Aligebbula
Era Muwanga ayongedde okusosootola ng'atutegeeza nti "essomabigoberero" kitegeeza kye kimu ne aligebbula (EN: algebra). Weetegereze:
(i) Essomabigoberero (study of the rules of arithmetic). Essomabigoberero (Algebra) ssomo lya bigoberero (rules or principles)
(ii) Okubalira (arithmetic) ly'ettabi ly'ekibalangulo erikwata ku bigoberero ebyetaagisa nga okola okubalirira okw'amangumangu.Okubalirira okwamangumangu kwetaagisa kugatta mangu, kwawuza mangu, kukubisa mirundi egy'amangu, n'okugabiza amangu.
Oli bw'akugamba nti "kola okubalirira okw'amangu" okivvuunula nti "do simple arithmetic". Mu kubaliria oba ekibalirizo tewetaagisa kkalaamu na lupapula wabula obalanguliza mu mulengera gwo (your mind). Okubalilira kulina kuba "kibalo kya mulengera (mental math).
Kino kitegeeza nti okusomesa omwana okubaliria kuba kumusomesa "kibalo kya mulengera" (mental math)oba ka tugambe nti "essomakubala ery'omulengera" (mental math).