Jump to content

Alex Muhangi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Alex Emix Muhangi, amanyiddwa ennyo nga Alex Muhangi, munnayuganda omuzannyi wa katemba, firimu, [1] yinginiya w'amaloboozi, dayirekita era mutegesi w'omuzannyo gwa kkomedi ogumanyiddwa nga Comedy Store Uganda . [2] Olupapula lwa New Vision lwamuwandiikako ng'omu ku bazannyi ba komedi 10 abasinga mu Uganda wakati w'omwaka gwa 2016 ne 2017[3] [4] era nga y'omu ku batandisi ba komedi ow'okwogera ebisesa eri abantu nga babalabako mu lulimi olungereza mu Uganda. [5]

Muhangi yagenda mu kutalaaga kw'ensi yonna mu 2014 nazannya kkomedi mu ggwanga lya Rwanda, [6] [7] [8] South Africa, Zambia, Malawi, Zimbabwe, South Sudan, Kenya (olulaga oluyitibwa Churchill), [9] Tanzania, Rwanda, [10] [11] Canada, Australia, Somalia, Bungereza, Germany, Norway, Sweden, Nigeria, Ghana, Turkey, UAE, China nga kw’otadde n’okulabikira ku Improv mu Amerika. [12] [13]

Muhangi yakolera ku 96.9FM Radio Rukungiri ne 89.1FM Vision Fm Mbarara, zombi zisangibwa mu maserengeta ga Uganda ng’omuweereza wa leediyo mu biseera bye mu ssiniya. Oluvannyuma yatandikawo kkampuni ye eya Masters Music mu 2014 mu Kampala gy’asigala nga ye nannyini kkampuni era yinginiya w’amaloboozi. [14]

Mu 2009, Muhangi yagenda okugezesebwa mu mpaka za StandUp Uganda, kampeyini za DStv ezinoonya "muzannyi wa komedi asinga addako" gyeyamalira nga akute eky'okubiri. Yali avuga ng’ayita ku luguudo lwa Kimathi Avenue n’alaba abantu nga basimbye ennyiriri okugenda mu mpaka z’okusunsulamu zeyalowooza nti zaali za kuzannya katemba. Yasalawo nagenda mu kugezesebwa okwo kubanga yali ayagala nnyo okuzannya katemba wabula yali tategese byakusesa bantu byona. Yasabibwa okuyiiyaayo ekisesa kyona n’afuuka omuvuganya n’oluvannyuma n’abeera wakubiri. [15]

Mu 2010, Alex Muhangi yatandikawo ekibiina kya kkomedi ekyayitibwa "The Crackers" [16] ekyalina pulogulaamu ku ttivvi esinga eyitibwa "Mic Check on Cable" [17]

Olwo n’atandikawo kkampuni ya Jazz Comedy mu mwezi Ogw'okubiri mu 2016, yatandikawo Comedy Store Uganda olulaga lw'okusanyusa abantu buli wiiki mu Uganda, gy’ategeka buli Lwakuna ku UMA Lugogo mu Kampala.

Alex Muhangi akozeeko n'abazannyi ba katemba mu Uganda n'abalala okuva ebweru w'eggwanga, abazannyi ba firimu ne basserebu abalala okuli: Anne Kansiime, Daniel Ndambuki, Teacher Mpamire, Eric Omondi, Akite Agnes n’abalala. Muhangi ategese emikolo egiwerako mu Uganda n’ebweru w’eggwanga omuli Club Music ne Video Awards (CMVA) ng’ali wamu ne Crystal Newman ne Ellah, [18] Comedy Store Uganda eyiye okuva mu 2016, Arthur ne Kansiime butereevu mu 2016 e Kigali. [19]

Alex Muhangi alina omwana omuwala, Jehu Muhangi [20] ne mune era omukozi wa leediyo Prim Asiimwe [21]

