwako mukulu we John Howard Cook, omusawo alongoosa era omusawo omukugu mukujanjaba amaaso. Albert Cook yawasa Katharine Timpson, omusawo omujanjabi (Nurse), mu 1900, gweyazaala naye abaana babiri ab’obuwala n’omulenzi.
Sir Albert Cook teyali wa bulijjo mubaminsani abasawo olw’okufuba kwe okutendeka Abafirika okufuuka abakozi abakugu mu busawo . Ye ne mukyala we baaggulawo essomero ly’abazaalisa e Mengo era ne bawandiika ekitabo ekirambika abazaalisa Lulimi oluganda , olulimi lw’ekitundu (Amagezi Agokuzalisa; ekyafulumizibwa Sheldon Press, London). Albert Cook yatandika okutendeka abayambi b'abasawo Abafirika e Mulago mu kiseera kya Ssematalo eyasooka (First world war) , era mu myaka gya 1920, yakubiriza okuggulawo ettendekero ly'obusawo mu kusooka eryatendeka Abafirika okutuuka ku ddaala gavumenti y'amatwale lye yannyonnyola nga "Asian sub-assistant surgeon". Essomero lyakula okutuuka okufuuka essomero ly’obusawo erijjuvu mu bulamu bwe.
Cook yatandikawo ekifo awajjanjabirwa endwadde z'ekyama ez'ekikaba n’obulwadde bwa mmongoota mu 1913, oluvannyuma eryafuuka eddwaliro ly’e Mulago. Yali pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasawo Abangereza (British Medical Association -BMA) ow'ettabi ery'e Uganda wakati wa 1914 ne 1918, mu kiseera ekyo n’atandikawo essomero ly’abasawo Abafirika abayambi .
Yali pulezidenti wa The Uganda Society mu 1933-1934 nga yaddira Omulamuzi F. G. Smith mu bigere ate ye Edward James Wayland naamuddira mu bigere.

Ebitiibwa
[kyusa | kolera mu edit source]
Cook yaweebwa engule ya Order of the British Empire[2] mu 1918, eya Compassion of the Order of St Michael and St George mu 1922, era n’afuna ekitiibwa kya Knighthood mu 1932. Mu 1936–37, yaddamu okubeera pulezidenti w'ekibiina ekigatta abasawo Abangereza BMA (Ettabi ery'e Uganda).
Sir Albert Cook yafa nga 23 Omwezi ogwokuna 1951 mu Kampala, nga wayise emyaka kkumi n’esatu nga mukyalawe afudde. Yaziikibwa okumpi n'entaana ye (Mukyala we) mu limbo ya Lutikko ya St. Paul's Cathedral Namirembe . Ejjinja lye ery’entaana liriko ekiwandiiko nti:
"A TRIBUTE FROM HH THE KABAKA; CHIEFS & PEOPLE ERI MUKWANO WA UGANDA OMUTUKUVU".
Ebijuliziddwa,
[kyusa | kolera mu edit source]- This reference is defined in a template or other generated block, and for now can only be edited in source mode.
- This reference is defined in a template or other generated block, and for now can only be edited in source mode.
Ebyokusoma ebisingawo
[kyusa | kolera mu edit source]- "Cook, Sir Albert Ruskin (1870–1951) and Cook, Lady (Katharine)". Archived from the original on 4 March 2016. Retrieved 17 January 2006.
- "The British Journal of Nursing Supplement, February 1930" (PDF). The British Journal of Nursing Supplement (in English). February 1930. Retrieved 17 January 2006.
{{cite journal}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - A Doctor and his Dog in Uganda, from the Letters and Journals of A. R. Cook. Edited by Mrs. H. B. Cook. Published by the Religious Tract Society, London. 1903. ASIN B0008A52XW
- Joyce Reason, Safety last: The story of Albert Cook of Uganda. London: Highway Press, 1954. ASIN B0000CJ1DK
Template:Protestant missions to AfricaLua error: Invalid configuration file.