Alex Ireeta
Alex Ireeta Nabudere Munnayuganda agata ffirimu era alagirira abakwata ebifannanyi mu kukola ffirimu.
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Alex Ireeta munnayuganda awangule awaadi ez'enjawulo mu kulagirira abakwata ebifaananyi nga bakola ffirimu, oba Mu kulagirira Ab'ebifaananyi era Agata ffirimu ng’alina obumanyirivu kumpi bwa myaka 20 mu kukola ffirimu, emabegako ng'akolera wansi w’ekibiina ekikola ffirimu ekya ‘YesThatsUs’. Alex yali muyizi mu Berlinale Talents 2012, mu Bikujuko Bya Ffiirimu ebyaali mu kibuga Berlin, gye yeetabira mu misomo egy’omunda egyali gikwata ku kulagirira abakwata ebifaananyi nga bakola ffirimu era n’afuna omukisa gw'okukwatagana n’abakugu mu by’amakolero mu misomo egy’enjawulo.
Okuva mu 2014, Ireeta abadde akola ku pulojekiti ye esooka ng'alagirira abakwata ebifaananyi ku Bala Bala Sese. Amanyiddwa nnyo olw’okukolagana n’abakola ffirimu okuli Sadiq Mugisha, Bashir Lukyamuzi, Usama Mukwaya, Steve Ayenye, Allan Manzi, Nisha Kalema, Rehema Nanfuka n’abalala bangi. Afunye okusunsulwa kw'okuwangula awaadi nnyingi olw’emirimu gye, ku ffirimu eziyugumiza ku mutendera gw'eggwanga n’ensi yonna, nga kwekuli n’okufuna engule y'okubeera Asinga mu Kulagirira Abawakta Ebifaananyi nga bakola Ffirimu, n'okubeera nga y'Asinga mu Kugatgata, Okusunsula era N'okufulumya nga bino byaali mu bikujuko bya Uganda Film Festival mu 2018 .
Emyaka egiyise ng'alagirira abakwata ebifaanannyi nga bakola ffirimu, ezimu ku pulojekiti za ffirimu eziretedde Ireeta okuwangula awaadi mulimu emannyikiddwa nga Bodaboda Thieves, Veronica’s Wish, Kony: Order From Above, Love Faces, JDC ffiirmu y'obutundu ku Ttivi, Kyaddala ffiirmu y'obutundu ku Ttivi eya RAHU, obulango bya ttivvi obukwatagana ku kampuni ya MTN, UHMG, Airtel ne vidiyo z’ennyimba eziwerako okuli eza Juliana, Peter Miles, Chameleon, A Pass, Elephant Man, Demarco, General Levi n’abalala bangi.
Awaadi
[kyusa | kolera mu edit source]Z'awangudde
[kyusa | kolera mu edit source]- 2017: Eyasinga mu baali balagirira Abakwata Ebifaananyi nga bakola ffirimu, ku 7th Pearl International Film Festival [1] [2] [3]
- 2018: Eyasinga mu baali balagirira Abakwata Ebifaananyi nga bakola ffirimu, ku bikujuko by'ensi byonna ebya Pearl International Film Festival ey'omulundi ogwomunaana
- 2018: Eyasinga mu baali balagirira Abakwata Ebifaananyi nga bakola ffirimu, Awaadi ya Viewer's Choice Movie Awards [4]
- 2018: Eyasinga mu baali balagirira Abakwata Ebifaananyi nga bakola ffirimu, mu bukujuko bya Uganda Film Festival [5]
- 2018: Eyasinga mu Kugatagata n'Okusunsula wamu N'okufulumya ebibeera bikwatiddwa, mu bukujuko bya Uganda Film Festival
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Alex. "Rain dominates Pearl International Film Festival awards 2017 - Kampala Sun". kampalasun.co.ug. Archived from the original on 15 November 2017. Retrieved 8 January 2018.
- ↑ "PHOTOS: Pearl International Film Festival 2017 crowns winners". matookerepublic.com. 11 November 2017. Archived from the original on 14 November 2017. Retrieved 8 January 2018.
- ↑ "PHOTOS: Pearl International Film Festival 2017 crowns winners". 411ug.com. 11 November 2017. Archived from the original on 28 November 2017. Retrieved 8 January 2018.
- ↑ AYEBE, ANTHONY LAM. "Love Faces bags 13 Viewer's Choice nods". observer.ug. Archived from the original on 2018-09-22. Retrieved 22 September 2018.
- ↑ "Uganda Film Festival Awards 2018". www.newvision.co.ug. Archived from the original on 2018-12-03. Retrieved 5 December 2018.