Ali Fadhul
Ali Fadhul c. 1940 – 2 Ogwekkuminogumu 2021. yali Munnayuganda, muserikale era nga yasingisibwa omusango era nga yakola nga Gavana, Minisita era akulira ab'ebyokwelinda mu kiseera ky'obukulembeze bwannakyemalira bwa Pulezidenti Idi Amin . Mu mirimu gye, era yaduumira ekibinja ky’amagye ga Simba ekya Uganda Army (UA). Yali omu ku bagoberezi ba Amin abeesigwa abaasembayo mu lutalo lwa Uganda ne Tanzania olwa 1978–1979. Oluvanyuma lw’obukuubagano, Fadhul yakwatibwa gavumenti ya Uganda empya, n’asingisibwa omusango gw’obutemu. Bwe yasalirwa ekibonerezo ky’okufa, yamala emyaka 22 mu kkomera okutuusa Pulezidenti Yoweri Museveni lwe yamusonyiwa mu 2009.
Ebikwata ku bulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Omulimu gw’amagye n’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Waris Ali Fadhul [1] oba Ali Waris Fadhul yazaalibwa mu Buvanjuba bwa Uganda, okumpi n'ensalo z'e Kenya, [2] nga mu mwaka gwa 1940. [3] Yali ava mu lubu lwa Busoga, newankubadde olumu yatwalibwa nga "Omusudaani" era yayogeranga n'Olunubbi. Yakakibwa okwegatta ku maggye ga King's African Rifles mu 1953; mu kiseera ekyo yali wa myaka kkumi n’esatu. [3] [2] Oluvanyuma lwa Uganda okufuna amefuga mu 1962, yakyuka n'adda mu magye ga Uganda, n'aweereza mu kiseera kyonna eky'obukulembeze bwa Milton Obote. Yetaba mu kuwamba gavumenti mu Uganda mu 1971 ekyaviirako Obote okugobwa n'atandikawo obukulembeze bwa Idi Amin. Mu kiseera ky'okuwamba gavumenti, yali Kkopolo eyali y'asindikibwa e Moroto. Oluvannyuma lw’ekyo, yaliyisibwa eddaala. Omunoonyereza Andrew Rice yamwogerako nga "mukwano gwa Amin nfanfe era nga mulwanyi nnamige", Fadhul yaweebwa ekitiibwa ky'omuduumizi w'amagye ga Uganda aga Simba Battalion [4] era n'aweebwa omulimu gw'okumalawo abajaasi abaali abeesigwa eri Pulezidenti Obote eyagobwa mu ntebe. Ekyavaamu yakola ettemu eriwerako ku magye agateeberezebwa okuba nga gawakanya gavumenti ku bbaalakisi ya Simba e Mbarara . Okugatta ku ekyo, kiyinzika okuba nga yalina akakwate n’okufa kwa munnamawulire Nicholas Stroh n’omusomesa wa Yunivasite y’e Makerere Robert Siedle. Amin yamukuza n'afuuka Lieutenant colonel olw'omulimu gwe yakola mu kulongoosa kweyakola mu Gwomusanvu 1971.