Okukwata firimu

[kyusa | kolera mu edit source]
Omwaka Omuzannyo gwa TV/Firimu Omugaso Ebiwandiiko
Okuva mu mwaka gwa 2016 Comedy Store Uganda Ye kennyini Okukyaaza
Engule
Omwaka Ekirabo Olubu Alizaati
Engule z'okulonda mu buvanjuba bwa Afrika Template:Won
2017 Engule za Abryanz Style n'emisono (ASFAs) Omusajja asinga okwambal

a/ssereebu asinga okwambala (Uganda)

Template:Nom[22]
Engule z'emisono eza Pearl of Africa Omuzannyi wa katemba asinga okwambala Template:Won[23]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "A Look at Alex Muhangi's Career As He Celebrates His Birthday". Chano8. Archived from the original on 22 April 2018. Retrieved 10 April 2018.
  2. "Muhangi earns big as NTV buys his Comedy Stores show". Matooke Republic. Archived from the original on 22 April 2018. Retrieved 15 April 2018.
  3. "Top 10 Ugandan personalities that rocked 2017". New Vision. Archived from the original on 9 February 2018. Retrieved 10 April 2018.
  4. "Abby Mukiibi is Uganda's biggest comedian, see top 10 here". Big Eye. Archived from the original on 22 June 2017. Retrieved 10 April 2018.
  5. Muleyi, Solomon. "Top 10 Celebrities That Shook Uganda In 2016". New Vision. Retrieved 16 March 2019.
  6. "Alex Muhangi To 'Kill' All Rwandans". Igihe. Retrieved 16 March 2019.
  7. Mutabazi, Geofrey. "Comedian Alex Muhangi Set For Kigali Show". Chano8. Archived from the original on 10 December 2019. Retrieved 16 March 2019.
  8. "Comedian Alex Muhangi Set For Kigali Show". Howwe Biz. Retrieved 16 March 2019.
  9. "Alex Muhangi Scoops Churchill Live Gig". How We. Archived from the original on 22 April 2018. Retrieved 10 April 2018.
  10. "The Comedy Knights Rwanda To Be Hosted By Alex Muhangi". Chano8. Archived from the original on 22 April 2018. Retrieved 10 April 2018.
  11. "Comedian Alex Muhangi To Headline Show in Rwanda". Big Eye. Archived from the original on 12 May 2018. Retrieved 10 April 2018.
  12. "Alex Muhangi Beats Anne Kansiime". New Vision. Archived from the original on 22 April 2018. Retrieved 10 April 2018.
  13. "Alex Muhangi lands juicy deals in USA and London". Big Eye. Archived from the original on 28 August 2014. Retrieved 10 April 2018.
  14. "Comedian Alex Muhangi Sets To Leave Fenon Records". How We. Archived from the original on 16 March 2016. Retrieved 10 April 2018.
  15. "Things you probably didn't know about Comedian Alex Muhangi". How We. Archived from the original on 5 May 2018. Retrieved 10 April 2018.
  16. "Alex Muhangi now driving a car with the newest number plate". Big Eye. Archived from the original on 12 May 2018. Retrieved 10 April 2018.
  17. "Crackers split and make up". Sqoop. Archived from the original on 22 April 2018. Retrieved 15 April 2018.
  18. "Ellah, Alex Muhangi, Crystal Newman set to host CMVA 2017". Showbiz Uganda. Archived from the original on 22 April 2018. Retrieved 10 April 2018.
  19. "Kansiime, Nkusi promise 'night of laughter'". The New Times Rwanda. Archived from the original on 2 April 2018. Retrieved 10 April 2018.
  20. Celebrity, Gossip. "CUTE PHOTO: Comedian Alex Muhangi Celebrates Daughter's Birthday". Big Eye. Archived from the original on 2 October 2014. Retrieved 21 April 2018.
  21. "Wedding Bells: Alex Muhangi To Wed Longtime Sweetheart Prim This Year". Campus Bee. Archived from the original on 22 April 2018. Retrieved 21 April 2018.
  22. "The list of nominees in 2017 Abryanz Style and Fashion Awards". Matooke Republic. Archived from the original on 9 November 2017. Retrieved 21 April 2018.
  23. "Pearl of Africa Fashion Awards Full List of Winners". Telesqop. Archived from the original on 12 May 2018. Retrieved 21 April 2018.
  • Alex Muhangi ku IMDb