Alfred Acur Okodi
Endabika
Alfred Acur Okodi (yazaalibwa 25 Omwezi ogwekkumi n'ebiri 1954) Mulabirizi omukulisitaayo / omupolotesitante eyakulembera Obulabirizi bwa Lango ey'obugwanjuba okuva 2014 okutuuka mu 2018 mu Uganda .
Okodi yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Alebtong era yasomera mu yunivasite ya Uganda Christian University . Yatuuzibwa mu 1991. Aweereza nga Vviika (Vicar) w'ekkanisa ya Siteefano Omutukuvu, e Nsambya ; Ssaabadinkoni wa Kampala ey'obukiika ddyo ; Omubeezi wa Ddiini wa Lutikko y'Abatukuvu Bonna, e Kampala era omukwanaganya w'obutume obw'Obulabirizi bwa Kampala.