Yali akulira ekibinja kya Simba okuva mu 1971 okutuuka mu 1974, [4] wadde nga yatera obutabaawo mu kibinja kino. Ng’omuntu ow’ekyama wa Amin, Fadhul emirundi mingi yamala ebiseera bye mu Kampala okuyambako Pulezidenti; bw’atyo omuduumizi we ow'okubiri Yusuf Gowon ye yali avunaanyizibwa ku bikwekweto by’ekibinja kino ebya buli lunaku. Oluvannyuma Fadhul yategeeza nti yali awulira ng’omugwira mu Bukiikaddyo bwa Uganda, olw'obutamanya mpisa za kitundu wadde okwogera ennimi z’e Ankole . Ng’ayolekedde ebikolwa by’abayeekera ebikusike, kigambibwa nti yali yeesigama ku buyambi obwava nga mu bantu baabulijjo abawerako okuzuula abawakanya gavumenti ya Amin. Ku makya nga 17 Ogwomwenda 1972, Fadhul yategeezebwa ku kulwanagana okw’emmundu okwaliwo kubaluseewo ku nsalo ya Uganda ne Tanzania. Yasitula mangu n'agenda ku nsalo mu mmotoka ekika kya Peugeot Sedan . Bwe yali akubirira ku sipiidi okwolekera ku nsalo, Fadhul yagwa mu bayeekera ba FRONASA abaali baduumirwa Yoweri Museveni . Abayeekera tebaasobola kumutegeera era bakkiriza Fadhul okuvuga n’abayitako n’atuuka ku ssimu eddako, era eyo gye yategereza Amin n’ekibinja kya Simba ku bulumbaganyi bw'abayeekera. Oluvannyuma yagenda mu kwekweka okumala ennaku ntono, eya yagenda okuvaayo oluvannyuma lw’abayeekera okumeggebwa munne Yusuf Gowon. Oluvannyuma lw’okulwana, yeetaba mu kugogola abateeberezebwa okuba abayeekera awamu n'abo abaali bakwatibwa abayeekera ekisa mu Mbarara n’ebitundu ebiriraanyewo, ng’okusinga ayigga abayeekera mu byalo ng’ava mu kibuga Mbarara n’agenda e Gowon. Oluvannyuma Fadhul yavunaanibwa nti ye yalagira okutemula Francis Xavier Tibayungwa eyali omuwandiisi w’ebyobufuzi mu Ankole mu kiseera ekyo. [5] Tibayungwa yali alowoozebwa nti emabegako yayamba Museveni okutoloka mu Uganda oluvannyuma lw'okuwamba gavumenti mu 1971; [4] [6] omukungu ono yafumitibwa ebiso n'attibwa.
Mu myaka egyaddirira, Fadhul yalinnye eddaala n'adda ku g ku bwa Gavana mu masaza g’Obukiikakkono Acholi ne Lango ne mu Disitulikiti z'Ebuggwanjuba omuli za Ankole ne Tooro. [6] Yakuzibwa n'afuulibwa colonel omujjuvu mu Gwokutaano 1973, era n'alondebwa okukulira ekibinja ky'amagye ag'ebigere ekya 2nd Infantry Brigade ekyakyusibwa ne kituumibwa "Simba Mechanized Brigade". Mu mwaka gwa 1974, yali Gavana w'essaza ly'Obukiikakkono era "omu ku bantu abasinga okumanyika mu gavumenti" okusinziira ku munoonyereza Thomas Lowman. Mu kifo kino, yasinga kukola ng’omukungu ataliiwo, ng’emirundi mingi asigala mu Kampala era nga yeenyigira mu nsonga z’Obukiikakkono zokka ng’akubiriza okweyongera mu kukola ppamba, ng’akozesa abakukusa n’abasuubuzi b’omu kitundu, n’okunyigiriza emirimu gy’abayeekera. Oluusi yalaga nti yali talina kumanya ku mirimu gye yali alina okukola ng'omukungu mu matwale g'eyali akulembera. Nga mu mwaka gwa 1974, [3] yalondebwa okuba Minisita w’enzirukanya y’emirimu mu masaza. [5] Okusinziira ku bakukusa abantu mu Uganda ab'omutendera ogwa wansi, Fadhul yakozesa ebifo bye eby'amagye ne gavumenti okwetaba butereevu mu bikwekweto by'okukukusa abantu n'okukung'aanya obugagga mu ngeri emenya amateeka, ate n'avumirira mu lujjudde abakukusa abantu nti "abamenyi b'amateeka ab'ebyenfuna" abakola obulabe ku ggwanga.
Olutalo lwa Uganda ne Tanzania olwa 1978–1979, yali akuziddwa n’afuulibwa brigadier . Mu Gusooka 1979, yafulumira mu pulopaganda ya leediyo ya Uganda: Mu kifo kye nga Minisita w’okuddukanya amasaza, kigambibwa nti yali asisinkanye abakulu ba Buganda mu lukiiko olutongole ne Amin, ng’ababuulira engeri Pulezidenti gy’abassaamu ekitiibwa. Ng’oggyeeko ekyo, Fadhul yagamba mu bukyamu nti ekitongole kya Uganda Broadcasting Corporation tekyavuma bakulembeze ba mawanga ag’ebweru nga Radio Tanzania bwe yali ekoze,ng'alaga nti Uganda ya kitiibwa okusinga omulabe waayo. Oluvannyuma lw'eggye lya Tanzania People's Defence Force n'amagye g'abayeekera ag'omukago okuwangula amagye ga Uganda mu nnumbagana ez'enjawulo, Pulezidenti Amin yagoba akulira eby'okwelinda Gowon mu Gwokusatu 1979. Fadhul yalondebwa okumuddira mu bigere. Ng’oggyeeko ekyo, yatuulako ku kakiiko k'abantu bana akaali kateekateeka entalo era nga kano ke kateekateeka obukuumi obwakolebwa ku Kampala. Gavumenti ya Amin yaggwira ddala era Kampala n’ewambibwa amagye agaali gakulemberwa Tanzania mu Gwokuna 1979. Ekyavaamu gavumenti ya Uganda empya yassibwawo. Oluvannyuma gavumenti empya yasiba eby’obugagga n’ensimbi z’Abanubi abasoba mu 1,000, nga ne bya Fadhul mw’ali, nga ssente zino tezinnaba kuteekebwa ku akawunti za gavumenti. [7] Amaka ga Fadhul ganyagibwa mu lutalo. [8] Okusinziira ku Thomas Lowman, Fadhul yakwatibwa e Bombo. Okusinziira ku kibiina kya Uganda National Liberation Front, munnamawulire Godwin Matatu, ne Ambasada wa Buyindi Madanjeet Singh, yeegatta ku bakungu ba gavumenti abalala okuddukira e Kenya . [9]
Obulamu obw’oluvannyuma
[kyusa | kolera mu edit source]Fadhul yakwatibwa mu maka ge e Bulumagi mu Uganda, mu Gwomwenda 1986 ku misango nti yali yeenyigira mu kutta Tibayungwa. Yawozesebwa kkooti enkulu e Mbarara mu Gwokubiri 1988. Abajulizi abawerako baawa obujulizi nti wakati wa 21 ne 22 Ogwomwenda 1972, baalaba Fadhul ng’akwata Tibayungwa n’amukaka okuyingira mu mmotoka, ng’amulumiriza okukolagana n’abayeekera. [10] Yasigala nga talina musango mu musango gwe, [5] [8] ng’agamba nti ettemu lyonna eryakolebwa ku bantu baabulijjo mu Mbarara lyali likoleddwa eyali munne Yusuf Gowon. Fadhul yasingisibwa omusango era n’asalirwa ekibonerezo ky’okufa mu 1989. [5] [8] Ng’ali wamu n’omukulembeze w’ebibinja bya Amin eby’okufa, Kassim Obura, Fadhul yali omu ku bagoberezi ba Amin abatono ennyo abaasingisibwa mu butuufu emisango egyakolebwa mu mulembe gwa 1971–79. Yateekebwa ku kalabba mu kkomera lya Luzira Upper Prison, yasigala mu kkomera okumala emyaka 22. [5] Kkooti ensukkulumu mu Uganda yagaana emu ku kujulira kwe ng’awakanya okusingisibwa omusango n’okusalirwa ekibonerezo ky’okufa mu 1993. [6] Kyokka okujulira kwe enfunda eziwera kwaziyiza okuttibwa kwe. Mu 2001, Yusuf Gowon naye yasibibwa e Luzira, olwo ye ne Fadhul ne balwanagananga era abakulu b’amakomera baalina okubawula okutuusa Gowon lwe yayimbulwa.
Mu 2009, Fadhul yasonyiwa Pulezidenti Yoweri Museveni, n’ayimbulwa. Mu kiseera kino, yalina obulwadde bwa sukaali, amabwa g'omulubuto ne kookolo w’olususu [5] [8] era nga takyalina maka, anti ennyumba ye enkadde e Bulumagi yali esuuliddwa era n’eyonoonebwa mu kiseera kye yamala mu kkomera. [5] Ennyumba emu eyali eyiye kati yali epangisibwa Weston College School-Makerere e Mukono ; ekivaamu ettendekero lino lyamukkiriza okwebaka mu emu ku ofiisi zaabwe okumala akaseera. Oluvannyuma yasengukira mu maka ga mukyala we omukulu Hajjati Segiya Nako e Bulumagi. Abantu b’omu kitundu n’ab’omu maka abawerako bajaguzza okuyimbulwa kwe. [8] Omwaka 2010 we gwatuukira, yali takyasobola kutuula, kulya wadde okutambula ku lulwe, era yalina okufuna obujjanjabi obutayosa mu ddwaaliro e Nsambya n’abasawo abapangisiddwa ab’omu maka ge okusobola okusigala nga mulamu. [6] Wabula yawa yintaviyu eziwerako mwe yawa "okutendereza okuyitiridde" eri Museveni.
Nga 2 Ogwekkumingumu 2021, Fadhul yafiira mu ddwaaliro e Nsambya ku myaka 81 olw’ebizibu ebyava ku ssukaali. Eyali ssentebe wa Bulumagi, Mohammed Kasule Byansi yeemulugunya olw'okufa kwa Fadhul, n'amwogerako ng'omusajja omukulu era ow'ekitiibwa eri ekitundu kyaffe" eyabadde awagira abantu b'omu kitundu ng'awagira eby'enjigiriza n'okuyamba abantu ssekinnoomu okwewandiisa mu magye. Okwawukana ku ekyo, ekiwandiiko eibika ekyaThe Australian ekyawandiikidwa munnamawulire Alan Howe yanyonyola Fadhul nga "omutemu" era "omuweereza wa Amin asinga omwesigwa".
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Fadhul yali mufumbo n’abakazi abatakka wansi wa kkumi, era yalina abaana abatakka wansi wa 49, nga kuliko Abubaker Ali Fadhul, Asha Ali, [8] Faisal Fadhul, [6] ne Abdul Magid Alule. [3] Yali amanyi ennimi nnyingi, era ng’ayogera Olunubbi.
Ebiwandiiko
[kyusa | kolera mu edit source].mw-parser-output .reflist{margin-bottom:0.5em;list-style-type:decimal}@media screen{.mw-parser-output .reflist{font-size:90%}}.mw-parser-output .reflist .references{font-size:100%;margin-bottom:0;list-style-type:inherit}.mw-parser-output .reflist-columns-2{column-width:30em}.mw-parser-output .reflist-columns-3{column-width:25em}.mw-parser-output .reflist-columns{margin-top:0.3em}.mw-parser-output .reflist-columns ol{margin-top:0}.mw-parser-output .reflist-columns li{page-break-inside:avoid;break-inside:avoid-column}.mw-parser-output .reflist-upper-alpha{list-style-type:upper-alpha}.mw-parser-output .reflist-upper-roman{list-style-type:upper-roman}.mw-parser-output .reflist-lower-alpha{list-style-type:lower-alpha}.mw-parser-output .reflist-lower-greek{list-style-type:lower-greek}.mw-parser-output .reflist-lower-roman{list-style-type:lower-roman}
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://books.google.com/books?id=DlxEAQAAIAAJ
- 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- 1 2 3 4 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/amin-s-former-aide-dies-at-81-3606758
- 1 2 3 https://www.newvision.co.ug/news/1285157/fadhul-ill-family-seeks-assistance Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Baligema" defined multiple times with different content - 1 2 3 4 5 6 7 https://ugandaradionetwork.com/story/brigadier-ali-fadhul-free-with-nowhere-to-go Cite error: Invalid
<ref>tag; name "malaba" defined multiple times with different content - 1 2 3 4 5 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1251766/fadhul-amin-eur-trusted-army-officer Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Mugisa" defined multiple times with different content - ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Nubians-endure-pain-as-accounts-remain-frozen/688334-1628242-1206m0kz/index.html
- 1 2 3 4 5 6 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1251683/fadhul-sleeps-dilapidated-home Cite error: Invalid
<ref>tag; name "bita" defined multiple times with different content - ↑ https://books.google.com/books?id=a3kEAQAAIAAJ
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/ankole-administrator-arrested-in-swoop-targeting-fronasa-agents-3348746
Ebikolwa ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]